Emyaka emikulu
1 bidyoOkusala
3 bidyoOkusenga
3 bidyoEbibuuzo ebiwera
279 ebibuuzoekitundu ky'enzikiriza.42
Ekibuuzo1: Ani mulezi wo?
okwanukula- omulezi wange ye Allah oyo eyandera n'alera n'ebitonde byonna nebyengera bye, era gwensinza teri mulala gwensinza atali yye, era ye mutonzi, omufuzi, omugabirizi, omuteesiteesi wa byonna ebiri mu butonde .
Era n'obujulizi: ky'ekigambo kye [Allah] owa waggulu: {Amatendo gonna ga Allah, omulezi w'ebitonde byonna} [Suurat Al- faatiha: 2].
Ekibuuzo2: Eddiini yo ddiini ki?
okwanukula: eddiini yange busiraamu, era nga kwe kwewaayo ewa Allah nga oyita mu kumwawula(obutamugattako kintu kyonna) n'okumugondera n'okwesamba okumugattako ekirala, n'abo abamugattako .
Yagamba [Allah] omugulumivu: (Mazima ddala eddini (ebalwa) mu maaso ga Allah Busiraamu...) [Suurat Aali-Imraan: 19].
Ekibuuzo3: Ani Nabbi wo?
Okwanukula- Muhammad okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku yye.
Yagamba Allah omugulumivu : (Muhammad mubaka wa Allah...) [Suurat Alfat-hi: 29].
Ekibuuzo: Yogera ekigambo kya tawhiid(okwawula Allah), era amukulu ga kyo ge galiwa?
Ekigambo ky'okwawula Allah" Laa Ilaaha illa Allah": era amakulu gaakyo: teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako Allah.
Yagamba Allah omugulumivu {kimanye nti teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako Allah} [suurat muhammad: 19]
Era n'agamba Allah eyayawukana: Bwekityo (bwekirina okuba) olw’okuba ddala Allah y'oyo Ow'amazima era ddala, biri bye bawanjagira nga ojjeeko Yye by’ebyo eby’obutaliimu, era mazima Allah ye wuuyo Owaawaggulu Omugulumivu. [Al-hajj 62].
Ekibuuzo 5: Allah ow'ekitiibwa ali wa?
okwanukula- Allah ali waggulu, waggulu wa namulondo ye, waggulu w'ebotonde byonna. Yagamba Allah omugulumivu Allah omusasizi ennyo ali ku namulondo ateredde. [Suurat twaha: 5]
Era Katonda omugulumivu yagamba: Era ye Muwanguzi w’abaddu be. Era yewuuyo Ssabalamuzi Kakensa. [suurat Al an-aam: 18]
Ekibuuzo 6: okukakasa nti Nabbi Muhammadi mubaka wa Allah kitegeeza ki?
okwanukula: kitegeeza nti: Allah yamutuma eri ebitonde nga musanyusa era nga mutiisa.
Era kyatteeka:
1- okumugondera mw'ebyo byeyalagira.
2- okumukakasa mw'ebyo byeyayogera.
3- Obutamujeemera.
4- Allah tasinzibwa okujjako n'ebyo bye byeyalagira ( amateeka ge), era nga kwe kugoberera sunna n'okwewala okuzuula mu ddini.
Yagamba Allah {Yenna agondera omubaka abeera agondedde Allah} [Suurat Anissa: 80]
Era yagamba eyayawukana: Era tayoyogera nga biva ku kwagala kwe 3 Tekiba kirala wabula bubaka obuweerezebwa okuva eri Katonda 4) [Suurat An-Najm: 3-4.]
Era Allah yagamba: {Mazima mwafuna mu mubaka wa Allah eky'okulabirako ekirungi eri oyo aba alina essuubi mu Allah n’olunaku lw’enkomerero era n’atendereza Allah ennyo. 21} [Suurat al ahzaab: 21].
Ekibuuzo 7: Lwaaki Allah omugulumivu yatutonda?
okwanukula:
Yatutonda kumusinza yekka nga tewali kimwegattako.
Teyatutondera bwereere oba nti gwali muzannyo, oba okutulekeraawo kubwereere n’okulagajjalirwa.
Yagamba Allah: {Era saatonda majinni na bantu okujjako okunsinza 56} Suurat Adh-dhaariyaat: 56.
Ekibuuzo8: Ibaada [okusinza] kye kki?
okwanukula: ly'erinya erikungaanya buli Allah ky'ayagala era nga akisiima mu bigambo n'emirimu ebyomunda n'ebyeyolefu.
-Ebyeyolefu: nga okwogera ku Allah n'olulimi, n'okusaala n'okukola hijja.
-Ebyomunda: nga okwesigamira Allah, okutya, n'okusuubira.
Ekibuzo 9: kyatteeka ki ekisinga obukulu ku ffe?
Okwanukula: Eky'etteeka ekisinga obukulu ku ffe: kwawula Allah mubw'omu bwe.
Allah yagamba: {Era mpaawo kye baalagirwa okujjako babe nga basinza Allah nga gwe bamalirako yekka eddiini yonna} [Suurat Al-bayyina: 5].
Ekibuuzo 10: Gye giriwa emiteeko gya tawhiid?
okwanukula:1-Tawheed Ar-Rubuubiyya : okukkiriza nti Allah ye mutonzi, omugabilizi, omuteesitesi w'ensonga zonna, mubw'omu bwe teri kimwegattako kyonna.
2.Tawheed Al-Uluuhiyya: kwekwawula Allah mukumusinza, newatasinzibwayo kirala kyonna okujjako Allah omugulumivu.
3.Tawheed Al-Asma'e wa swifaat: okwawula Allah mu mannya ge n'ebitendo bye ebyo ebyayogerwaako mu qurane ne hadith za nabbi Muhammad, nga tewali kumugeza ku kintu kyonna yadde okumufananyiriza ekintu kyonna yadde okugaana ekimu ku bitendo bya Allah oba Amannya ge.
era n'obujulizi ku miteeko ja tawheed esatu: ky'ekigambo kye Allah: Omufuzi w'eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombiriri! N'olw'ekyo, musinze, ogumiikirize ku kumusinza. Abaffe omanyiiyo (omulala) afaanana Ye? [Suurat mariam: 65]
Ekibuuzo 11: Kyonoono ki ekisinga obunene?
okwanukula: okugatta ku Allah omugulumivu.
Allah yagamba: Mazima Allah tasosonyiwa oyo amugatta n'ebintu ebirala, naye asonyiwa kyonna ekitali ekyo ku oyo gw'ayagadde; n'omuntu agatta Allah n'ekintu ekirala, mazima aba agunzeewo ekibi ekisukkiridde. [Suurat An-Nisaa: 48]
Ekibuuzo 12: Shiriki kyekki, era emiteeko gye gyegiriwa?
okwanukula: Shiriki: ye muntu okwenkanya ekintu kyonna ne Allah , mu kumusinza, oba mubikolwa bye oba mu mannya n'ebitendo bye.
Era kigwa mu shiriki: okwolekeza omuteeko gwonna mu miteeko gy'okusinza eri ekitali Allah.
Emiteeko gya shiriki:
-Shiriki omunene; nga okusaba ekitali Allah, oba okuvunnamira ekitali Allah, oba okusalira ekitali Allah.
-Shiriki omutono; era y'oyo shirik atafulumya mu ddiini, nga: okulayira ekitali Allah, oba okwambala yirizi, ne kabandabe omutono [nga okulongoosa eswala olwokuba abantu bakulaba].
Ekibuuzo 13: waliyo amanyi abyekwese atali Allah omugulumivu?
Okwanukula:Teri amanyi byekwese okujjako Allah yekka.
Yagamba Allah: Bagambe (Ggwe Muhammadi) nti: Tewali amanyi Bitalabikako mw'abo abali mu ggulu ne mu nsi wabula Allah; era tebamanyi kiseera ki lwe balizuukira. [suurat An-naml: 65]
ekibuuzo 14: Empagi z'obukkiriza ze ziriwa?
okwanukula: empagi z'obukkiriza ziri mukaaga:
1- Okukkiririza mu Allah omugulumivu.
2- Ne bamalaika be.
3- N'ebitabo bye.
4- N'ababaka be.
5- N'olunaku lw'enkomerero.
6- N'okugera kwe, okulungi n'okubi.
Obujulizi: hadith ya Jibriilu emanyikiddwa, eri mu kitabo kya Muslim, nti Jibriilu yagamba nabbi okusasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku yye nti: "Mbuulira ku bukkiriza, Nabbi namugamba nti: kwe kukkiriza Allah, ne bamalaika be, n'ebitabo bye, n'ababaka be, n'olunaku lw'enkomerero, era n'okkiriza okugera kwe, okulungi n'okubi.
ekibuuzo: 15: empagi z'obukkiriiza zitegeeza ki?
Okwanukula: Okukkiriza Allah: kwe kukkiriza nti Allah ye yakutonda, era y'akugabirira, era ye nannyini byonna, era yemuteesiteesi w'ebitonde yekka. Era y'asinzibwa, teri asinzibwa mu butuufu atali yye, era yenannyini kutonda n'ekiragiro, n'okulamula, n'okussaawo amateeka. byonna bibye tewali kimwegattako.
Era ye mugulumivu, omunene, omujjuvu, oyo alina amatendo gonna, era alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawagguli, talina kimufaanana kyonna yayawukana Allah.
Okukkiriza ba malaika: Era nabyo bitonde Allah yabitonda mu kitangaala, bimusinza, n'okwewaayo okujjuvu eri ekiragiro kye.
Yagamba Allah: ( Wabula bo baddu abagulumizibwa * Tebamukulembera na kigambo (Kye kyonna), (wabula) nabo bakolera ku kiragiro Kye) [Al-Ambiya: 26-27].
Era ne Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: (ba malaika batondebwa mu kitangala) Esangibwa mu kitabo kya Muslimu .
-Era mu ba malaika mulimu: Jibriilu, oyo akka n'obubaka nabutuusa ku banabbi. Allah yagamba: Era mazima Yo (Kuraane) kussa kwa Mukama W'ebitonde byonna * Yakka nayo Mwoyo Mutukuvu (Malaika Jibriilu) Omwesigwa * (Nga agissa) ku mutima gwo, olyoke obeere ow'omu batiisa * (Nga eri) mu lulimi oluwarabu olweyolefu) Al- shu-araa :192-195.
Okukkiririza mu bitabo: Era nga by'ebitabo Allah byeyassa ku babaka be.
-Nga Quran: eyassibwa ku Muhammad okusasira n'emirembe bibere ku yye.
-Enjiri: eyassibwa ku Isa emirembe jibeere ku yye.
-Taurat: eyassibwa ku Musa emirembe jibeere ku yye.
-Zabuli: eyassibwa ku Dauda okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
-Ekitabo ekyassibwa ku Ibrahim ne Musa emirembe jibeere ku bbo.
Okukkiririza mu babaka: Be bo Allah beyatuma eri abaddu be babayigirize, era babasanyuse n'ekirungi n'ejjana, era babatiise n'ekibi n'omuliro.
era ab'enkizo mu bbo: banannyini bumalirivu era be bano:
-Nuuhu Emirembe gibeere ku yye.
-Ibrahim emirembe gibeere ku yye.
-Musa emirembe gibeere ku yye.
-Isa emirembe gibeere ku yye.
-Muhammad okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
Okukkiririza mu lunaku lw'enkomerero: Nakwo kwekukkiririza mubulamu bw'omuntaana oluvannyuma lw'okufa, n'olunaku lwokuyimirira, n'olunaku lw'okuzuukira n'okubalwa, abantu b'omujjana lwebanatebenkera mu nju yaabwe, n'abomumuliro nabo babeere mu nju yabwe.
yagamba Allah omugulumivu: {Buli mwoyo gwa kukomba ku kufa, ddala mazima mugenda kutuukirizibwa okusasulwa empeera zammwe ku Lunaku Lw'okuyimirizibwa (mu maaso ga Allah). N'omuntu yenna oyo alyesambisibwa Omuliro n'ayingizibwa Ejjana, mazima aliba yeesiimye, Tebuli obulamu obw'ensi wabula ekintu eky'eyagaza ekiseera buseera, ekigayaaza) [Suurat Aal-imraan:185]
okukkiririza mu kugera kwa Allah, okulungi, n'okubi:
Qadar: kwekukkiriza nti Allah amanyi buli kintu ekigwaawo mu nsi ne mu ggulu, era ebyo yabiwandiika ku lubaawo olukuumibwa, era yayagala okubaawo kwabyo n'abitonda.
Yagamba Allah omugulumivu: Mazima Ffe buli kintu twakitonda na kukigerera (ku ngeri ekisaanira). [Suurat Al- qamar: 49]
-okugera kulimu emitendera ena:
Ogusooka: okumanya kwa Allah, omwo mulimu okumanya kwe okukulembera buli kintu, oluberyeberye nga ebintu tebinnabaawo, n'oluvanyuma nga bimaze okubaawo.
obujulizi kw'ekyo: kya Allah omugulumivu: Mazima Allah w'ali we wali okumanya (ddi lwe kiribeerawo) Ekiseera Eky'enkomerero, era y'atonnyesa enkuba (w'aba asiimidde) era y'amanya ekyo ekiri mu nnabaana (oba kikazi oba kisajja n'ebirala ebikifaako). N'omwoyo tegumanyi kiki kye gunaafuna enkya, era omwoyo tegumanyi nsi ki mwe gulifiira, mazima Allah Mumanyi nnyo, Amanyi ebyokungulu n'ebyomunda) [ suurat Luqmaan:34]
Ogw'okubiri: nti ebyo byonna Allah yabiwandiika ku lubaawo olukuumibwa, buli kintu ekyabaawo n'ekiribaawo byonna Allah yabiwandiika mu kitabo.
obujulizi kw'ekyo: kye kigambo kya Allah omugulumivu: (Ne gy'ali y'eri ensumuluzo z'eby'ewala ebitalabikako, tewali abimanyi wabula Ye. Era Amanyi ebyo ebiri ku lukalu ne mu nnyanja. Era tekagwa akakoola konna wabula Akamanyi; era tewali mpeke eri mu bizikiza by'ettaka wadde ekibisi oba ekikalu wabula (byonna) biri mu Kitabo ekinnyonnyola) [Suurat Al-an'am: 59]
Ogw'okusatu: buli kintu kibaawo na kwagala kwa Allah, era teri kintu kibaawo okuva mu yye oba mubitonde bye okujjako nga kibaawo na kwagala kwe. era omuddu alina okusalawo, era alina okwagala, naye okwagala kwe tekusobola kubaawo okujjako oluvannyuma lw'okwagala kwa Allah.
obujulizi bw'ekyo: kye kigambo kya Allah: Eri oyo ayagala mu mmwe okulunngama 28 Temuyinza kwagala, wabula nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde 29) [Suurat Al-tak-wiir:28-29].
Ogw'okuna: Okukkiriza nti byonna ebiriwo Allah ye yabitonda, era n'atonda n'ebitendo bya byo, n'entambula zaabyo, na buli kintu kyonna mu byo.
Obujulizi bw'ekyo: kye kigambo kya Allah: {Nga Allah Ye yabatonda n'ebyo bye mukola?-(n'olwekyo Allah y'ateekwa okusinzibwa }. [Suurat Al-swaffaat:96]
Ekibuuzo 16: Quran kyekki?
Okwanukula: Bigambo bya Allah, era ssi kitonde.
Yagamba Allah omugulumivu: (Bw'abeera omu mu bagatta ku Allah nga akusabye obubudamu (Ggwe Muhammadi), bumuwe okutuusa lw'awulira ebigambo bya Allah) [Suurat Attauba].
Era kyajja mu hadith: «Era n'enkizo y'ebigambo bya Allah ku bigambo ebisigadde, eri nga enkizo ya Allah ku bitonde bye.» Esangibwa mu kitabo kya Tirmidhi .
Ekibuuzo17: Sunna kyekki?
Okwanukula:Buli kigamba kya Nabbi Muhammad okusasira n'emirembe bibere ku yye, oba ekikolwa kye, oba okukakasa kwe ensonga, oba ekitendo kye mumpisa oba mu butonde bwe.
Ekibuzo18: Bidi'a kyekki? era tugikkiriza?
Okwanukula: Buli abantu kyebazuulawo mu ddiini nga tekyaliwo ku mulembe gwa nabbi Muhammad okusasira n'emirembe bibere ku yye, ne ba swahaba be.
Tetumukkiriza, era kitukakatako okumulwanyisa .
Olw'ekigambo kya Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye: «Buli kizuule mu ddini bubuze» Esangibwa mu kitabo kya Abu daud.
n'ekigambo kya Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna akola omulimu nga teguliko kiragiro kyaffe, omulimu ogwo gumuddizibwa» Esangibwa mu kitabo kya muslim.
Eky'okulabirako: Okwongera mu Ibaada, nga okwongera omulundi ogw'okuna mu kufuna wudhu, okukuza Amazalibwa ga Nabbi, tebyava ku Nabbi yadde ba swahaba be.
Ekibuuzo 19: Enzikiriza y'okwagala, n'okukyawa y'eliwa?
Okwanukula:Alwala'u: kwe kwagala abakkiriza n'okubataasa.
Yagamba Allah omugulumivu: (N'abakkiriza abasajja N'abakkiriza abakyala abamu mu bo mikwano gya bannaabwe) [Suurat At-Tauba:71].
Al-bara'u: kwe kunyiigira abatali basiramu, n'okubakyawa.
Yagamba Allah: (Mazima mwalina eky’okugoberera ekirungi (ddala) mu (Nabbi) Ibrahiimu n’abo abaali awamu naye, mu kiseera bwe baagamba ekibiina kyabwe nti: Mazima ffe tubaawukanyeeko (era twesambye) ne kw’ebyo bye musinza ebitali Allah: Tubawakanyizza, era bumaze okweyoleka obulabe n’obukyaayi wakati waffe nammwe obw’olubeerera okutuusa lwe munakkiriza Katonda (ali Omu Oyo) yekka) [Suurat Al-mumtahana:4].
Ekibuzo 20: Allah akkiriza eddiini endala nga ssi busiraamu?
Okwanukula: Allah takkiriza diini etali busiraamu.
Yagamba Allah: {N'omuntu anoonya obutali Busiraamu okugifuula eddiini, ssi ya kukkirizibwa kuva gy'ali, naye ku Lunaku lw'Enkomerero aliba wa mu bafaafaaganiddwa} [Suurat Aal-Imran 85].
Ekibuuzo 21:Obukaafiiri bubeera mu bigambo, n'emirimu, n'enzikiriza, waayo eky'okulabirako.
Eky'okulabirako ky'ekigambo: Okuvuma Allah oba Omubaka we okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
Eky'okulabirako ky'omulimu: Okukakkanya Quran, oba okuvunnamira ekitali Allah.
Eky'okulabirako ky'enzikiriza: Okukkiriza nti waliyo asaanidde okusinzibwa atali Allah, oba nti Waliyo omutonzi atonda ne Allah.
Ekibuuzo 22: Obunnanfuusi kyekki, era emiteko gyabwo gyegiriwa?
1- Obunanfuusi obunene: kwekukweeka obukaafiiri, ate n'oyolesa obukkiriza.
Era bufulumya omuntu mu busiraamu, era bukaafiiri bunene.
Yagamba Allah: (Mazima abannanfuusi balibeera mu muko ogukomererayo wansi mu muliro; era togenda kubafunira mutaasa) [Suurat Al-nisaa:145]
2- Obunnanfuusi obutono: Okugeza nga: Okulimba, okwawukana ku ndagaano, n'okukumpanya.
Tebujja mu busiraamu, era bubalibwa mu mazambi, ne nnyini bwo aba ayolekedde okubonerezebwa.
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: [Obubonero bw'omunnanfuusi buli busatu: bw'anyumya alimba, bw'akola endagaano agyawukanako, era bw'aba yeesigiddwa akumpanya] Yayogerwa Bukhari ne muslim
Ekibuuzo 23: Ani ow'enkomerero mu ba nabbi n'ababaka?
Okwanukula:
ye Muhammad okusaasira kwa Allah n'emirembe bibere ku yye.
Yagamba Allah: {Tabeeranga Muhammadi kita w'omo mu basajja mu mmwe, naye ye mubaka wa Allah era ye w'enkomerero mu ba Nabbi.......} [Suurat Al-ahzaab: 40].
Yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Era nze nabbi ow'enkomerero, tewali nabbi luvannyuma lwange » Yayogerwa Abu dauda, ne Tirmidhi n'abalala
Ekibuuzo 24:Eky'amagero kyekki?
Okwanukula:Eky'amagero: Buli Allah kyeyawa ba Nabbi be nga sikyaabulijjo, kijulire amazima gabwe.
okugeza:
-Okubejjukamu kw'omwezi kulwa Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye. Allah yagamba: {Enkomerero esemberedde okutuuka n'omwezi ne gubejjukamu * Bwe baba nga balabye eky'amagero baawukana (ku kukikkiriza), ne bagamba nti: Eryo ddogo (lya Muhammadi) lya lubeerera * (Bwe batyo) ne balimbisa (Amazima) ne bagoberera okwagala kwabwe. Sso nga buli kigambo kirina obutebenkero bwakyo} [Al-Qamar 1-3]
-N'ennyanja okweyawulamu ku lwa Musa emirembe gibeere ku yye, n'okuzikirira kwa Falawo n'amaje ge. Yagamba Allah: (Era mujjukire ekiseera bwe Twayawulayawula mu Nnyanja ku lwammwe ne Tubawonya, ne Tusaanyaawo abantu ba Fir'auna nga nammwe mutunula) [Suurat Al-baqara: 50]
Ekibuuzo 25 Ba swahaba be baani? era abaffe kitukakatako okubaagala?
Swahaba: y'oyo eyasisinkana nabbi Muhammad (okusasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku yye), nga amukkiririzaamu, era n'afiira ku busiraamu.
kitukakatako okubaagala, n'okubagoberera, era bebantu abasinga obulungi n'enkizo oluvannyuma lwa ba Nabbi.
Era ab'enkizo mu bo: be basika ba Nabbi abana:
Abubakar (Allah amusiime).
Umar (Allah amusiime).
Uthman(Allah amusiime).
Ali(Allah amusiime).
Allah yagamba nga ayogera ku ba swahaba(Allah abasiime bonna): (N'abaakulembera abaasooka (mu Busiraamu), mu Basenguse n'Abaataasa, n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi- Allah Yabasiima nabo ne bamusiima, n'abategekera Ejjana nga gikulukuta wansi waayo emigga, bakutuula mu yo obugenderevu n'obugenderevu. Okwo kwe kwesiima okusukkirivu) [At-Tauba :100]
Ekibuuzo 26:Ba mama b'Abakkiriza be bani?
okwanukula:be bakyala ba Nabbi Muhammad(Okusaasira n'emirembe bibeere ku yye).
Yagamba Allah omugulumivu: {Nabbi y'asinga okukakatirwa okwagalibwa abakkiriza okusingako okweyagala (bo bennyini) ne bakyala be bannyaabwe (mu ddiini)}. [Suurat Al-ahzaab:6]
Ekibuuzo 27. Omugabo gw'abenju ya Nabbi kuffe gweguliwa?
Okwanukula:Tubaagala, netubafuula mikwano gyaffe, netunyiigira yenna abanyiigira, era tetubasussa webalina kukoma.Era nga nabo be bakyala be, n'abaana be, n'abenju ya Hashim, ne mutwalibi Abakkiriza.
yagamba Allah omugulumivu: {Mazima Allah ayagala abajjeko mmwe ebibi (Abange Mmwe) abo munnyumba ya Nnabbi, (era) abatukuze olutukuza}. [Al-Ahzaab 33].
Ne mu hadiith ya Nabbi (okusasira n'emirembe bibere ku yye) yagamba: (Mbajjukiza Allah ku bantu b'enju yange, mbajjukiza Allah ku bantu b'enju yange, mbajjukiza Allah ku bantu b'enju yange)
amakulu nti mubayise bulungi, era mubawe n'ekitiibwa kyabwe ekibasaanira. Yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 28:Kiki ekitukakatako eri abakulembeze b'obusiramu?
okwanukula:Ekitukakatako: kubawa kitiibwa, okuwulira n'okubagondera mu butali bujeemu, okubasabira, n'okubabuulirira mu kyama, n'obutabeewagulako okujjako nga tubalabye ko ekikolwa ky'obukafiri ekyeyolefu.
Yagamba Allah omugulumivu: { Abange mmwe abakkiriza! Mugondere Allah n'Omubaka We, ne bannannyini Buyinza mu mmwe; bwe mubanga mukaayanye mu kintu , mukizzenga eri Allah n'Omubaka We, bwe mubeera nga mukkiriza Allah n'Olunaku Lw'enkomerero: Ekyo kye kirungi era ge magoba agasinga obulungi } [An-Nisaa: 59]
Ekibuuzo 29: Y'eriwa ennyumba y'abakkiriza?
Okwanukula: Ejjana, yagamba Allah omugulumivu: {Mazima Allah aliyingiza abo abakkiriza ne bakola emirmu emirungi Ejjana (mwe balibeera) nga emigga gikulukutira wansi waayo} [Suurat Muhammad:12]
Ekibuuzo 30: Y'eriwa ennyumba y'abakaafiiri?
Okwanukula:Omuliro, yagamba Allah: (Mutye omuliro ogwo, okukumwa kwagwo gukumirwa ku bantu n'amayinja, gwateekerwateekerwa abatakkiriza). [Suurat Al-Baqara: 24]
Ekibuuzo 31:khaufu (okutya) kyekki? Era Raja'u (okusuubira) kyekki? obujulizi ku byo bwe buliwa?
Okwanukula:Al-khaufu: kwe kutya Allah, n'okutya ebibonerezo bye.
Al_raja'u: kwe kululunkanira empeera za Allah, n'okusonyiwa kwe, n'okusaasira kwe.
Obujulizi: Kigamba kya Allah omugulumivu: Abo be basaba (nga basinza), nga banoonya ekkubo eri batuusa eri Mukama waabwe (nga balinga abavuganya wakati waabwe bokka na bokka, buli omu nga ayagala abeere) asinga okuba okumpi (ne Allah): ne basuubira okusaasira Kwe nga batya ebibonyobonyo Bye. Mazima ebibonerezo bya Mukama wo byali (ebiteekwa ) okwekekwa (okuviira ddala oluberyeberye). [Suurat Al-Israa: 57]
Era Allah n'agamba: {Tegeeza (Ggwe Muhammadi) abaddu Bange (nti): Mazima Nze Musonyiyi, Omusaasizi(49) era mazima ddala ebibonyobonyo byange byo bibonyobonyo ebiruma enyo(50)} [suurat Al-hijir: 49-50].
Ekibuuzo 32: Yogerayo agamu ku mannya ga Allah n'ebitendo bye.
Okwanukula: Allah, Al-rabb, Al-rahman, Al-sami'u, Al-baswiiru, Al-aleemu, Al-razzaaq, Al-hayyu, Al-adhwiimu, Al-hakiimu,....n'amala Amanya ga Allah n'ebitendo bye ebyawaggulu.
Ekibuuzo 33: Nyonyola Amannya gano.
okwanukula:Allah: Amakulu, asinzibwa mu butuufu bwokusinzibwa, mu bwomu bwe talina kimwegattako.
-Al-rabb: omutonzi, omufuzi, omugabirizi, ateekateeka ensonga zonna yekka eyayawukana.
-Al-sami'u: oyo okuwulira kwe okwabuna buli kintu, awulira amaloboozi gonna mu bika byago.
-Al-baswiir: Oyo alaba buli kintu, era alaba buli kitono oba ekinene.
-Al-aliimu: Y'oyo okumanya kwe okwetolola buli kintu. ebyayita, ebiriwo, n'ebyomumaaso.
-Al-rahman: Omusaasizi, oyo okusasira kwe okwabuna buli kitonde na buli kiramu, Abaddu bonna n'ebitonde byonna biri wansi w'okusaasira kwe.
-Al-razzaak: Omugabirizi, oyo agabirira ebitonde byonna mu abantu, amajinni, na buli kitambula.
-Al-hayyu: Omulamu oyo atafa, ate nga ebitonde byonna bifa.
-Al-adhwiimu: Oyo alina obujjuvu bwonna, n'obugulumivu bwonna, mu mannya ge, n'ebitendo bye n'ebikolwa bye.
-Al-hakeemu: Oyo ayatuukiriza ebitonde bye, n'abiwunda, era alina ekigendererwa mu kutonda kwe n'ekiragiro kye.
-Al-hikma (Amagezi): kwe kuteeka ebintu webisanidde okubeera.
Ekibuuzo 34: Kiki ekitukakatako eri abamanyi b'omusiraamu?
Okwanukula: Okubaagala, era netubeebuuzaako ku nsonga eziba ziguddewo mu ddiini, netubogerako birunji, era abogerako ekibi aba tali ku nkola ntuufu.
-Allah yagamba: Allah akusitula abo abakkiriza mu mmwe (abawe amadaala agabasaana n’ekitiibwa) n’abo abaweebwa Okumanya balina amadaala (agasingako). Ne Allah Amanyi ebyama by’ebyo bye mukola) [Suurat Al- Mujaadila :11].
Ekibuuzo 35: Mikwaano gya Allah bebaani?
Okwanukula: be bakkiriza abatya Allah abagoberera enkola ya nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.
Yagamba Allah: (Abange mazima abaagalwa ba Katonda tebalina bo kutya, era tebali bo bakunakuwala 62 Abo abakkiriza nebaba nga batya ne Allah 63) [Suurat yuunus: 62-63].
Ekibuuzo 36: Abange, obukkiriza bigambo na mirimu?
Okwanukula: Obukkiriza bigambo, namirimu, nanzikiriza, kuba kwogera n'olulimi, n'okukkiriza n'omutima, nokukola n'ebiyungo.
Kwe kwatula n’olulimi, n'okukkiriza n’okukola n’omutima n’okukola n’ebitundu by’omubiri.
Mu hadith eva ku Abi huraira nga ajiggya ku Nabbi okusasira n'emirembe gibere ku yye yagamba nti: ''Obukkiriza bulimu amadaala wakati w'ensavu mu asatu n'ensanvu mu mwenda, oba nkaaga mu asatu n'enkaaga mu mwenda, nga neddaala erisinga enkizo ky'ekigambo LA ILAAHA ILLA LLAHU, n'erisembayo wansi kwe kujjawo ekinyiiza mu kkubo, n'ensonyi ddaala mu madaala g'obukkiriza'' Yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 37: Imaani erinya nekka?
Okwanukula: Imani erinya nakugondera Allah, era ekka nakumujeemera.
yagamba Allah: Mazima abakkiriza (Abaddala) be bo bw'aba nga Ayogeddwako Allah emyoyo gyabwe gitya, era bwe biba nga bibasomeddwa ebigambo Bye kibongera obukkiriza, era nga beesigamira Mukama waabwe. [suurat Al-anfaal: 2].
Ekibuuzo 38: Okulongoosa kyekki?
Okwanukula: kwekusinza Allah nga olinga amulaba, newankubadde tomulaba mazima yye akulaba.
Ekibuuzo 39: Emirimu ddi lwejikkirizibwa mu maso ga Allah?
Okwanukula: Gikkirizibwa n'obukwakkulizo bubiri:
1- kwekuba nga omulimu ogukoze ku lwa Allah.
2- okuba nga ogoberedde enkola ya nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
Ekibuuzo 40: okwesigamira Allah kyekki?
Okwanukula: Kwe kwesigamira ku Allah mukunoonya ebyetaago ne mukuziyiza ebikosa, owamu n'okuteekawo ensonga ezikutuusa kw'ekyo
Yagamba Allah omusukkulumu: {N'omuntu ayesigamira Allah, naye amumala mu byonna } [Suurat At-Talaaq:3].
Hasbuhu: amakulu nti Amumala.
Ekibuuzo 41: Ki ekyetteeka ky'okulagira obulungi n'okuziyiza obubi?
Okwanukula: Ekirungi: kwekulagira buli kikolwa eky'okugondera Allah, ate Ekibi: okuziyiza buli kikolwa eky'okugyemera Allah. Okuziyiza ekibi: kwekugaana buli kikolwa ky'okujeemera Allah.
Yagamba Allah: {Mwali (mmwe abagoberezi ba Muhammadi) ekibiina ekisingayo obulungi ekyaggyirwayo abantu (b'ensi yonna). Mulagira empisa ennungi ne mugaana ebyagaanibwa; era ne mukkiriza Allah} [Suurat Aal-Imraan:110].
Ekibuuzo 43: Ba Ahlu Sunna wal-jama be baani?
Okwanukula: Be bo abali kw'ekyo nabbi Muhammad(okusasira kwa Allah n'emirembe bibere ku yye) , ne ba swahaba be kyebaliko, mu bigambo, n'emirimu n'enzikiriza.
-Bayitibwa ba Ahlu sunnah: Olw'okugoberera kwabwe enkola za Nabbi(okusasira n'emirembe bibere ku yye), n'okulekayo okuzuula mu ddiini.
-Era nebayitibwa Jama'a: olwokubanga beegattira ku mazima nebatagawukanamu.
-Yagamba nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: (Mazima Abaana ba isirayiri bayawukanamu mu ebibinja nsanvu mu bibiri, ate ekibiina kyange kyakwawukanamu ebibinja nsavu mu bisatu, byonna bya mu muliro, okujjako ekibinja kimu, nebagamba ba swahaba nti kyekiriwa omubaka wa Allah? n'agamba: ekyo ekiri ku nkola yange ne ba swahaba bange). Yayogerwa Tirmidhi.
Ekitundu kya Fiqihi48
Ekibuuzo 1: Nyonnyola Okwetukuza.
Okwanukula: okwetukuza: kwe kujjawo ekizuusi, n'okuvawo kw'obukyafu. amakulu okujjawo ekiremesa okusaala.
Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibere ku yye: (Ekisumuluzo ky'esswala kwetukuza) Yayogerwa abu dauda.
Okwetukuza okuva mu bukyafu: Ye musiraamu okujjawo obukyafu bwonna obubeera bugenze ku mubiri gwe, oba olugoye lwe, oba ekifo ky'asaliramu.
Okwetukuzaako ekizuusi: kwe kwetukuza nga ofuna wudhu oba nga onaaba n'amazzi amatukuvu, oba nga otayammama(okwetukuza nga okozesa enfufu) eri oyo abeera abuliddwa amazzi oba nga tasobodde kugakozesa.
Ekibuuzo2: Otukuza otya ekintu ekigenzeeko obukyaafu(ennagisi)?
Okwanukula: Okyoza n'amazzi mpaka bwekitukula. Naye ate ekyo embwa kyekombyeeko; kyozebwa emirundi musanvu nga ogusooka okozesa ttaka.
Hadiith nga eva ku Abu Huraira Allah amusiime yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nti: Okutukula kw'ekyombo ky'omu mumwe singa embwa ekikombamu, kukyoza mirundi musanvu, nga ogusooka okozesa ttaka. Yayogerwa Muslimu.
Ekibuuzo 3: Bulungi ki obuli mu kufuna wuzu?
Okwanukula: Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omusiraamu oba Omukkiriza bw'afuna wudhu, n'anaaza ekyenyi kye, buli kyonoono kyeyatunuddeko n'amaso ge kivaamu mu kyenyi kye n'amazzi, oba n'ettondo ly'amazzi erisembayo.
bw'anaaza emikono gye, buli kyonoono kyeyakutteko n'emikono gye kimuvaako n'amazzi ago, oba n'ettondo ly'amazzi erisembayo,
bw'anaaza amagulu ge, buli kyonoono kyeyakoze nga atambuza amagulu ge kimuvaako n'amazzi ago oba n'ettondo ly'amazzi erisembayo, okutuusa lw'amaliriza nga mukutuvu talina byonoono». Yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 4: Ofuna otya wuzu?
Okwanukula: nakunaaba ebibatu emirundi esatu. N'okunyumunguza mu kamwa, n'okufeesafeesa amazzi mu nnyindo n'okuganyiza emirundi esatu
-N'okunyumunguza mu kamwa: kwekuteeka amazzi mu kamwa n'okugawandula.
- N'okufeesafeesa: kwe kusika amazzi n'empewo negayingira mu nnyindo nga okozesa omukono ogwa ddyo.
-N'okugawandula: kwe kufulumya amazzi gewasise okuva mu nnyindo nga okozesa omukono ogwa kkono.
-Oluvannyuma n'onaaba ekyenyi emirundi esatu.
-Oluvannyuma n'onaaba emikono gyombi mpaka ku nkokola emirundi esatu.
-Oluvanyuma n'osiimuula mumutwe nga ozza mumaaso n'emabega, n'osiimuula n'amatu gombi.
-Oluvannyuma n'onaaza ebigere byombi mpaka kubukongovule emirundi esatu.
Eyo yewuzi enzijuvu, era ekyo kyakakasibwa okuva ku Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye mu hadithi eziri mu bukhari, ne muslim nga bazijja ku Uthman ne Abdullahi bin zaid, n'abalala.
Era kyakakasibwa okuva mu kitabo kya Bukhari n’abalala. Mazima yafunako wudhu omulundi gumu gumu, era n'afunako wudhu emirundi ebiri, ekitegeeza: yanaaba buli kiyungo kya wudhu omulundi gumu, oba emirundi ebiri.
Ekibuuzo 5: Bye biriwa eby'etteeka mukufuna wuzu, era byogere?
Okwanukula: Byebyo nga singa omusiraamu alekayo ekimu ku byo wuzu ye tetuuka.
1- Okunaaba ekyenyi era mwe muli okunyumunguza mu kamwa n'okufesafesa amazzi n'okugafulumya mu nnyindo.
2- Okunaaba emikono okutuuka ku nkokola.
3- Okusiimuula omutwe, era kwe kuli amatu.
4- Okunaaba ebigere byombi outuuka kubukongovule.
5- Okugoberezeganya ebiyungo. nga otandika n'ekyenyi n'ozzaako emikono, n'ozzaako omutwe, n'ozzaako amagulu.
Yagamba Allah omusukkulumu: {Abange mmwe abakkiriza! Bwe mubanga muyimiridde okugenda okusaala, munaaze mu maaso gammwe n'emikono gyammwe okutuusa ku nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe amazzi n'ebigere byammwe (mubinaaze) okutuusa kubukongovvule. [Al-Ma-ida 6].
6-Okuliiraanyisa: Era kwe kufuna wuzu mu kiseera kimu nga tewali kwawula mu budde okutuusa ekiyungo lwekikala. Ng'okufunako ekitundu kya wuzu, ate n'ojjuza mu kiseera ekirala. eyo wuzu teba ntuufu.
Olwa hadiith: Mazima Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye yalaba omusajja nga emabega w'ekigere kye waliyo akatundu akenkana ekinusu nga tekatuuseeko mazzi, Nabbi n'amulagira addemu okufuna wuzu, n'eswala ajiddemu. Yayogera Abu Dauda.
Ekibuuzo: Sunna za wuzu ze ziriwa era zoogere?
Sunna za wudhu: by'ebintu nga omuntu bw'abikola nga afuna wuzu, afunamu empeera, ate bwaba abirese tafuna musango, era wuzu ye ebeera ntuufu.
1- Okugamba nti Bismillah. Olwa hadiith: «Teri wuzu nzijuvu eri oyo aba tayogedde ku linnya lya Allah» Yayogerwa Abu Dauda.
2. Okusenya. Olwa hadiith «Singa tekwali kukalubiriza bantu ba kibiina kyange, nandibalagidde nebasenya buli ku kufuna wudhu.» Yayogerwa Ahmada
3- okunaaba ebibatu byombi
4. Okusosola engalo. Olwa hadiith: «Jjuza wuzu( amakulu nti buli kiyungo kinaazibwe nga bwekitekeddwa), era sosola wakati w'engalo zo wamu n'ebigere, era feesafeesa amazzi gatuuke ewala mu nnyindo, okujjako nga wasiibye» Yayogerwa ba nannyini sunani.
5- Olunaaba olw'okubiri, n'olwokusatu ku buli kiyungo.
6. Okutandika ne ddyo Olwa hadiith ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime yagamba: «Nabbi yayagalanga nnyo okutandika n'oludda olwa ddyo, mukwambala engatto ze, nemukusaaniriza enviiri ze ne mukwetukuza, nemunsonga ze zonna» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7- Okusoma edduwa oluvannyuma lwa wuzu: «Ashihadu an Laa Ilaaha illa Allah Wahdahu laa shariika lahu, wa ashihadu anna Muhammadan Abduhu wa Rasuuluhu». Yayogerwa Muslim.
8: Okusaalayo eraka bbiri oluvannyuma lwa wuzu. Olwa hadiith: «Yenna afuna wuzu nga eyange eno, oluvannyuma n'asaalayo eraaka bbiri natazirowoolezaamu nnyo biri bweru wa swala, Asonyiyibwa amazambi ge geyakulembeza okukola» Yayogerwa bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 7: Bye biriwa ebyonoona wuzu?
Okwanukula: Buli ekifuluma okuva mu makubo abiri, mu maaso n'emabega. nga Omusulo, Empitambi, n'omukka.
-Okwebaka, oba okugwa eddalu, oba okuzirika. Olwa hadiith: «Amaaso ky'ekisiba ky'emabega, yenna eyeebaka afune wuzu nga azukuse» Yayogerwa Abu Daud, ne Ibun Maajah.
-Okulya ennyama y'eŋŋamiya. Omusajja yabuuza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Nfuna wuzu nga ndidde ennyama y'eŋŋamiya?, namuddamu nti:« yye». Yayogerwa Muslim.
Okukwata ku bwerere (mumaaso oba emabega) nga tewali kiziyiza. Olwa hadiith: «Yenna akwata ku bwerere bwe afune wuzu» Yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi n'abalala.
Ekibuuzo 8: Tayammumu ky'ekki?
Okwanukula: Tayammumu: kwe kukozesa ettaka nga amazzi gabuze oba nga tekisoboka kugakozesa.
Yagamba Allah omusukkulumu: {ne mutafuna mazzi, olwo mugendereranga okukozesa ettaka eddungi, musiige mu maaso gammwe n'emikono gyammwe. Mazima Katonda Ye Musonyiyi} [Suurat An-Nisaa 43].
Ekibuuzo 9: Otayammama otya?
Okwanukula: Na kuba ttaka n'ebibatu byombi, n'osiimuula mu kyenyi, nekungulu kwebibato omulundi gumu.
Olw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba Ammaar (Allah amusiime): «Kibadde kikumala okukola bw'oti» Nabbi n'akuba nebibatu bye byombi ku ttaka, n'abifuuwako, oluvannyuma nabikozesa byombi n'asiiga mu kyenyi kye, ne kungulu kw'ebibatu bye. Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 10: Bye biriwa ebyonoona tayammumu?
Okwanukula: Buli ekyonoona wuzu.
-Amazzi bwegaba galabise.
Ekibuuzo11: khuffu ne jauraba ky'ekki, era zisiigibwako?
Okwanukula: -khuffu: Ekyo ekyambalwa ku kugulu nga kikolebwa mu ddiba.
-Jaurab: ekyambalwa ku kugulu nga tekiva mu ddiba( nga sitokisi).
Era kikkirizibwa mumateeka okuzisiimulako mukifo ky'okunaba ebigere.
Olwa hadith ya Mughiira bin shu'uba(Allah amusiime), nti Omubaka Wa Allah(okusasira n'emirembe bibere ku yye) yafuna wudhu, n'asiiga sookisi. Yayogerwa Abu Daud, ne Tirmidhi, n'abala.
-Ate mu kitabo kya Bukhaari ne Muslim: Yafuna wuzu n'asiga ku khuffu ze.
Ekibuuzo 12: kyigendererwa ki ekiri mu kusiiga ku ngatto z'eddiba.
Okwanukula:
okwanguyiza n'okugondezaamu abaddu ba Allah, naddala mu biseera by'obunnyogovu, ne mulugendo; kubanga kikalubamukko okujjamu ebyambaddwa mu bigere. Yagamba omugulumivu: {Allah abaagaliza bwangu era tabaagaliza buzito} [Al-baqara 185].
Ekibuuzo 13: Bwebuliwa obulombolombo bw'okusiiga ku ngato ez'eddiba okutuufu?
Okwanukula: 1.
Okwambala engatto z'eddiba nga amaze kufuna wudhu.
Olwa Hadiithi ya Mughiira Ibun Shu'ba Allah amusiime yagamba:
Nali ne Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye mu lugendo, nenkutama mmujjemu engatto ze ez'eddiba, n'angamba: «zireke nazambadde nina wuzu». n'azisiimuulako. Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
2- Engatto erina kuba nga ntukuvu, tekikkirizibwa kusiiga ku nkyaafu.
3- Engatto erina okuba nga ebikka ekitundu ky'ekigere ekiteekeddwa okunaazibwa singa omuntu aba afuna wuzu.
4- Okusiiga ku ngatto kulina kubeera mukiseera ekigere.
omutuuze atali mutambuze Olunaku lumu(emisana n'ekiro), ate ali mu lugendo: Ennaku satu n'ebiro bya zo.
Olwa hadiith ya Ali Katonda amusiime: Omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yateerawo omutambuze ennaku satu n'ebiro byaazo, ate omutuuze olunaku lumu n'ekiro kyalwo. Yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 14: Okusiiiga ku ngatto z'eddiba kikolebwa kitya?
Okwanukula: okusiiga ku ngatto: oteeka engalo nga zitobye ku bugere webutandikira, oluvannyuma n'osiiga otuusa waggulu ku ntumbwe, Omukono ogwa dyo gusiiga kugulu kwa dyo, n'omukono ogwa kkono ne gusiiga okugulu kwa kkono, era oyanjuluza engalo nga osiiga, ate okikola omulundi gumu tokiddamu.
Ekibuuzo 15: Kiki ekyonoona okusiiga ku khuffu ebbiri?
Okwanukula: 1- Singa ebbanga ly'okusiiga liggwaako.
tekikkirizibwa kusiiga ku ngatto nga ebbanga eryakkirizibwa liweddeko. olunaku n'ekiro kyalwo ku mutuuze, Ennaku satu n'ebiro bya zo ku mutambuze.
2- Okujjamu khuffu , singa omuntu ajjamu kuffu zombi oba emu ku zzo oluvannyuma lw'okusiiga, okusiiga kuba kufudde.
Ekibuuzo 17: Esswala ky'ekki?
Okwanukula: kwe kusinza Allah n'ebigambo, n'ebikolwa ebyeyawulidde, nga biggulwawo na takibiira , ate nga bifundikirwa ne ssalaam.
Ekibuuzo 18: Esswala eramulwa etya?
Okwanukula: Esswala ya tteeka ku buli musiraamu.
Yagamba Allah omusukkulumu: {Mazima esswala yalaalikibwa ku bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere} [Suurat An-Nisaa:103].
Ekibuuzo 19: Kiramulwa kitya okuleka esswala?
Okwanukula:
Okuleke esswala bukaafiiri. Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: « Endagaano eri wakati waffe nabo (abakaafiiri) swala, yenna ajireka abeera akaafuwadde» Yayogerwa Ahmad ne Tirmidhi n'abalala.
Ekibuuzo 20: Esswala ezikakata ku musiraamu ekiro n'emisana ziri mmeka? era buli sswala erina laaka mmeka?
Okwanukula:
Esswala ttaano mu lunaku n'ekiro.
- Esswala ya fajir erina eraaka bbiri.
Esswala ya zuhuri: Erina eraaka nnya.
Esswala ya aswir: erina eraaka nnya.
Esswala ya Maghrib erina eraaka ssatu.
Esswala ya Isha: erina eraaka nnya.
Ekibuuzo 21: Bwebuliwa obulombolombo bw'esswala?
Okwanukula:
1- Obusiraamu; Esswala y'omukaafiiri tetuuka; olwokuba nti emirimu gyonooneka olwa shirki.
Yagamba omugulumivu: {Singa wagatta ku Allah-ekintu kyonna- emirimu gyo gyandiyonoonese} [Suurat Az-zumar: 65].
2-Amagezi(okutegeera); Esswala y'omulalu tetuuka.
3-Okwawula; esswala y'omwana omuto atayawula wakati w'ekibi n'ekirungi tetuuka.
Olw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «ekkalaamu yasitulwa ku [bantu] basatu: eyeebase okutuusa lw'azuukuka, ne ku muto okutuusa lwe yeeroterera (lwaakula), ne ku mulalu okutuusa lwafuna amagezi» Yayogerwa ba nannyini sunani.
4. Okumalirira(Enniyya)
Mu hadiith: «Emirimu gibalibwa nakumalirira, era buli muntu afuna ekyo kyamaliridde» Yayogerwa Bukhaari.
5- Okuyingira kw'obudde. Allah yagamba: {Mazima esswala zaalaalikibwa ku bakkiriza mu biseera ebigere} [An-Nisaa :104]
6- Okwetukuza mu kwejjako ekizuusi. Olwa hadiith: «Allah takkiriza swala y'omu mu mmwe singa aba afunye ekizuusi, okutuusa nga afunye wuzu» Yayogerwa bukhaari ne Muslim.
7- Okwetukuzaako obucaafu Olw'ekigambo kya Allah: (N'engoye zo zitukuze) (Al-Muddathir :4)
8- Okubikka obwereere. Yagamba Allah: {Abange abaana ba Adam mutwalenga okwenyiriza kwamwe awali buli muzikiti} [Al-a'raaf :31]
9- Okwolekera ekibula. yagamba Allah: ( Kale yolekezanga ekyenyi kyo(nga osaala) ku ludda lw'omuzikiti ogw'emizizo(kaaba), na buli wonna wemubanga muli(mwe abasiraamu), mwolekezenga ebyenyi bya mmwe ku ludda lwa gwo } [Al-Baqarah :144]
Ekibuuzo 22: Z'eziriwa empagi z'esswala?
Okwanukula: Ziri empagi kumi na nnya(14), era z'ezino wammanga:
1: Okuyimirira mu sswala ez'etteeka eri oyo aba asobodde. Olwa hadith ya Imraan bin Huswain Allah amusiime nga agijja ku Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Saala ng'oyimiridde, bw'oba nga tosobodde saala ng'otudde, bw'oba tosobodde saala nga weebase ku ludda lwo» Yayogerwa Bukhaari.
Takbiira y'emizizo,
"ALLAHU AKBARU". Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye «Bw'oba oyimiridde okusaala leeta Takbiira» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okusoma Al-Faatiha. Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye «Teba ntuufu swala y'oyo atasomye suurat Al-faatiha» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
- Okukutama ku maviivi, ogolola omugongo neguba nga gwenkana wamu n'omutwe.
Okukutaamulukuka okuva ku maviivi.
-Okwenkanankana nga oyimiridde. Olw'ekigambo kye okusaasira n’emirembe bibeere ku ye: «Oluvannyuma kutama ku maviivi okutuusa lwotebenkera mu kukutama, oluvannyuma yimuka okuva ku maviivi okutuusa lwewesimba bwantoogo» Yayogerwa bukhari ne Muslim.
- Okuvunnama: okuteeka ekyenyi ,enyindo, ebibatu byombi, amaviivi gombi n'enwe z'ebigere mu kifo wovunnamye.
- okuvunamulukuka.
-Okutuula wakati w'envunnama ebbiri. Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye: «Oluvannyuma vunnama okutuusa lw'otebenkera nga ovunnamye, oluvanyuma ove mukuvunnama okutuusa nga otebenkedde mukutuula» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Sunna mw'ekyo:
Atuule ku kigere kye ekya kkono, n'ayimirize ekigere kye ekya ddyo, era akyolekeze eri Qiblah. Olwa hadiith ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime: «Nabbi yali nga ayanjuluza ekigere kye ekya kkono, ate n'asimba ekya ddyo» Yayogerwa Muslim.
- Okutebenkera, kwe kubeera omutebenkevu ku buli mpagi ey'ekikolwa.
- Tashahhudu esembayo. Olwa hadiith ya Ibun Masuudi Allah amusiime yagamba: Twali tugamba mu sswala nga tahiyaatu tennalaalikibwa. Yayogerwa Nasa'i naye nga ensibuko yayo eri mu kitabo kya Bukhaari n'ekya Muslim.
-Olutuula olwa tahiyyaatu esembayo.
Salaam ebbiri, era kwe kugamba emirundi ebiri nti:" Assalaamu Alaikum warahmatullah". Olwa hadiith: «Mazima yye yali nga atoola salaamu ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono, n'agamba nti: Assalaamu Alaikum warahmatullahi » Yayogerwa Tirmidhi n'abalala.
Okulinaanisa empagi zonna nga bwezoogeddwa.
okugeza: Singa akigenderera n'avuunama nga tannakutama eswala efa, naye bw'aba akikoze mumbeera ya kwerabira kimukakatako okuddayo asooke akutame oluvannyuma avuuname.
Ekibuuzo 23: Bye biriwa eby'etteeka by'esswala?
Okwanukula: Eby'etteeka by'esswala biri Munaana:
1: Takbiira zonna ng'ojjeeeko takibiira y'emizizo
2: Okugamba nti: «Sami-Allahu liman hamidah»
kyogerwa imam, n'omuntu asadde yekka.
3: Okugamba nti: «Rabbana walakalhamdu».
4: Okugamba nti: «Subhaana Rabbiyal-adhwiimu» omulundi gumu mu kukutama.
5: Okugamba nti: «Subhaana Rabbiyal-a-ala» omulundi gumu mukuvunnama.
6:Okugamba nti: «Rabbi ighfir lii» wakati w'envunnama ebbiri.
7: Tahiyyaat esooka.
8: Olutuula lwa tahiyyaatu esooka.
Ekibuuzo 24: Z'eziriwa Sunna z'esswala?
Okwanukula: Ziri kkumi n'emu, nga weziri wammanga:
1: Okugamba oluvannyuma lwa takbiira ey'emizizo nti: «Subhaanaka Allahumma wabihamdika, watabaaraka ismuka, wata-ala jadduka, wa La-Ilaaha ghairuka»
eyo ye duwa eggulawo esswala.
2: Okugamba nti: "Audhu billahi minashaitwaani rrajiim.
3: okugamba nti: "Bismillahi Al-rahmani Al-rahiim.
4: Okugamba nti: Aamiin
5: Okusoma essuula yonna oluvanyuma lwa Al-fatiha.
6: Okusoma mu lwaatu eri imaam.
7: Okugamba oluvannyuma lw'ekigamba "Rabbana walaka-hamdu"
nti: mil-a ssamaawaati wa mil-al-ardhi wa mil-a ma sh'ita min shai-in ba-adahu".
8- Ekyeyongera ku mulundi ogumu mu kugamba (subuhaana rabbiyal-adhiim) ebyogerwa mu ku kutama.
9: Ekyeyongera ku mulundi ogumu mu kugamb (subuhaana rabbiyal a-alaa) ebyogerwa mu kuvunnama.
10- Ekyeyongera ku mulundi ogumu mu bigambo ebyogerwa wakati w'envunnama ebbiri:«Rabbi ighifir lii».
11. Okusaalira Nabbi -Okusasira n'emirembe bibere ku yye-, n'okumusabira emikisa yye n'abantu be, n'okusaba edduwa oluvannyuma lw'okumusaalira mu tahiyyaatu esembayo.
Sunna z'ebikolwa, era ziyitibwa ez'engeri:
1- Okuwanika emikono ng'oleeta takibiira eggulawo esswala.
2- Okuwanika emikono nga oleeta takibiira y'okukutama.
3- Okuwanika emikono ng'ova ku kukutama.
4- N'okugissa oluvannyuma lw'ekyo.
5- Okuteeka omukono ogwa ddyo ku gwa kkono.
6- Okutunula mu kifo w'avunnama.
7- okwawula wakati w'ebigere nga oyimiridde.
8- Okukwaata ku maviivi n'ebibatu byombiriri nga ayanjuluzza enalo ze mukaseera nga okutamye, n'okugolola omugongo, n'agwenkanyankanya n'omutwegwe .
9- Okutuusa ebiyungo by'okuvunnama ku ttaka, n'okubikoonyesa ku kifo ewavunnamirwa.
10- Okwawula emikono n'embiriizize, n'olubuto ku bisambi, n'ebisambi ku ntumbwe, n'okwawula wakati w'amaviivi, n'okusimba ebigere, n'okwanjala ebibatu ku ttaka, n'okuteeka emikono ku kigero ky'ebibegaabega nga myanjulukufu ate nga engalo zekutte wamu. ebyo byonna bikolebwa mu kuvunnama.
11- Okutuula kw'okwanjuluza ekigere ekya kkono netukituulako okubeera wakati w'envunnama ebbiri, ne mu tahiyyaatu esooka.
n'okutuula okw'okuyisiŋŋanya amagulu mu tahiyyaatu esembayo.
12- Okuteeka emikono kubisambi nga myangyulukufu, nga engalo zegasse wamu mu lutuula wakati w'envunnama ebbiri, ne mu tahiyatu.
naye ku tahiyatu bwoba oyogera ku linya lya ALLAH olugalo lwa nasswi kumukono ogwa ddyo n'oluluddirira zizingibwa, ate ekigalo ekisajja nekikwasibwa n'olwawakati, n'osonga n'oluddirira ekigalo ekisajja.
13- Okukyuka n'otunula ku ddyo ne ku kkono nga otoola salaamu.
Ekibuuzo 25: Biki ebitta esswala?
Okwanukula:
1- Okulekayo empagi oba akalombolombo k'esswala.
2- Okwogera mu sswala nga ogenderedde.
3- Okulya oba okunywa nga ogenderedde.
4- Okutambulatambula okuyitiridde.
5- Okulekayo eky'etteeka mu by'etteeka by'esswala mubugenderevu.
Ekibuuzo 26: Omusiraamu asaala atya?
Okwanukula: Engeri y'okusaalamu:
1- Ayolekera ekibula n'omubiri gwe gwonna nga tokyuseemu wadde.
2- Oluvannyuma n'aleeta enniya ye sswala gy'agenda okusaala n'omutima gwe sikugyogera.
3- Oluvannyuma n'aleeta Takibiira eyemizizo n'agamba nti: (Allahu Akbar), n'awanika emikino gye okwenkanankana n'ebibegabega by mukaseera w'aleetera takibiira.
4- Oluvannyuma n'ateeka ekibatu kye ekya ddyo ku kya kkono mu kifuba kyo.
5- Oluvanyuma n'oggulawo esswala nga ogamba nti: «Allahumma Baa-id bainii wa baina khatwayaaya kama ba'adta baina-almashriqi walmaghribi, Allahumma Nakkinii min khatwayaaya kamaa yunaqqaa thaubul-abiyadhu mina ddanasi, Allahumma ighsilnii min khatwayaaya bil-maa'i wa thalji wal-barad».
Oba n'agamba: «Subhaanaka Allahumma wabihamdika watabaaraka ismuka wata'aala jadduka wa la Ilaaha ghairuka».
6- Oluvannyuma neyenkingiriza Shaitwan nga agamba nti: «A-uudhu billaahi mina shaitwani rrajiim».
7.Oluvannyuma n'osoma bismillah ne surat Al-fatiha.
n'ogamba: (Bismillaahi rrahmaan rrahiim 1 Alhamdu lillahi rabbil-aalamin 2 Arrahmaani rrahiim 3 Maaliki yaumi ddiin 4 Iyyaaka na-abudu wa iyyaaka nasta'iin 5 Ihdina swiratwal-mustaqiim 6 Swiratwa lladhiina an-amta Alaihim, ghairil-maghdhuubi Alaihim Wala dhwaalliin 7) [suurat Al-faatiha: 1-7].
Oluvannyuma n'agamba (aamiin).
amakulu: ayi Allah yanukula.
8- Oluvannyuma n'asomayo ekimwanguyidde mu quran,
awanvuyaamu mu kusoma bw'aba ali mu sswala ya subuhi.
9- Oluvannyuma n'akutama. amakulu nti: aweta omugongo gwe ku lw'okugulumiza Allah, era n'aleeta takibiira nga agenda okukutama, n'awanika emikono gye okwenkana ebibegabega bye. Enkola eya sunna mwekyo: agolola omugongo gwe, n'agwenkanyankanya n'omutwe gwe, n'ateeka emikono gyo ku maviivi ge ng'ayanjadde engalo ze.
10- Oluvannyuma n'agamba: «Subhaana Rabbiyal-adhwiimi» ekyo akyogera emirundi esatu, naye bw'aba ayongeddeko n'agamba nti « Subhaanaka Allahumma wabihamdika Allahumma ighfir lii» nakyo kirungi.
11- Oluvannyuma n'avaayo mu kukutama n'adda waggulu nga agamba nti:«Sami-Allahu liman hamidah», n'asitula emikono gye okwenkana ebibegaabega bye. Omugoberezi (asaalidde emabega wa imaam) yye tagamba nti:(Sami-Allahu liman hamidahu), wabula agamba nti:«Rabbanaa walakalhamdu».
12: Oluvannyuma lw'okuddayo waggulu agamba nti:«Rabbanaa walakal-hamdu, mil-a ssamaawaati wal-ardhi, wamil-a ma sh'ita min shai-in ba-adahu»
13- Oluvannyuma n'avunnama oluvunnama olusooka, era n'agamba nga agenda okuvunnama nti: (Allahu akbar), era avunnamira kubiyungo bye omusanvu: Ekyenyi n'enyindo, n'ebibatu ebibiri, n'amaviivi abiri, n'enwe z'obugere bw'ebigere byombiriri, n'alekawo ebbanga wakati w'emikono gye n'ebavu ze(oludda olwa ddyo n'olwa kkono), emikono gye tagissa ku ttaka, era n'atunuza omutwe gwe n'engalo ze mu kibula.
14- N'agamba nga avunnamye nti: «Subhaana Rabbiyal-a'ala» emirundi esatu, bw'aba ayongeddeko n'agamba nti: «Subhaanaka Allahumma Rabbanaa wabihamdika Allahumma ighfir lii» kiba kirungi.
15- Oluvannyuma n'asitula omutwe gwe okuva ku kuvunnama n'agamba nti:«Allahu akbar».
16- Oluvannyuma n'atuula wakati w'envunnama ebbiri ku kigere kye ekya kkono, n'asimba ekya ddyo, n'ateeka emikono gye ku bisambi bye.
17- N'agamba mu kutuula kwe wakati w'evunnama ebbiri: «Rabbi ighfir lii, warhamnii, wahdinii, warzuqunii, wajburunii, wa aafinii».
18- Oluvannyuma n'avunnama oluvunnama olw'okubiri n'akola nga bweyakoze mu kuvunnama okwasoose.
19- Oluvannyuma n'avaayo mu kuvunnama okw'okubiri nga agamba nti:«Allahu akbar», n'asaala eraaka ey'okubiri nga bweyasadde eyasoose, n'akola era n'oyogera nga bweyakoze mu laaka eyasoose. wabula mw'eno eraaka toddamu kusoma duwa eggulawo esswala.
20- Oluvannyuma bw'amala eraaka ey'okubiri, atuula nga agamba nti:«Allahu akbar», era atuula nga bw'atuula wakati w'envunnama ebbiri.
21- N'asoma tahiyyaatu mu lutuula olwo, n'agamba nti: "Attahiyyaatu lillaahi wa swalawaatu wa twayyibaatu, assalaamu alaika ayyuha-nnabiyyu warahmatullaahi wabarakaatuhu, assalaamu alaina wa ala ibaadi llahi al-swalihiina, Ash-hadu alla ilaaha illa llahu wa ash-hadu Anna muhammadan abduhu wa rasuuluhu, Allahumma swalli ala Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallaita ala ibrahiima wa alaa aali ibrahiima innaka hamiidun majiidu, wa baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad kama baarakta alaa ibrahiima wa alaa aali ibraahiima innaka hamiidun majiidu.
A-uudhu billahi min adhaabi jahannama wa min adhaabil-qabri wa min fitnatil-mahyaa wal-mamaat wa min fitnatil-masiihi ddajjaal". Oluvannyuma n'asaba omulezi we Allah kyonna ky'aba oyagadde mu birungi by'ensi n'enkomerero.
22- Oluvannyuma atoola salaamu kumukono gwe ogwa ddyo n'agamba nti:«Assalamu alaikum warahmatullahi», n'akola kyekimu ne ku kkono.
23- Esswala bw'eba ya laaka ssatu oba nnya, atuuka tahiyyaatu esooka w'eggwerako. ku kigamba ekigamba nti:«Ash-hadu Alla ilaaha illa llahu wa ash-hadu anna muhammadan abduhu wa rasuuluhu».
24- Oluvannyuma addamu n'ayimirira nga agamba nti:«ALLAHU AKBAR» era asitula emikono gye okwenkanankana ebibegabega.
25- Oluvannyuma n'asaala ekiba kisigaddeyo ku swala ye, nga bwe yasadde ey'okuburi. okujjako nti mu zino akoma ku kusoma Al-faatiha .
26- Oluvannyuma n'atuula , ng'asimbye ekigere kyo ekya ddyo, ate ekya kkono kyo n'akiyisa wansi wentumbwe eya ddyo, obutuuliro bwe n'abuteeka ku ttaka, emikono gye n'agiteeka ku bisambi bye nga bw'akikoze mu tahiyyaatu esooka.
27- N'asoma tahiyyaatu yonna mw'olwo olutuula.
28- Oluvannyuma atoola salaamu ku mukono gwe ogwa ddyo n'agamba nti:«Assalaamu alaikum warahmatullah», n'akola kyekimu ne ku kkono.
Ekibuuzo 27: Bigambo ki eby'okujjukira Allah(Adhkaari) ebyogerwa oluvanyuma lwa salaamu mu swala?
Okwanukula; «Astaghfirullaha» emirundi esatu.
«Allahumma anta salaamu wa minka salaamu, tabarakta ya dhal-jalaali wal-ikraam».
La ilaaha illa llaahu wahdahu la shariika lahu, lahul-mulku wa lahul-hamdu, wa huwa ala kulli shai-in qadiir.
Allahumma la maani-a limaa a-atwaita wa laa mu'twiya limaa mana-ata wala yanfa-uu dhal-jaddi minkal-jaddu».
«La Ilaaha illa llaahu wahdahu laa shariika lahu, lahul-mulku wa lahul-hamdu, wa huwa alaa kulli shai-in qadiir.
laa hawla wa laa quwwata illa billahi, la Ilaaha illa llahu walaa na-abudu illa iyyaahu lahu nni-ima wa lahul-fadhlu wa lahu thanaa-ul-hasan, laa Ilaaha illa llahu mukhliswiina lahu ddiina wa law karihal-kaafiruuna».
«Subhanallah» emirundi asatu mw'esatu.
«Alhamdulillah» emirundi asatu mw'esatu
«Allahu akbar» emirundi asatu mw'esatu.
Oluvannyuma n'agamba okujjuuliriza ogw'ekikumi nti: «Laa Ilaaha illa llaahu wahdahu laa shariika lahu, lahul-mulku wa lahul-hamdu, wa huwa alaa kulli shai-in qadiir».
-N'asoma Suurat Al-Ikhlaas( Qul huwa llahu ahad), ne falaq ne Naas.
emirundi esatu esatu oluvannyuma lwa swalatul fajri ne maghrib.
Omulundi gumu gumu oluvannyuma lw'esswala ezisigadde.
-N'asoma Ayatul-kursi omulundi gumu.
Ekibuuzo 28: Ze ziriwa esswala eza sunna ezigoberera ez'etteeka? era zirina bulungi ki?
Okwanukula:Laaka bbiri oluberyeberye lw'esswala ya subuhi.
-Laaka nnya oluberyeberye lw'esswala ya zuhuri.
-Laaka bbiri oluvannyuma lw'esswala ya Zuhuri.
-Laaka bbiri oluvannyuma lw'esswala ya maghrib.
-Laaka bbiri oluvannyuma lw'esswala ya ishaa.
Obulungi bwa zo: Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye : «Oyo yenna asaala mu lunaku n'ekiro eraaka kkumi na bbiri nga za kyeyagalire, Allah amuzimbira enju mu jjana» Yayogerwa Muslim ne Ahmad n'abalala.
Ekibuuzo 29: Lunaku ki olusinga enkizo mu nnaku za sabbiiti?
Okwanukula: Olunaku lw'ejjuma(olwokutaano), Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: «Mazima ddala olunaku olusinga enkizo mu nnaku zamwe(ennaku za wiiki) lwe lunaku lw'ejjuma, mu lwo Allah mweyatondera Adam, era lweyamutta, era lwelujja okubaako okufuuwa engombe era lwelujja okubaako okufa kw'abantu oluvannyuma lw'okufuuwa mu ngombe, muyitirize nnyo okunsaalirako mu lunaku olwo, kubanga okunsaalira kwamwe kundagibwa». nebagamba nti owaaye gwe omubaka wa Allah, esswaala zaffe zikulagibwa zitya ate nga wafa nogwaawo?, nabagamba: «Mazima ddala Allah yaziyiza ettaka okuba nga limalawo emibiri gya ba nabbi » Yayogerwa Abu daud n'abalala.
Ekibuuzo 30: Esswala ye juma eramulwa etya?
Okwanukula: Ya tteekwa ku buli musiraamu, omusajja,nga mukulu, nga ategera, nga mutuuze wa mukitundu.
Yagamba Allah: {Abange mmwe abakkiriza! Bwe mubeeranga (muwulidde) okukoowoola (okwaziina) okugenda eri Okusaala ku Lunaku Lw'okutaano (Olunaku lw’Ejjuma), kale musitukirengamu (okugenda) eri okwogera ku Allah, muyimirizenga okutunda, Ekyo kye kirungi gye muli bwe mubeera nga mumanyi} [Suurat Al-Jumu-ah : 9].
Ekibuuzo 31: Ejjuma erina eraaka mmeka?
Okwanukula: Esswala y'ejjuma erina eraaka(enkutama) bbiri, Imaam azisomeramu mu lwaatu, era zikulemberwa kutuba bbiri ezimanyikiddwa.
Ekibuuzo 32: kikkirizibwa okuleka esswala ya juma?
Okwanukula: Tekikkirizibwa kuleka swala ya juma okujjako nga waliwo ekisonyiyisa mu mumateeka g'eddini.
Kyajja okuva ku nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna aleka ejjuma ssatu mumbeera yakuziragajjalira, Allah ateeka envumbo ku mutima gwe» Yayogerwa Abu Daud n'abalala.
Ekibuuzo 33: Yogera sunna z'olunaku lw'ejjuma.
Okwanukula: 1
Okunaaba. Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye: «Okunaaba ku lunaku lw'ejjuma kikakata ku buli yenna eyeelooterera» Yayogerwa Bukhaari.
2- Okwekuba akawoowo. Olwa hadiith: «Buvunanyizibwa bwa basiraamu okunaaba ku lunaku lw'ejjuma, era n'omu mu bbo yekubenga ku kawoowo k'abantu be» Yayogerwa Ahmad ne Tirimidhi.
3. Okwambala engoye ezisinga obulungi. Olwa hadiith: «Tewali buzibu bwonna ku omu mummwe bw'aba afunye obusobozi okugulayo engoye bbiri nga zakusaaliramu juma, ezitari za koleramu mirimu gye» Yayogerwa Ibun Maajah, ne Malik mu muwattwa'u.
4- Okukeera okugenda ku muzikiti.
5. Okugenda ku muzikiti ku bigere. Olwa hadiith: «Yenna anaaba ku lunaku lw'ejjuma, n'akeera okugenda ku muzikiti era n'abeera mu khutuba okuva lw'etandise mpaka lw'eggwa, n'asemberera imaam, era n'awuliriza era n'asirika(natayoyogera) buli lutambula lwatambula afuna empeera za mwaka, okusiiba kwagwo n'okuyimirira kwagwo. Yayogerwa Tirmidhi ne Nasaa-i.
6- Okuyitiriza ennyo okusaalira ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye. Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye: «Muyitirize nnyo okunsaalira ku lunaku lw'okutano kubanga zi malayika zijulira, mazima ddala omuntu tayinza kunsaalira okujjako nga ndagibwa okunsaalira kwe mpaka lwamaliriza» Yayogerwa Ibun Maajah.
7. Okusoma Suurat Al-kahfi. Olwa hadiith: «Omuntu asoma suurat Al-kahfi ku lunaku lw'ejjuma, Allah amuteerawo ekitangaala wakati w'ejjuma ebbiri» Yayogerwa Haakim n'abalala.
8- okunoonya akaseera omwanukulirwa edduwa. Olwa hadiith nga eva ku Abu Huraira yagamba nti : Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye yayogera ku lunaku lw'ejjuma n'agamba nti: «Lulimu akaseera nga omusiramu tekayinza kumusanga nga ayimiridde asaala nga bw'asaba Allah ekintu kyonna, okujjako nga Allah akimuwa» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 34: Esswala ya jama erina enkizo ki?
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abdallah mutabani wa umar Allah Allah abasime bombiriri, nti Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Esswala ya jama esinga esswala omuntu gy'asadde nga ali omu, amadaala abiri mu musanvu » Yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 35: Okwewombeeka mu sswala kyekki?
Okwanukula: Kwe kussaayo Omutima n'okuwummuza ebiyungo mu swala.
Allah yagamba: «Mazima ddala beesiimye abo abakkiriza 1 Abo bbo mukusaala kwabwe ababa nga beewombeefu 2} [Suurat Al-mu'minuuna: 1-2].
Ekibuuzo 36: Zaka kyekki?
Okwanukula: Gwemutemwa ogwetteeka mu mmaali eyeyawulidde, eri ekibinja ekyeyawulidde, mu kiseera ekyeyawulidde.
- Era mpagi mu mpagi z'obusiraamu, era nga nayo Saadaaka ya tteeka egibwa ku mugagga n'eweebwa omwavu.
Yagamba Allah {Era mutoole ne zaka} [Suurat Al-baqara 43].
Ekibuuzo 37: Kuwaayo ki okutali kwatteeka?
Okwanukula: Kwe kwo okutali zaka, okugeza nga: okusaddaaka ekintu kyonna mu kkubo eddungi mu kaseera konna.
Yagamba Allah omugulumivu: {Muweeyo mu kkubo lya Allah} [Suurat Al-baqarat:195].
Ekibuuzo 38: Nyonnyola okusiiba kyekki?
Okwanukula: Kwekusinza Allah nga weeziyizaako byonna ebisibulula okuva emmambya lwesala mpaka enjuba lwegwa nga omaliridde. N'okusiiba kwa mirundi ebiri:
1- Okusiiba okwetteeka: Okugeza: okusiiba omwezi gwa Ramadhan, era nga nayo mpagi mu mpagi z'obusilamu.
Yagamba Allah omugulumivu: {Abange mmwe abakkiriza! Kwalaalikibwa ku mmwe okusiiba, nga bwe kwalaalikwa kw'abo abaabasooka, oba olyawo ne mutya Allah} [Suurat Al-Baqara:183].
2- Okusiiba okutali kwa tteeka: Okugeza nga: okusiiba olunaku olwa balaza n'olwokuna, n'okusiiba ennaku ssatu buli mwezi era nga n'ennaku ezisinga z'ennaku enjeru(13,14,15) mu buli mwezi ogw'obusiraamu.
Ekibuuzo 39: Bwebuliwa obulungi bw'okusiiba omwezi gwa Ramadhan?
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abu Hurairat Allah amusiime, mazima Omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Omuntu asiiba omwezi gwa Ramadhan kulw'obukkiriza n'okusuubira empeera okuva eri Allah, asonyiyibwa ebyonoono bye ebyakulembera» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 40: Bwebuliwa obulungi bw'okusiiba okwa kyeyagalire nga si Ramadhan?
Okwanukula: Abu saedi Alkhuduriyyu Allah amusiime yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasire n'emirembe bibeere ku yye: «Omuddu wa Allah yenna tayinza kusiiba lunaku mu kkubo lya Allah okujjako nga Allah amusembeza wala n'omulila emyaka nsavu» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Amakulu ga «sab'iina khariifa»: emyaka nsanvu.
Ekibuuzo 41: Biki ebyonoona okusiiba?
Okwanukula:
1- Okulya n'okunywa mubugenderevu.
2- Okusesema mu bugenderevu.
Ekibuuzo 42: Z'eziriwa sunna z'okusiiba?
Okwanukula:
1- Okwanguyiriza okusibulukuka.
2- Okulya ddaaku, n'okumukeereyesa .
3- Okwongera ku mirimu emirungi n'ebikolwa by'okusinza.
4- Omusiibi okugamba nga bamuvumye nti: nze nasiibye.
5- Okusoma edduwa nga ogenda okusibulukuka.
6- Okusibulukukira ku ntende embisi oba enkalu, bweziba tezifunise, asibulukukira ku mazzi.
Ekibuuzo 43: Hijja kyekki?
Okwanukula: Hijja: kwe kusinza Allah, nga oyolekera enju ye eyemizizo(kaaba) okukolerayo emirimu egyeyawulidde, mukiseera ekyeyawulidde.
Yagamba Allah omugulumivu: { Era Allah Akakasa ku bantu bonna okulambula ennyumba eyo, (nga kino kikakafu) ku muntu aba asobola ekkubo erituuka gy'eri. N'omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) amanye nti mazima Allah Mugagga} [Suurat Aal-Imran: 97].
Ekibuuzo 44: Z'eziriwa empagi za hijja?
Okwanukula:
1- Okuleeta eniyya ekuyingiza mumikolo.
2- Okuyimirira mu lusenyi Arafa.
3- Okwetoloola kaaba ku lunaku olw'ekkumi mu hijja nga ovudde e Mina.
4- Okutambula wakati wa swafa ne maruwa.
Ekibuuzo 45: Bwebuliwa obulungi bwa hijja?
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abu urairat Allah amusiime yagamba: nawulila Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga agamba: «Yenna akola hijja n'atakola bikolwa bya bufumbo, era n'atakola kyonoono kyonna ava mumikolo gya hijja ng'olunaku mama we lweyamuzaala » Yayogerwa Bukhaari n'abalala.
-«Ng'olunaku mama we lweyamuzaala»: amakulu nga talina kyonoono kyonna.
Ekibuuzo 46: Umra kyekki?
Okwanukula: kwekusinza Allah ng'ogenda ku nnyumba ye eyemizizo okukola emirimu egyeyawulidde mu kiseera kyonna.
Ekibuuzo 47: Empagi za Umra ze ziriwa?
Okwanukula: 1- Okuleeta eniyya ekuyingiza mu mikolo.
2- Okwetoloola kaaba.
3- Okutambula wakati wa swafa ne maruwa.
Ekibuuzo 48: Okulwana mu kkubo lya Allah kyekki?
Okwanukula: Okuteekamu amanyi mu kusaasaanya n'okutaasa obusiramu n'abasiramu, oba okulwaanyisa omulabe w'obusiramu n'abasiramu.
Allah yagamba: { Mulwane, era mulafuubane n'emmaali yammwe n'emyoyo gyammwe mu kkubo lya Katonda! Ekyo kye kirungi ekisingayo gye muli bwe muba nga mumanyi} [Suurat At-Tauba:42].
******
Ekibuuzo 16: Bwe buliwa obulungi bw'esswala?
Okwanukula: Hadiith eva ku Abu Huraira Katonda amusiime, mazima Omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere kuye yagamba nti: (Mulaba mutya singa omugga gubeera ku mulyango gw'omu mu mmwe, nga anaaba amazi agaguvamu emirundi etaano buli lunaku, abaffe asigazaako ku mubiri gwe ekko?) nebamugamba nti: tasigaza kko lyonna ku mubiri gwe, Nabbi n'abagamba: Ekyo kifananako nga esswala ettano, Allah asangulawo nazo ebyonoono) Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Daran: kitegeeza obukyaafu( ekko)
Ekitundu ky'ebyafayo bya Nabbi.32
Ekibuuzo 1: Olulyo lwa nabbi waffe okusaasira n'emirembe bibeere kuye lweluliwa?
Okwanukula: Ye Muhammad mutabani wa Abdallah mutabani wa Abdul-mutwalib mutabani wa Hashim. Hashim ava mu kika kya ba Quraish, ate aba quraish bawarabu, abawarabu bava mu baana ba Ismail mutabani wa Ibrahim emirembe jibeere ku bbo.
Ekibuuzo 2: Mama wa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye waffe y'ani?
Okwanukula: Ye Amina muwala wa wahab.
Ekibuuzo 3: Taata wa Nabbi yafa ddi?
Okwanukula: Taata we yafiira mu kibuga Madiina, nga nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye akyali mu lubuto lwa mama we.
Ekibuuzo 4: Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye yazaalibwa ddi?
Okwanukula: Ku balaza, mu Rabi Al-awwal(Omwezi gw'okusatu) mu Mwaka gw'enjovu.
Ekibuuzo 5: Nabbi yazaalibwa mu kibuga ki?
Okwanukula: Mu kibuga makka.
Ekibuuzo 6: Baani abaayonsa Nabbi era baani abaamukuza nga ojjeeko mama we?
Okwanukula: -Omuzaana wa Taata we ayitibwa Ummu Aiman.
-Omuzaana wa Taata we omuto Abu Lahab ayitibwa Thuwaiba.
-Haliima Assa-adiyya.
Ekibuuzo 7: Maama we yafa ddi?
Okwanukula: Mama we yafa nga alina emyaka Mukaaga, era awo Jajja we Abdul-Mutwalib n'atandika okumulabirira.
Ekibuuzo 8: Ani yamulabirira nga Jajja we Abdul-Mutwalib afudde?
Okwanukula: Jajja we Abdul-Mutwalib yafa nga Nabbi wa myaka munaana, era Taata we omuto Abu-Twalib n'atandika okumulabirira.
Ekibuuzo 9: Yatambula ddi ne Taata we omuto okugenda e Shaami?
Okwanukula: Yagenda ne Taata we omuto e shaami nga Nabbi alina emyaka kumi n'ebiri(12).
Ekibuuzo 10: Olugendo lwe olw'okubiri olw'eshaami lwaliwo ddi?
Okwanukula: Olugendo lwe olw'okubiri lwaliwo nga asuubula mu maali ya Khadija(Allah amusiime ), era Nabbi bweyakomawo n'awasa khadija, nga Nabbi alina emyaka abiri mw'etaano(25).
Ekibuuzo 11: Aba Quraishi baddamu ddi okuzimba kaaba?
Okwanukula: AbaQuraishi baddamu okuzimba Qaaba nga Nabbi alina emyaka asatu mu etaano(35).
Era nebamusaba alamule wakati wa bwe bwebayawukana ani alina okuteekawo ejinja eliddugavu mu kifo kya lyo , n'aliteeka ku lugoye n'alagira buli kika ku bika ebina kikwateko oludda ku lugoye.
bwebaalisitula nebalitwaala mu kifo kyalyo, Nabbi(okusasira n'emirembe bibere ku yye) yaliteeka mu kifo kyalyo weriri n'emikono gye.
Ekibuuzo 12: Yalina emyaka emeka Allah weyamutumira?, era yamutuma eri baani?
Okwanukula: Yalina emyaka ana(40), era yatumwa eri abantu bonna nga musanyusa era nga mutiisa.
Ekibuuzo 13: Obubaka bwatandika naki?
Okwanukula: Ekirooto ekyamazima, Nabbi teyalabanga kirooto okujjako nga kijja nga ekitangaala ky'okumakya.
Ekibuuzo 14: Embeera ya Nabbi yali etya oluberyeberye nga tannafuna bubaka? Era yali atya bwe bwamukkako omulundi ogwaasooka?
Okwanukula: Nabbi yalinga asinza Allah mu mpuku eyitibwa Hiraa era ekyo yali akyetegekera.
Era obubaka bwamukkako nga ali mu mpuku asinza.
Ekibuuzo 15: Kiki ekyasokera ddala okumukkako mu Quran?.
Okwanukula: Ke kigambo kya Allah: {Soma ku linnya lya Mukamawo oyo eyatonda ebitonde byonna 1 Yatonda omuntu nga amuggya mu kitole ky'omusaayi 2 Soma n'omuleziwo y'asinga obugabi 3 Y’oyo eyayigiriza n’ekkalaamu, (Ayigiriza n’alunngamya n’ekkalaamu olw’ebyo by’ewandiika 4 Yayigiriza Omuntu ebyo bye yali tamanyi 5} [Suurat Al-alaq: 1-5].
Ekibuuzo 16: Ani eyasooka okukkiriza obubaka bwe?
Okwanukula: Mu basajja yali ABUBAKAR SWIDDIIQ
Mu bakyaala yali Khadiija muwala wa Khuwailid.
Mu baana yali:
ALI BIN ABI TWALIB.
Mubaddu yali:
ZAID BIN HAARITHAT.
Mu Baddu: BILAL OMUHABASHI Allah abasiime.
Ekibuuzo 17: Okukoowoola okudda eri obusiraamu kwali kutya?
Okwanukula: Okukoowoola kwali kwa kyaama okumala emyaka esatu, oluvanyuma Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye n'alagirwa okwasanguza daawa(okukoowoola abantu mu lwaatu).
Ekibuuzo 18: Embeera ya Nabbi n'abamukkiriza yali etya nga amaze okutandika okukowoola mu lwatu?
Okwanukula: Abasinza amasannamu bamunakuwaza ekisusse yye n'abasiramu, okutuusa Nabbi lweyakkiriza Abasiramu okusenguka bagende eri kabaka we Ethiopia ayitibwa Najjashi.
Era Abaasinzanga amasanamu begatta okunakuwaza Nabbi, n'okumutta naye Allah n'amukuuma era n'amuteera Tata we omuto Abu-twalib okuba nti amukuuma obutatusibwako bulabe.
Ekibuuzo 19: Baani abaafa mu mwaka ogw'ekkumi okuva ku kutumibwa kwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye?
Okwanukula: Taata we omuto Abu-Twalib yafa.
ne mukyala we Khadija Allah amusiime naye yafa.
Ekibuuzo 20: Isra ne mi-iraaj byaliwo ddi?
Okwanukula: Byaliwo nga awezezza emyaka ataano(50), era Allah n'amulaalikako esswala ettaano.
-Isra:Lwe lugendo lwa Nabbi okuva ku muzikiti gwe makka(ku kaaba) okudda ku muzikiti oguyitibwa Aqswa oguli e palestine.
-Ate miraaj: Lwe lugendo lwa Nabbi okuva ku masjid Aqswa okugenda mu ggulu mpaka ku ggulu ery'omusanvu.
Ekibuuzo 21: Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye yakoowoolanga atya abantu ebweeru wa Makka?
Okwanukula: Yakoowoolanga abantu be Twa-ifu era nga yeyoleka gyebali mubiseera n'ebifo awakunganirwa abantu, mpaka abantu be madiina mu ba Answari bwebajja, nebakkiriza Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye era nebamwegattako nebamusuubiza okumutaasa.
Ekibuuzo 22: Nabbi yamala emyaka emeka mu makka nga akoowoola?
Okwanukula: Yamalamu emyaka kkumi n'esatu(13).
Ekibuuzo 23: Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye yasengukira wa?
Okwanukula: Yasenguka okuva e Makka n'aagenda e Madiina.
Ekibuuzo 24: E madiina yamalayo emyaka emeka?
Okwanukula: Emyaka kkumi(10).
Ekibuuzo 25: Mateeka ki agamulalikibwako nga ali e Madiina?
Okwanukula: Yalaalikibwako okutoola zaka, okusiiba, okukola hijja, okulwana mu kkubo lya Allah, Okwaziina, n'amateeka amalala mu mateeka g'obusiramu.
Ekibuuzo 26: Entalo za Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye enkulu zeziriwa?
Okwanukula: -Olutalo lwe badiri olunene: lwaliwo mu mwaka gwa kubiri ogw'amasenguka.
-Olutalo lwe Uhudi, mu mwaka ogw'okusatu ogw'amasenguka.
-Olutalo lw'ebibinja(Ahzaabu), mu mwaka ogw'okutaano ogw'amasenguka.
Olutalo lw'okuggulawo makka, mu mwaka ogw'omunaana.
Ekibuuzo 27: Aaya ki eyasembayo okukka mu quran?
Okwanukula: Ekigambo kya Allah: {Era mutye olunaku lwe mulizzibwa mu lwo eri Allah, Oluvannyuma ne kutuukirizibwa okusasulwa kwa buli mwoyo ekyo kye gwakola; era tewali wa kulyazaamaanyizibwa } [Suurat Al-baqara:281].
Ekibuuzo 28: Nabbi Okusasira n'emirembe bibere ku yye yafa ddi? era yalina emyaka emeka?
Okwanukula: Yafa mu mwezi ogw'okusatu, omwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'amasenguka, nga alina emyaka nkaaga mw'esatu(63).
Ekibuuzo 29: Yogera bakyala ba Nabbi okusaasira n'emirembe bibere ku yye.
Okwanukula: 1-Khadiija bint khuwailid Allah amusiime.
2-Sauda bint zam'at Allah amusiime.
3- Aisha bint Abi bakri Sswiddiiq Allah amusiime.
4- Hafswa bint Umar Allah amusiime.
5- Zainab bint khuzaima Allah amusiime.
6- Ummu Salama Hind bint Abi Umayya Allah amusiime.
7- Ummu habbiba Ramlat bint Abi sufian Allah amusiime.
7- Juwairiya bint Al-harith Allah amusiime.
9- Maimuuna bint Al-haarith Allah amusiime.
10- Swafiyya bint Huyayyi Allah amusiime.
11- Zainab bint Jahshi Allah amusiime.
Ekibuuzo 30: Abaana ba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye be baani?
Okwanukula: Mu balenzi, basatu:
1- Qasim, era lyerinnya Nabbi lyeyayatikirira nalyo(yayitibwanga Abul-Qasim).
2- Abdallah.
3- Ibrahiim.
*Mu bawala:
1- Fatwima.
2- Ruqayya.
3- Ummu Kulthuum.
4- Zainab.
Abaana be bonna yabazaala mu Khadija Allah amusiime, okujjako Ibrahim, yamuzala mu Mariat omuqibti era abaana bonna baafa nga Mulamu okujjako Fatwima yye yafa oluvannyuma lwe nga wayiseewo emyezi mukaaga.
Ekibuuzo 31: Leetayo ebimu ku bitendo bya Nabbi(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) eby'obutonde?
Nabbi okusaasira nemirembe bibeere ku yye yali wakitema, nga si mumpi ate nga si muwanvu, wabula nga ali awo wakati, era yali mweru nga alimu olumyufu, Yalina ekirevu nga kisakattivu, Amaso ge nga manene, Omumwa gwe nga munene, nga enviri ze nzirugavu nnyo, nga ekifuba kye kigazi, nga awunya bulungi, n'ebitendo ebirara bingi.
Ekibuuzo 32: Nabbi okuaasira n'emirembe bibeere kuye abantu b'ekibinakye yabaleka ku ki?
Okwanukula:
Yabaleka ku kubo eryeyolefu, ng'ekiro kiri ng'emisana, teri alivaako okujjako ng'abeera azikiridde.
Teyalekayo kirungi kyonna okujjako nga akiragiridde abantu b'ekibiina kye, wadde ekibi kyonna okujjako nga akibekesezza.
*********
Okulabula: Kino ekitundu kya kukwata aaya n'okutegeera amakulu gaazo.
Ekitundu kya tafsiiri (okuvvunula quran).17
Ekibuuzo 1: Soma suurat Al-faatiha era oginyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-faatiha, n'okuginnyonnyola .
🎧 ﴾Bismillahi rrahmani rrahiim 1 🎧 Alhamdulillahi rabil-aalamiin 2 🎧 Arrahmaani rrahiim 3 🎧 Malaiki yaumi ddiin 4 🎧 Iyyaaka na-abudu wa iyyaaka nasta-iin 5 🎧 Ihdina sswiraatwal-mustaqiim 6 🎧 Swiraatwa lladhiina an-amta alaihim ghairil-maghdhuubi alaihim wala dhwaalliin 7) [Suurat Al-faatiha :1-7].
Okunnyonnyola:
Yatuumibwa Suurat al-faatiha, olwokuba yeggulawo ekitabo kya Allah.
1.(Bismillahi rrahmani rrahiim) Ntandika n'erinnya lya Allah okusoma Qur’an, nga nnoonya obuyambi n’emikisa gye nga njogera erinnya lye.
(Allah) Amakulu: Asinzibwa mu butuufu bwokusinzibwe, ra erinnya lino teriyitibwa atali Allah.
(ARRAHMAAN).
amakulu: Nannyini kisa ekigazi, ekyabuna buli kintu.
(ARRAHIIM).
Amakulu: Ow'ekisa eri abakkiriza.
2. (Alhamdu lillahi rabbil-aalamiin). Amakulu:
amatendo gonna n'obujjuvu bya Allah yekka.
3. ﴾Arrahmaani rrahiim).
Amakulu: Oyo alina okusaasira okugazi okuzingiramu buli kimu, era y'alina okusaasira okutuuka ku bakkiriza bokka.
4. (Maaliki yawmi ddiin)
Nannyini buyinza
yekka ku lunaku lw'okusasula (olunaku lw'enkomerero). Lwe lunaku lw'enkomerero.
5.{ Iyyaaka na'budu wa iyyaaka nasta'iin}. Gwe wekka gwe tusinza era ggwe wekka gwetusaba okutuyamba.
6.{Ihdina sswiratwal-mustaqiim}. Tulungamye mu kkubo eggolokofu, nga nakwo kwekulungamya okudda eri obusiramu n'enkola ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye
7.{Swiratwa lladhiina an-amta Alaihim, ghairil maghdhuubi Alaihim Wala dhwaalliin 7} Ekkubo ly'abaddu ba Allah abalongoofu mu ba Nabbi, n'abaabagoberera, eritali kkubo lya ba kurisitaayo nabayudaaya.
Kirungi okugamba oluvannyuma lw'okusoma Al-faatiha nti:(Aamiin), amakulu nti ayi Allah yanukula.
Ekibuuzo 2: Soma essuula gyebayita zalzalah era oginyonnyole.
Okwanukula: Suurat Az-Zalzalah n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim
🎧 (Itha zulzilatil-ardu zilzaalahaa 1 🎧 Wa akhrajatil-ardhu athqaalahaa 2 🎧 Wa qaalal-insaanu maa lahaa 3 🎧 Yauma-ithin tuhaddithu akhbaarahaa 4 🎧 Bi-anna rabbaka auhaa lahaa 5 🎧 Yauma-ithin yasduru nnaasu ashtaatan liyurau a-amaalahum 6 🎧 Faman ya-amal mithqaala dharratin khairan yarahu 7 🎧 wa man ya-amal mithqaala dharratin sharran yarahu 8) [Surat Azzalzalah: 1-8].
Okunyonnyola:
2.{Itha zulzilatil-ardu zilzaalahaa 1}: Ensi bw'eribeera nga eyuuguumiziddwa oluyuuguumizibwa olw'amaanyi olugenda okutuukawo ku lunaku lw'enkomerero.
2.{Wa akhrajatil-ardhu inshallaha 2}: N'efulumya era n'ejjayo ebiri munda mwayo ng'abafu n'ebirala.
3.{Wa qaalal-insaanu maa lahaa 3}: Omuntu aligamba ng'awuniikiridde: kiki ekituuse ku nsi okubeera nga ekankana era eyuuga?!
4.﴾Yauma-ithin tuhaddithu akhbaarahaa 4﴿: Ku lunaku olwo Ensi ejja kwogera ebyagikolerwangako ebirungi n'ebibi.
5.﴾Bi-anna rabbaka auhaa lahaa 5﴿ Kubanga Allah agimanyisizza era n'ajiragira.
6.﴾ yauma-idhin yasduru nnaasu ashtaatan liyurau a-amaalahum6 ﴿ Ku lunako olwo olukulu ensi mw'egenda okuyuuguumizibwa abantu bajja kuva mu kifo ky'okubalibwamu nga bali mu bibiinja balabe emirimu gyabwe gyebaakolanga ku nsi.
7.﴾Faman ya-amal mithqaala dharratin khairan yarahu 7﴿: Oyo yenna eyakola omulimu kagube mutono tutya ngamulungi ajja gulaba mu maaso ge.
8.{wa man ya-amal mithqaala dharratin sharran yarahu } Yenna eyakola omulimu kagube mutono gutya nga mubi ajja ggulaba mu maaso ge
Ekibuuzo 3: Soma suurat Al-aadiyaat era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-aadiyaat n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Wal-aadiyati dhwabehan 1 🎧 Falmuuriyaati qadehan 2 🎧 Falmughiiraati subehan 3 🎧 Fa-atharna bihii naq-an 4 🎧 Fawasatna bihii jam-an 5 🎧 Innal-insaana lirabbihii lakanuud 6 🎧 Wa innahu alaa dhaalika lashahiid 7 🎧 Wa innahuu lihubbil-khairi lashadiid 8 🎧 Afala ya-alamu idhaa bu-uthira maa fil-qubuuri 9 🎧 Wahusswila ma fi ssudoori 10 🎧 Inna rabbahum bihim yama-ithin lakhabiir 11 [Suurat Al-aadiyaat: 1-11].
Okunnyonnyola:
1.{Wal-aadiyaati dhwabehan 1}: Allah yalayira embalaasi ezidduka nezituuka n'okuvaamu amaloboozi olw'emisinde.
Falmuuriyaati qadehan 2 N'alayira embalaasi ezikoleeza n'ebinuulo bya zo omuliro nga birinnye ku njazi nga kiva ku kuzirinnyako n'amaanyi.
3. Falmughiiraati subehan 3 N'alayira embalaasi ezizinda abalabe mu kiseera ky'okumakya.
4. {Fa-atharna bihii naq-an 4}: Ne zisiikuula enfuufu kulw'okudduka kwa zo.
5.{Fawasatna bihii jam-an 5}: Ne zibeera n'abazira abazeebagadde wakati w'ebibinja by'abalabe.
6.{Innal-insaana lirabbihi lakanuud 6}: Mazima omuntu mummi wa birungi omulezi we by'amwagalamu.
7. Wa innahuu Alaa dhaalika lashahiid 7 Era ye mu kumma ebirungi yewaako obujulizi, tasobola ku kiwakanya.
8. {Wa innahuu lihubbil-khairi lashadiid 8}: Era mazima ye olw'obuyitirivu bw'okwagalakwe emmaali agikodowalira.
9. {Afalaa ya-alamu idhaa bu-uthira maa fil-qubuur 9} Omuntu ono, alimbibwa obulamu obw’ensi, tamanyi nti Allah bw’anaazuukiza abafu mu ntaana n’abajja mu nsi okubabala n’okubasasula, ensonga tezijja kuba nga bwe yalowooza.
10. {Wahusswila maa fi ssuduur 10}: nebyolesebwa ebiri mu mitima mu bigendererwa, enzikiriza n’ebirala.
11.{Inna rabbahum bihim yauma-ithin lakhabiir 11}: Mazima omulezi waabwe ku lunaku olwo amanyi, talina mu nsonga z'abaddu be egenda kumwekwekako, era ajja kuzibasasula.
Ekibuuzo 4: Soma suurat Al-qaari-ah era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-qaari-ah n'okunyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 (Al-qaari-ah 1 🎧 Mal-qaari-ah 2 🎧 wa maa aderaaka mal-qaari-ah 3 🎧 yauma yakuunu nnaasi kal-faraashil-mabethuuth 4 🎧 Wa takuunul-jibaalu kal-ihnil-manfuush 5 🎧 Fa ammaa man thaqulat mawaaziinuh 6 🎧 Fahuwa fii iishati rraadhwiyah 7 🎧 Wa ammaa man khaffat mawaazinuh 8 🎧 Fa ummuhuu haawiyah 9 🎧 Wa maa aderaaka ma hiyah 10 🎧 Naarun haamiyah 11} [Suurat al-qaari-ah: 1-11].
Okunnyonnyola:
1. {Al-qaari-ah} 1: Esaawa ey'ekikonkona emitima gy'abantu olw'entiisa yaakyo ennene.
2. {Mal-qaari-ah 2}: Ekiseera ekikonkonkona emitima gy'abantu olw'entiisa yaakyo ennene kyekiruwa?!
3. {wa maa aderaaka mal-qaari-ah 3}: Kiki -owange ggwe omubaka- ekiyinza okumanyisa ekiseera ekikonkonkona emitima gy'abantu olw'entiisa yaakyo ennene?! Mazima kkyo lwe lunaku lw'enkomerero.
4. yauma yakuunu nnaasi kal-faraashil-mabethuuth 4 Olunaku emitima gy'abantu lwe girikonkonebwa bajja kubeera nga ebiwojjolo ebisaasaanye ebikunkumuse wano nawali.
5.{Wa takuunu Al-jibaalu kal-ihnil-manfuush} 5 Ate ensozi zibeere nga ebyoya byebakoonyekoonye mu kuwewuka kw'okutambula kwazo n'okujjulukuka kwazo.
6.{Fa ammaa man thaqulat mawaaziinuh 6}: Ate oyo ebikolwa bye ebirungi bwebilisinga ebikolwa bye ebibi.
7. {Fahuwa fii iishatin raadhiyah 7}: Yye w'akubeera mu bulamu obwesiimisa bw'alifuna mu Jjanah.
8. ﴾Wa ammaa man khaffat mawaazinuhu 8﴿:- Ate oyo ebikolwa bye ebibi bwebilisinga ebikolwa bye ebirungi.
9. ﴾Fa ummuhu haawiyah 9﴿: Amakage n'obuddo bwe ku lunaku lw'enkomerero muliro Jahannama.
10. {Wa maa aderaaka ma hiyah 10}: Kiki -owange ggwe omubaka- ekiyinza okumanyisa Jahannama kyekki?!
11. Naarun haamiyah 11) Gwe muliro ogwokya ennyo.
Ekibuuzo 5: Soma suurat At-takaathur oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat At-takathur n'okunyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi Al-rrahmani rrahiim.
🎧 {ALhaakumu ttakaathur 1 🎧 Hattaa zurtumul-maqaabir 2 🎧 Kallaa saufa ta-alamuuna 3 🎧 Thumma kallaa saufa ta-alamuuna 4 🎧 Kayla law ta-alamuuna ilmal-yaqiini 5 🎧 Latarawunnal-jahiim 6 🎧 Thumma latarawunnahaa ainal-yaqiini 7 🎧 Thumma latus-alunna yauma-idhin aninna-iim 8﴿ [Suurat At-takaathur: 1-8].
Okunyonnyola:
1.{Alhaakumu ttakaathur 1} Kubalabankanyizza -abange abantu- ne kubajja ku kugondera Allah okwewaana n'emmaali n'abaana.
2. {Hattaa zurtumul-maqaabir 2}: Okutuusa nga mufudde ne muyingira entaana zammwe.
3. {Kallaa saufa ta-alamuuna 3}: Nedda okwewaana n'ebyo tekubagwanidde kubalabankanya ku kugondera Allah, kyaddaaki mujja kumanya enkomerero y'okulabankana okwo.
4. {Thumma kallaa saufa ta-alamuuna 4}: Oluvannyuma kyaddaaki mujja kumanya enkomerero yaakwo.
5. {Kallaa law ta-alamuuna ilmal-yaqiin 5}: Kikakafu singa mumanyi okumanya okw'okwekkaanya nti mazima mujja kuzuukizibwa mudde eri Allah, era mazima ye ajja kubasasula emirimu gyammwe, temwalirabankanye nakwewaana na maali n'abaana.
6. {Latarawunnal-jahiim 6}: Ndayira mazima ddala mujja kulaba omuliro ku lunaku lw'enkomerero.
4. Thumma latarawunnahaa ainal-yaqiin 7 Oluvannyuma mujja kugulabira ddala olulaba olwannamaddala olutaliimu kubuusabuusa.
﴾Thumma latus-alunna yauma-idhin aninna-iim ﴿: Oluvannyuma Allah ajja kubabuuza ku lunaku olwo ku byengera bye yabagabirira ng'obulamu, obugagga, n'ebirala.
Ekibuuzo 6: Soma suurat Al-asr, era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-asr n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Wal-asr 1 🎧 Innal-insaana lafii khusr 2 🎧 Illa alladhiina aamanu wa amilu sswaalihaat, wa tawaaaswau bil-haqqi, watawaaswawu bisswabr 3) [Suurat Al-asr :1-3].
okunnyonnyola:
1. (Wal-asr 1 Yalayira Allah ekiseera.
2.{Innal-insaana lafii khusr 2}: Mazima ddala omuntu yenna gy’ava yenkana ali mu bukendeevu nakuzikirira
3. Illa alladhiina aamanuu wa amilu sswaalihaat, wa tawaaswaw bil-haqqi, watawaaswawu bisswabr 3) Okujjako abo abakkiriza Allah (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola e mirimu emirungi, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza abo be bagenda okuwona okfaafaagana.
Ekibuuzo 7: Soma suurat Al-humaza era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-humaza n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {wailu llikulli humazati llumazah 1 🎧 Alladhii jama-a maalan wa addadah 2 🎧 Yahsabu anna maalahuu akhladah 3 🎧 kallaa layumbadhanna fil-hutwamah 4 🎧 wa maa aderaaka mal-hutwamah 5 🎧 Naaru 'llaahil-muuqadah 6 🎧 Allatii tatwali-u alal-af-idah 7 🎧 innahaa alaihim mu-uswadah 8 🎧 {Fii amadi mmumaddadah 9} [Suurat Alhumazah: 1-9].
Okunnyonnyola:
1. {wailu llikulli humazati llumazah 1}: Akabenje n'ebibonerezo ebiyitirivu by'oyo omuyitirivu w'okugeya abantu n'okubakkakanya.
2. {Alladhii jama-a maalan wa addadah 2}: Oyo nga ebirowoozo bye kukunngaanya maali n'okujibala, talina ky'alowooza kirala okujjako ekyo.
3.{Yahsabu anna maalahuu akhladah 3}: Alowooza nti emmaaliye gyeyakunngaanya ejja ku muwonya okufa, asigalewo lubeerera mu bulamu obw'ensi.
4.{Kallaa layumbadhanna fil-hutwamah 4}: Nedda tekiri nga bw'akiraba oyo atategeera, mazima waakukanyugibwa mu muliro Jahannama ogwo ogukoona era negumulungula kyonna ekigusuulibwamu olw'obuyitirivu bw'akabenje kaagwo.
5. {Wa maa aderaaka mal-hutwamah 5}: Kiki ekiyinza -owange Omubaka- okukumanyisa omuliro ogukoona ne gumulungula kyonna kyonna ekigusuulibwamu?!
6. Naaru 'llahil-muuqadah 6 Mazima ddala gwo muliro gwa Allah ogwakumibwa.
7. Allatii tatwali-u alal-af-idah 7 Ogwo oguyita mu mibiri gy'abantu negutuuka ku mitima gyabwe.
8.{Innahaa alaihim mu-uswadah 8}: Mazima ggwo gw'asaanikibwa ku bagubonerezebwamu.
9. {Fii amadi mmumaddadah 9}: Guli mu midumu emiwanvu sibagufuluma mu.
Ekibuuzo 8: Soma suurat Al-fiil era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-fiil n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmanii rrahiim.
🎧 {Alam tara kaifa fa-ala Rabbuka bi aswhaabil-fiil 1 🎧 alam yaj-al kaidahum fii tadhliil 2 🎧 Wa arsala alaihim twairan abaabiil 2 🎧 Tarmiihim bihijaarati mmin sijjiil 4 🎧 faja-alahum ka- aswfin ma-akuul 5) [Suurat Al-fiil :1-5].
Okunnyonnyola:
1 {Alam tara kaifa fa-ala Rabbuka bi aswhaabil-fiil 1}: Owange Omubaka- tewategeerako engeri omulezi wo gyeyakola Abraha ne banne bannannyini njovu ekiseera webaayagalira okumenya Kaaba?!
2.{Alam yaj-al kaidahum fii tadhliil 2}: Mazima Allah yafuula entekateeka zaabwe embi ez'okujimenya nezoonooneka obusa, tebaafuna kyebaayagala oky'okuwugula abantu ku Kaaba, tebalina kyebaafuna mukyo n'akatono.
3. {Wa arsala alaihim twairan abaabiil 2}: N'abasindikira obunyonyi obwajjira mubibinja.
4. {Tarmiihim bihijaaratin min sijjiil 4}: Nga bubakanyugira amayinja ag'ebbuumba.
5. {Faja-alahum ka aswfi mma-akuul 5}: N'abafuula ng'ebikoola by'ebimera ebiriiriddwa ebisolo ne bibirinnyirira.
Ekibuuzo 9: Soma Suurat Quraish era oginyonnyole.
Okwanukula: Suurat Quraish n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahman rrahiim.
🎧 {Li-iilaafi Quraish 1 🎧 iilafihim rihlata shitaa-i wasswayiif 2 🎧 Fal-ya-abuduu Rabba hadhal-bait 3 🎧 {Alladhii atw-amahum min juu-in wa-aamanahum min khauf 4} [Quraish: 1-4].
Okunyonnyola:
1. ( Li-iilaafi Quraishi 1): Kitegeeza baakolanga mu kutambula mu biseera by’obutiti n’eby’ekyeeya.
2. {iilafihim rihlata shitaa-i wasw-swaif 2 Okusitula okutambula mubutiti okugenda e Yemeni n'okusitula okutambula mu kyeya okugenda e Shaami nga bali mirembe (batebenkevu).
3. Fal-ya-abuduu rabba hadhal-bait 3 N'olw'ekyo basinze nannyini nnyumba eno ey'emizizo yekka, oyo ayabanguyiriza olugendo olwo, baleme kumugattako kintu kyonna.
4.(Alladhii atw-amahum min juu-in wa aamanahum min khaufi 4) Oyo abaliisa mu njala, n'abawonya okutya, olw'ekyo kyeyateeka mu mitima gy'abawarabu eky'okugulumiza Kaaba n'okuwa ekitiibwa abatuuze baayo.
Ekibuuzo 10: Soma suurat Al-maa-uun era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat al-maa-uun n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 { Ara-aita lladhii yukadhibu biddiini 1 🎧 Fadhaalik'alladhii yadu-ul-yatiima 2 🎧 wala yahudhu alaa twa-aamil-miskiiini 3 🎧 Fawailu llilmuswalliina 4 🎧 Allahdhiina hum an swalaatihim saahuuna 5 🎧 Alladhiina hum yuraa-uuna 6 🎧 Wa yamna-uunal-maa-uuna 7} [Suurat Almaa-uuna :1-7].
Okunnyonnyola:
1. { Ara-aita Alladhii yukadhibu biddiini 1}: Abaffe omanyi oyo alimbisa okusasula empeera ku lunaku lw'e Nkomerero?!
2. {Fadhaalika lladhi yadu-ul-yatiima 2}: Ye y'oyo asindiikiriza ba mulekwa n'obukambe ku byeyeetaaga.
3. {wala yahudhu alaa twa-aamil-miskiini 3}: N'ateekubiriza ate n'atakubiriza balala kuliisa banaku (ba kateyamba).
4. {Fawailu llil-muswalliina 4}: Okuzikirira n'ebibonerezo bya basaaze.
5. {Allahdhiina hum an swalaatihim saahuuna 5} Abo abatafaayo ku sswala zaabwe, nga tebazifaako okutuusa ekiseera kyazo lwe kiggwako.
6. {Alladhiina hum yuraa-uuna 6}: Abo abagenderera kabandabe mu swala zaabwe n'emirimu gyabwe, nga emirimu gyabwe tebagikola ku lwa Allah.
7. {Wa yamna-uunal-maa-uuna 7}: Ne bagaana okuyamba abalala n'ekintu ekitabakosa kuyamba nakyo.
Ekibuuzo 11: Soma suurat Al-kauthar era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-kathar n'okuginyonnyola:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 (Innaa a-atwainaakal-kauthar 1 🎧 Faswalli lirabbika wan-har 2 🎧 inna shaani-aka huwal-abatar 3) [Surat al-kauthar: 1-3].
Okunnyonnyola:
1. ﴾Innaa a-atwainaakal-kauthara 1﴿ Mazima -owange omubaka- twakuwa ebirungi bingi, mubyo mulimu omugga Kauthara oguli mu Jjana.
2. ﴾Faswalli lirabbika wan-har 2﴿: Tuukiriza okwebaza Allah ku kyengera ekyo, nga osaala kululwe yekka ate osale (ebisolo kululwe) okwawukana n'ekyo abagatta ku Allah kyebakola eky'okusembera eri amasanamu gaabwe nga bayita mu kusala.
3. ﴾Inna shaani-aka huwal-abetar 3﴿ Oyo akukyawa y’oyo asaliddwako ebirungi byonna, oyo eyeerabirwa nga bw’ayogerwako, ayogerwako bubi.
Ekibuuzo 12: Soma suurat al-kaafiruuna era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-kaafiruuna n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Qul yaa ayyuhal-kaafiruuna 1 🎧 Laa a-abudu maa ta-abuduuna 2 🎧 Walaa antum aabiduuna maa a-abud 3 🎧 Walaa ana aabidu mmaa abdttum 4 🎧 Walaa antum aabiduuna maa a-abud 5 🎧 Lakum diinukum wa liya diini 6} [Suurat alkaafiruuna: 1-6].
Okunnyonnyola:
1. {Qul yaa ayyuhal-kaafiruuna 1}: Owange ggwe Omubaka- gamba: abange mwe abatakkiriza Allah.
2. {Laa a-abudu maa ta-abuduuna 2}: Sijja kusinza ate sirisinza masannamu mmwe gemusinza.
3. Walaa antum aabiduuna maa a-abudu 3 Era namwe temuli ba kusinza gwensinza, nga ye Allah yekka.
4. {Walaa ana aabidu mmaa abdttum 4}: Era nange siri wa kusinza masannamu mmwe gemusinza
5. {Walaa antum aabiduuna maa a-abudu 5}: Ate nammwe temuli baakusinza nze gwensinza, nga ye Allah yekka.
6. {Lakum diinukum wa liya diini 6}: Mulina eddiini yammwe gyemwagunjawo nage nnina eddiini eyange eyo Allah gyeyanzisaako.
Ekibuuzo 13: Soma suurat An-nasr era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat an-nasr n'okuginnyonnyola.
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Idha jaa-a nasrullaahi wal-fat-hu 1 🎧 Wa ra-aita nnaasa yadekhuluuna fii diinillahi af-waajan 2 🎧 Fasabbih bihamdi Rabbika wastaghfirhu innahuu kaana tawwaaban 3} [Suurat An-nasr: 1-3].
Okunnyonnyola:
1. {Idha jaa-a nasrullaahi wal-fat-hu 1}: Owange gwe Omubaka- bwekulijja okutaasa kwa Allah ediiniyo, n'okugiwa ekitiibwa, n'ekibuga Makka nekiggulwawo.
2. {Wa ra-aita nnaasa yadekhuluuna fii diinillaahi af-waajan 2}: N'olaba abantu nga bayingira mu Busiraamu bibinja na bibinja.
3. {Fasabbih bihamdi Rabbika wastaghfirhu innahuu kaana tawwaaban 3}: Manya nti ako kabonero akalaga okusemberera kw'okumaliriza omulimu gwewatumwa n'okusembera kw'etuuko zo osisinkane omuleziwo, kale beera ng'otendereza amatendo g'omuleziwo, olw'okumwebaza ekyengera ky'okutaasibwa n'okuwangula, era omusabe okusonyiyibwa, mazima ye musonyiyi akkiriza okwenenya kw'abaddube, n'abasonyiwa.
Ekibuuzo 14: Soma suurat Al-masad era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-masad n'okunyonnyola:
🎧 Bismillahi rrahmaani rrahiim.
🎧 {Tabbat yadaa abi lahabin wa tabba 1 🎧 Maa aghnaa an-hu maaluhu wa maa kasaba 2 🎧 Sayaswlaa naaran dhaata lahabin 3 🎧 Wa-mra-atuhuu hammalatal-hatwabi 4 🎧 Fii jiidihaa habelu mmin masadin 5} [ Al-masad: 1-5].
Okunnyonnyola:
1. {Tabbat yadaa abii lahabin wa tabba 1 Emikono gya taata wa nabbi -Allah Amusseeko okusaasira n'emirembe- omuto Abu Lahabi mutabani wa Abdul Muttwalibi gizikiridde, olw'okufaafaagana kw'emirimu gye, kubanga yalinga akosa Nabbi-Allah amusseeko okusaasira n'emirembe, ate okutaawanakwe kumusaze.
2.{ Maa aghnaa an-hu maaluhu wa maa kasaba 2}: Eby’obugagga bye n’abaana bye byamugasizza ki? Tebyamuziyiza kubonyaabonyezebwa, era tebyamuleetera kusaasira.
3. {Sayaswlaa naaran dhaata lahabin 3}: Ku lunaku lw’enkomerero, aliyingira mu muliro ogwaka, ng’abonyabonyezebwa ebbugumu lyagwo.
4. {Wa-mra-atuhuu hammalatal-hatwabi 4}: Ne mukyala we, Umm Jamiil, eyali akola obulabe ku Nabbi- okusasira n'emirembe bibere ku yye-, ng'asuula amaggwa mu kkubo, ajja kuguyingira(omuliro)
5. {Fii jiidihaa habelu mmin masadin 5}: Munsingo ye mujja tteekebwamu omuguwa omugumu gw'alitwalibwa nagwo mu muliro.
Ekibuuzo 15: Soma suurat Al-ikhlasw era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-ikhlaasw n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Qul huw'Allahu ahad 1 🎧 Allahu swamad 2 🎧 Lam yalide wa lam yuulade 3 🎧 wa lam yakun lahuu kufuwan ahade 4} [Suurat Al-ikhlaasw: 1-4].
Okunnyonnyola:
1. {Qul huw'Allahu ahad 1}: Gamba-owange ggwe Omubaka- nti: Ye Allah, tewali kisinzibwa mu butuufu okujjako Yye.
2- (Allahu swamadu 2): amakulu: ebyeetago by'ebitonde byonna biri eri yye.
3. {Lam yalide wa lam yuulade 3}: Allah talina mwana era talina muzadde.
4- (wa lam yakun lahuu lufuwan ahad 4) Era teriiyo kimwefananyiriza mu bitonde bye.
Ekibuuzo 16: Soma suurat Al-falaq era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat Al-falaq n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 (Qul a-uudhu birabbil-falaq 1 🎧 Min sharri maa khalaqa 2 🎧 wa min sharri ghaasiqin idhaa waqaba 3 🎧 wa min sharri nnaffaathaat fil-uqadi 4 🎧 Wa min sharri haasidin idhaa hasada 5) [Suurat al-falaq: 1-5].
Okunnyonnyola:
1. {Qul a-uudhu birabbil-falaq 1}: Owange ggwe Omubaka- gamba: noonya obuddukiro eri omulezi wa makya, era neewogoma gy'ali (muwanjagira).
2. {Min sharri maa khalaqa 2}: okuva mu bubi bw'ebitonde ebikosa.
3- {wa min sharri ghaasiqin idhaa waqaba 3}: Era neekingiriza ne Allah obubi obweyoleka ekiro nga ebiwuka n'ababbi
4- {wa min sharri nnaffaathaat fil-uqadi 4}: Ate era nennekingiriza naye obubi bw'abakazi abalogo abo abafujjirira ku bifundikwa obulusu lusu.
5- {Wa min sharri haasidin idhaa hasada 5}: Era nennekingiriza naye ku bubi bw’omuntu ow’ensaalwa akyawa abantu ng’abakwatirwa ensaalwa olw’ebyengera Allah by’abawadde, ng’ayagala bibaveeko n’okubatuusaako obulabe.
Ekibuuzo 17: Soma suurat An-naas era oginnyonnyole.
Okwanukula: Suurat an-naas n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 ﴾Qul a-uudhu birabbi nnaas 1 🎧 Maliki nnaasi 2 🎧 Illaahi nnaasi 3 🎧 min sharril-was-waasil-khannaasi 4 🎧 Alladhii yuwas-wisu fii swuduuri nnaasi 5 Minal-jinnati wannaasi 6) [Suurat An-naas: 1-6].
Okunnyonnyola:
1. {Qul a-uudhu birabbi nnaas 1}: Owange gwe Omubaka- gamba: neekingiriza n'omulezi wa'abantu, ate neewogoma gy'ali.
2- {Maliki nnaasi 2}: Akola mu bbo nga bwaba ayagadde, teri abalinako bufuzi okujjako yye.
3-{Illahi nnaasi 3}: Omusinzibwa waabwe ow'amazima, tebalina asinzibwa mubutuufu atali yye.
4- (min sharril-was-waasi alkhannaasi 4) ku bubi bwa sitaani alabankanya abantu.
5. {Alladhii yuwas-wisu fii swuduuri nnaasi 5}: Eteeka okulabankanya kwayo mu mitima gy'abantu.
6- {Minl-jinnati wannaasi 6) Amakulu: Alabankanya ayinza okuba omuntu oba ejinni.
**********
Ekitundu kya Hadiithi.14
Hadiithi Esooka: Ekibuuzo 1: Malayo hadiithi:« Innamal-a-amaalu binniyyaati....» era oyogereyo ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku mukulembeze w'abakkiriza Taata wa hafswa, Umaru mutabani wa khatwab Allah amusiime yagamba: Nawulira omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye ng'aagamba: «Mazima emirimu gibalibwa na kumalirira, era buli muntu afuna ekyo kyamaliridde okukola, Yenna asenguka nga asenguse kudda eri Allah n'omubaka we, aba asenguse kudda eri Allah na mubaka we, era empeera ezo azifuna, ate asenguka nga asenguse kulwa bigendererwa bya nsi era afuna ekyo kyeyasengukira, bw'aba yasenguka kulwa mukyala amuwasa, okusenguka kwe akufunamu ekyo kyeyakugendereramu. Yayogerwa Bukhari ne Muslim.
Eby'okuyiga mu hadiithi:
1- Buli mulimu gwonna guteekeddwa okubaako okumalirira. oba kusaala oba kusiiba oba kulamaga e Makka, n'emirimu egisigadde.
2- Okumalirira kutekeddwa kukolebwa ku lwa Allah.
Hadiithi eyookubiri: Ekibuuzo2:- Malayo hadith «Man ahdatha fii amrinaa haadhaa....» era oyogeru ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiith nga eva ku Mama w'abakkiriza Aisha Allah amusiime yagamba: Yagamba omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna azuula mu ddiini yaffe eno ekitali kya mu yyo, kiba kyakumuddizibwa» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Byetuyiga mu hadiithi:
1- Okuziyiza okuzuula mu ddiini.
2- Emirimu gyonna emizuule giddizibwa nnyini gyo era tegikkirizibwa.
Hadiithi eyookusatu: Ekibuuzo 3: Malayo hadith (Bainama nahnu juluusun inda rasuuli'llah..) era oyogereryo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwnukula: Hadiithi nga eva ku Umaru bin khatwabi Allah amusiime yagamba: (Lumu bwetwali tutudde ew'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, yeeyoreka gyetuli omusajja, nga engoye ze njeru nnyo, nga enviri ze nzirugavu nnyo, nga taliiko kabonero ka lugendo konna, era nga muffe tewali amumanyi, okutuusa lweyatula awali Nabbi, n'akonaganya amaviivi ge na maviivi ga Nabbi, era ebibatu bye n'abissa ku bisambi bya Nabbi oluvannyuma n'agamba:« Owange gwe Muhammad, mbuulira ku busiraamu» Nabbi n'amugamba nti: «obusiraamu: kwe kukakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bw'okusinzibwa okujjako Allah era ne Muhammad mubaka wa Allah, n'oyimirizaawo esswala, n'otoola ne zaka mu mmali yo, n'osiiba n'omwezi gwa ramadhan, n'okola ne hijja bw'oba nga osobodde» n'amugamba nti:«oyogedde mazima» netumwewunya amubuuza ate namala namukakasa, n'agamba:«mbuulira ku bukkiriza» Nabbi n'amugamba nti:« kwekukkiriza Allah, ne bamalayika be, n'ebitabo bye, n'ababaka be, n'olunaku lw'enkomerero, n'okkiriza okugera kwe, okulungi n'okubi» Namugamba nti:«oyogedde mazima», N'amugamba nti:«mbuulira ku kulongoosa» Nabbi N'amugamba nti:«kwekusinza Allah nga olinga amulaba newankubadde nga tomulaba mazima yye akulaba», Namugamba nti:«mbuulira ku bikwata ku nkomerero», Nabbi n'amuddamu nti:«gwebabuuzizza si y'asinga abuuzizza okumanya ebikwatagana ku yyo », N'amugambi nti:«Mbuulira ku bubonero bwayo», Nabbi n'amugamba nti:«Omuzaana okuzaala mukama we , n'okulaba abantu abatalina ngatto, abatambula obukunya, abalunzi b'embuzi, abaavu lunkupe nga bavuganya mu kusitula ebizimbe», oluvannyuma omusajja n'agenda, newayitawo akaseera katono, oluvannyuma nabbi nagamba:«owange gwe Umaru! omanyi ani abadde abuuza?», nengamba nti: Allah n'omubaka we bebasinga okumanya, Nabbi n'agamba nti«Oyo Jibriilu azze okubayigiriza eddiini yammwe». Yayogerwa Muslimu.
Byetuyiga mu Hadiithi:
1- Hadiithi yayogera empagi z'obusiraamu ettano, era nga ze zino:
-Okukakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bw'okusinzibwa okuggyako Allah era ne Muhammad mubaka wa Allah.
-Okuyimirizaawo esswala.
-Okutoola zaka mu mmaali.
-Okusiiba omwezi gwa Ramadhan.
-Okulamaga ku nju ya Allah eyemizizo.
2- Hadiithi yayogera empagi z'obukkiriza, era nga ziri mukaaga:
-Okukkiriza Allah.
-Ne ba malayika be.
-N'ebitabo bye
-N'ababaka be.
-N'olunaku lw'enkomerero.
-N'okugera okulungi n'okubi.
3- Hadiithi yayogera empagi y'okulongoosa, era eri empagi emu, kwekusinza Allah nga olinga amulaba, newankubadde tomulaba naye yye akulaba.
4- Obudde bw'enkomerero teri abumanyi okuggyako Allah.
Hadiithi eyookuna: Ekibuuzo 4: Malayo hadiithi «Akmalu almu-uminiina iimaanan...», era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku abu Huraira Allah amusiime yagamba: yagamba Omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omukkiriza asinga abakkiriza obujjuvu bw'obukkiriza: y'oyo abasinga empisa» Yayogerwa Tirmidhi era n'agamba nti "Hadiithi nnungi ntuufu".
Byetuyiga mu Hadiithi:
1- Okukubiriza empisa ennungi.
2- Obujjuvu bw'empisa buli mu bujjuvu bw'obukkiriza.
3- Era mazima Obukkiriza bulinnya nebukka.
Hadiithi ey'okutaano: Ekibuuzo 5: Malayo hadiithi:«Man halafa bi ghairi Allahi...» era oyogere n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Mutabani wa Umaru (Allah abasiime bombi), nti Nabbi(okusasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Yenna alayira ekitali Allah abeera akafuwadde oba aba agasse ku Allah ekintu ekirara». Yayogerwa Tirmidhi.
Byetuyiga mu Hadiithi:
1- Tekikkirizibwa kulayira okujjako nga olayira Allah yekka.
2-Okulayira ekitali Allah kigwa mu kugatta ku Allah okutono.
Hadiithi eyoomukaaga. Ekibuuzo 6: Malayo hadiithi:«La yu-uminu ahadukum hatta akuuna ahabba ilaihi...», era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Anas(Allah amusiime ) yagamba: yagamba omubaka Wa Allah(okusasira n'emirembe bibeere ku yye): «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga nze gw'asinga okwagala okusinga muzadde we, n'abaana be, n'abantu bonna» Yoyogerwa Bukhaari ne Muslim.
Mw'ebyo byetuyiga mu Hadiithi:
1- kyatteeka okwagala Nabbi(okusasira n'emirembe bibeere ku yye) okusinga abantu bonna.
2- Okwagala Nabbi okusinga abantu bonna kiri mu bujjuvu bw'obukkiriza.
Hadith eyoomusanvu: Ekibuuzo 7: Malayo hadiithi:«La yu-uminu ahadukum hattaa Yuhibba li akhiihi...»era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku anas(Allah amusiime ), yagamba omubaka wa Allah(okusasira n'emirembe bibeere ku yye): «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga ayagalizza muganda we ekyo kyeyeeyagaliza» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Mw'ebyo byetuyiga mu Hadiithi:
1- Kikakata ku mukkiriza okwagariza abakkiriza ebirungi nga byeyeeyagaliza.
2-Ekyo kiri mu bujjuvu bwa bukkiriza.
Hadiithi ey'omunaana. Ekibuuzo 8: Malayo hadiithi:«wa lladhii nafsii biyadihi..» era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abu sa-iidi (Allah amusiime ), nga naye agijja ku Mubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Ndayira oyo alina omwoyo gwange mu mikono gye, mazima yenkana kimu kyakusatu ekya quran» Yayogerwa Bukhaari.
Ebimu ku byetuyiga mu hadiithi.
1- Obulingi bwa Suurat al-ikhlaas.
2- Era suurat al-ikhlas yenkana kimu kyakusatu ekya Quran.
Hadiithi ey'omwenda: Ekibuuzo 9: Malayo hadiithi::«La haula wala quwwata illa billa...» era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadith nga eva ku Abu Muusaa amusiime, yagamba Omubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye): «Okugamba nti "Teri alina busobozi yadde amanyi okujjako Allah", kyabugagga mu bookbag by'ejjana». yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Byetuyiga mu hadith:
1- Obulungi bwekigambo ekyo, era kyabugagga mu byobugagga by'ejjana.
2- Okwesamba kw'omuddu obusobozi bwe n'amanyi ge, n'okwesigamira Allah yekka.
Hadiithi ey'ekkumi: Ekibuuzo 10: Malayo hadiithi:«alaa inna fil-jasadi mudhghata...» era oyogere n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Nu-umaan bin bashiir(Allah amusiime ) yagamba: Nawulira omubaka wa Allah (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) nga agamba: «Mazima ddala mu mubiri mulimu ekinyama, bwekirongooka n'omubiri gwonna gulongooka, ate bwekyonooneka, omubiri gwonna gwonooneka, era nga nakyo(ekinyama) gwe mutima» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Eby'okuyiga mu hadiithi.
1- Okulongooka kw'omutima kulimu okulongooka ku ngulu ne munda.
2- Okufaayo ennyo kukulongooka kw'omutima kubanga mwe muli okulongooka kw'omuntu.
Hadiithi ey'ekkumi n'emu: Ekibuuzo 11: Malayo hadiithi:«Man kaana aakhiru kalamihi-mina ddun-ya Laa Ilaaha illa Allahu....» era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku mu-aadhi bin Jabali (Allah amusiime ) yagamba: yagamba omubaka wa Allah (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye)|: «Yenna asembyayo ekigamba Laa Ilaaha illa Allah-nga ava mu nsi- ayingira ejjana» Yayogerwa Abu Dauda.
Eby'okuyiga mu hadiithi.
1- Obulungi bw'ekigambo Laa Ilaaha illa Allah, era omuddu ayingira nakyo ejjana.
2- Enkizo y'omuntu asembezzaayo Laa Ilaaha laaha illa Allah.
Hadiithi ey'ekkumi n'ebbiri: Ekibuuzo 12: Malayo hadiithi «laisal-mu-uminu bi ttwa-aani, wala al-la-aan...», oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abdallah bin mas-uud (Allah amusiime ) yagamba: Yagamba Omubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye): «Omukkiriza tabeera mutyoboozi(muvumi), yadde okubeera omuyitirivu w'okukolima, yadde okubeera omuwemu, yadde okuba nga talina nsonyi» Yayogerwa Tirmidhi.
Eby'okuyiga mu Hadiithi:
1- Okuziyiza buli kigambo kyonna ekitali kituufu oba ekibi
2- Hadiithi eraga ebitendo by'omukkiriza ku lulimi lwe.
Hadiithi ey'ekkumi n'essatu: Ekibuuzo 13: Malayo hadith:«Min husni islami l-mar-i...» era oyogereyo n'ebimu ku byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku abu huraira(Allah amusiime) yagamba: yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ebimu ku birungiya obusiramu bw'omuntu: kwe kuleka ebitamukwatako» Yayogerwa Tirmidhi n'abalala.
Mu by'okuyiga mu Hadiithi:
1- Omuntu okuleka ebitamukwatako ku nsonga ze ddiini ya munne n'eby'ensi.
2- Okuleka ebitakukwatako bimu ku bijjuza obusilamu bwomuntu.
Hadiithi ey'ekkumi n'ennya. Ekibuzo 14: Malayo hadiithi «man qara-a har-fan min kitaabi Allahi...» era oyogereyo ne byetuyiga mu yyo.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abdallah bin mas-uud(Allah amusiime) : mazima Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Yenna asoma ennukuta emu okuva mu kitabo kya Allah, afuna empeera, ate nga empeera emu erimu empeera kkumi ezigifaanana, sigamba nti: Alif laam miimu, nukuta emu, naye Alifu nukuta, ne laamu nukuta, ne miimu nukuta» Yayogerwa Tirmidhi.
Ebimu bye tuyiga mu hadiithi.
1-Obulungi bw'okusoma quran.
2- Buli nukuta gy'osoma ogifunamu empeera.
********
Ekitundu ky'empisa z'obusiraamu.27
Enneeyisa ne Allah: Ekibuuzo 1: Enneeyisa ne Allah ebeera etya?
Okwanukula. 1- Okumugulumiza Allah. Yagamba Allah omugulumivu: (Abakafiiri) tebaagulumiza Allah nga bw'ateekwa okugulumizibwa, nga n'ensi yonna eriba mu kibatu Kye ku Lunaku Lw'enkomerero, nga n'eggulu lizingiddwako n'eddyo We.Yayawukana n'agulumira okwawukana kw'ebyo bye bamugattako. [Az-zumar: 67].
2- Okumunsiza (Allah) yekka nga talina kimwegattako. Yagamba Allah: {Era tebaalagirwa kintu kirala kyonna (kukisinza) wabula basinze Allah oyo ali Omu yekka Omutonzi nga batukuza Eddiini ku Lulwe, (Obutamugatta na kintu kirala kyonna mu kumusinza)}. [ Al-bayyinah: 5].
3- Okumugondera. Yagamba Allah omugulumivu: (Abange mmwe abakkiriza mugondere Allah..) [Suurat Muhammad: 33]
4- Okulekayo okumujeemera. Yagamba Allah: {Yenna ajeeemera Allah n'omubaka we, era n'asukka ensalo za Allah ajja kumuyingiza omuliro agubeeremu lubeerera, era alina ebobonerezo ebikkakkanya} [An-Nisaa: 14].
5- Okumwebaza n'okumutendereza Allah olw'ebilungi bye n'ebyengera bye ebitabalika. Yagamba Allah omugulumivu: (era mwebaze ebyengera bya Allah bwemuba nga yye gwemusinza..) (Suurat An-nahl: 114).
6- Okugumiikiriza n'okugera kwe. Yagamba Allah: {Era mugumiikirize mazima ddala Allah ali wamu n'abaguminkiriza} [Al-anfaal: 46].
Enneeyisa n'omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye: Ekibuuzo 2: Tweyisa tutya n'ombubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye?
Okwanukula: 1- Okumugoberera n'okumwefaanaanyiriza. Yagamba Allah omugulumivu: {Mazima mwalina mmwe mu mubaka wa Allah eky'okugoberera ekirungi kw'oyo abeera nga asuubira (empeera) za Allah (n'okusisinkana) Olunaku Olw'enkomerero, n'ayitiriza okwogera ku Allah} [Al-ahzaab: 21].
2- Okumugondera.
3- Okulekayo okumugyemera. Yagamba Allah owawaggulu: (Omuntu bw'agondera Omubaka aba agondedde Allah: N'oyo akyuka, tetukutumanga ggwe kubeera mukuumi waabwe) [An-nisaa: 80].
4- Okumukakasa mw'ebyo byeyayogera. Yagamba Allah omugulumvu: (Era tayogera nga aggya ku kwagala kwe 3 Tebiri wabula bubaka obumuweerezebwa okuva ewa Allah) [An-najm: 3-4].
5- Obutazuula mu kwongera mu nkola ze. Yagamba okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna azuula mu nsonga yaffe(eddiini) eno ekitali kya mu yyo, kyo kyakumuddizibwa» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
6- Okumwagala okusinga n'omuntu bweyeyagala n'okusinga abantu bonna. Yagamba nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga nze gw'asinga okwagala okusinga muzadde we, n'abaana be, n'abantu bonna» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7- Okumugulumiza n'okumulwanirira, n'okulwanirira sunna ze. Yagamba Allah: (Mulyoke mukkirize Allah n'omubaka we era mumuwagire era mumugulumize...) [Alfat-hi: 9].
Enneeyisa n'abakadde ababiri: Ekibuuzo 3: Ebeera etya enneeyisa n'abakadde ababiri?
Okwanukula: 1- Okugondera Abakadde ababiri mu bitali kujeemera Allah.
2- Okuwereza Abakadde ababiri.
3_ Okuyambako abakadde ababiri.
4- Okumala ebyetaago by'abakadde ababiri.
5- Okusabira Abakadde ababiri.
6- Okweyisa obulungi nabo mu njogera, nga tekikkirizibwa kubekkaanya n'akagambo "ah", nga nakyo kyekisembayo obutono.
7- Okumwenyeza abakadde ababiri n'obutabasibira mitaafu.
8- Obutasitula doboozi okusukka ery'abazadde, n'okubawuliriza, n'obutabasala kirimi, n'obutabayita mannya gaabwe, wabula ogamba"Taata", "mama".
9- Okubasaba olukusa nga tonnayingira gyebali mu kisenge.
10- Okubanywegera ku mukono n'omutwe.
Yagamba Allah omugulumivu: ﴾Yasalawo Mukama wo nti: Temusinzanga omulala yenna wabula Ye yekka (gwe muba musinza), era n'akubiriza nti n'abazadde bombiriri mubayisenga bulungi. Singa mazima abanga atuusizza obukulu (n'akaddiwa) nga ali w'oli, omu ku bombiriri oba bombiriri tobagambanga (ekigambo) ekibi (eky'okubenyinyala) era tobakaabukiranga, wabula bagambenga kigambo kya kubagulumiza 23 Era obakkakkanyize bombiriri ekiwawaatiro ky'obwetoowaze mu kusaasira. (Betoowalisenga mu bikolwa byo), era ogambe (nga obasabira): Ayi Mukama wange! Basaasire bombiriri nga (nabo) bwe banderanga nga ndi muto."﴿ [Al-Israa: 23-24].
-Mu hadiithi, yajja omusajja eri nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga amusaba okugenda mu lutalo lw'eddiini, Nabbi n'amugamba: «Olina abakadde ababiri?» n'amugamba: yye Nabbi n'agamba: «b'oba osaba olyoke ogende mu lutalo» yayogerwa Tirmidhi.
Empisa z'okuyunga oluganda: Ekibuuzo 4: Nyunga ntya oluganda?
Okwanukula 1- Okulambula ab'enganda abalenzi n'abawala, ba taata abato ne ba ssenga, ba kojja ne ba Maama abato, n'abenganda abasigadde.
2-Okulongoosa gyebali mu njogera n'ebikolwa n'okubayamba.
3- Okubawulizaako, n'okubabuuza embeera zaabwe.
Allah yagamba: "Abaffe olwo musuubirwa nti bwe munaaba mwe muzze ku bukulu (mmwe mufuga) nti mujja kwonoona mu nsi mukutule n'ennganda zammwe?" [Muhammad: 22].
-Ne mu hadith: (Tajja kuyingira Jjana omuntu akutula oluganda). Yayogerwa muslim.
Empisa z'obwasseruganda ku lwa Allah: Ekibuuzo 5: Mpangaala ntya ne banganda bange ne mikwano gyange?
Okwanukula: 1- Njagala era nkwana abantu abalungi.
2- Neesamba era ndekayo okukwana abantu ababi. Mu hadiithi: «Tokwananga okujjako omukkiriza, era talyanga emmere yo okujjako omuntu atya Allah» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda.
3- Ntoolera baganda bange salaamu era nembakwatako ne mu ngalo. Mu hadiithi: «Abasiramu babiri tebayinza kusisinkana, nebakwatagana mu ngalo, okujjako nga Allah abasonyiwa nga tebannayawukana.» Yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
4- Mbalambulako nga balwadde era nembasabira okuwona.
5- Nsabira abera ayasimudde.
6- Nyanukula omulanga bw'aba ampise okumulambulako. Mu hadiithi: «Obuvunaanyizibwa bw'omusiraamu ku musiraamu munne buli butaano: okuddamu salaamu, okulambula omulwadde, okuwerekera omufu, okwanukula omulanga gwe, n'okusabira ayasimudde» yayogerwa Bukhaari ne Muslim
7- Okumubuulirira. Mu hadiithi: «Yenna awa muganda we endowoza nga akimanyi nti obulungamu(ekituufu) kiri mu nsonga ndala, abeera amukumpanyizza» yayogerwa Abu Dauda.
8- Mmutaasa bw'aba alyazamanyizibbwa, era mmuziyiza okulyazamanya. Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Taasa muganda wo mulyazamanyi oba alyazamanyizibbwa», omusajja n'agamba nti: owange ggwe Omubaka wa Allah, mmutaasa bw'aba nga alyazamaanyizibbwa, olaba otya ate bw'aba nga y'alyazamanyizza, mmutaasa ntya? Nabbi n'amugamba nti: «Omugaana obulyazamanya; mazima okwo kuba kumutaasa» yayogerwa Bukhaari.
9- Njagaliza muganda wange omusiramu ekyo kyenneyagaliza. Mu hadiithi eva ku Abu Huraira nga agijja ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Tayinza kuba mukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga ayagalizza muganda we ekyo kyeyeeyagaliza» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
10- Mmuyambako bw'aba yeetaaze obuyambi bwange. Mu hadiithi: «Allah mu ayamba Omuddu ebbanga lyamala nga ayamba muganda we» yayogerwa Muslim.
11- Simunakuwaza na kigambo oba ekikolwa. Mu hadiithi: (Omusiramu y'oyo abasiramu gwebawona olulimi lwe n'omukono gwe) yayogerwa Bukhar ne Muslim.
12- Nkuuma ekyama kye. Mu hadith: (Omusajja bwanyumiza munne emboozi, oluvanyuma n'akyuuka nga tayagala mboozi ewulirwe balala, emboozi eyo eba efuuse kitereso) Yayogerwa Tirmidhi ne Abu dauda.
13- Simuvuma, era simugeya, era simunyomoola, era simukwatibwa nsaalwa, era simukettereza, era simulimba.
Mu hadiithi: «Omusiraamu muganda wa musiraamu munne, tamulyazaamaanya, era tamulekulira, era tamunyooma, kimala omuntu okuba nga kyakoze kibi okunyooma muganda we omusiraamu» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Empisa z'omulirwano: Ekibuuzo 6: Empisa z'omulirwano ze ziriwa?
Okwanukula:
1- Nnongoosa eri mulirwana mu bigambo n'ebikolwa, era nemmuyambako bw'aba yeetaaze obuyambi bwange.
2- Mmuyozaayoza ku yidi oba mu kuwasa oba ekintu ekirara kyonna eky'essanyu.
3- Mmulambula bw'alwaala, era mmukubagiza bw'aba afunye obuzibu.
4- Mmuweereza ku mmere gyemba nfumbye ekiba kisobose.
5- Simukosa nabigambo yadde ebikolwa.
6- Simusumbuwa nga nsitula eddobozi, oba okumuketta, era mmuguminkiriza.
Allah yagamba: «Musinze Allah, era temumugattanga n'ekintu ekirala kyonna; n'eri abazadde bombiriri mulongoose gyebali, ne ku b'oluganda, ne bamulekwa, n'abanaku, n'ab'emirirwano ab'ebbali (be muliraanye amayumba), ne munno ow'ebbali n'omutambuze oyo akutuse ku bantu b'ewaabwe, n'oyo gwe gyafuna emikono gyammwe egya ddyo (abaddu). Mazima Katonda tayagala oyo mwewulize, omwerazi» [Suurat An-Nisaa: 36].
-Era Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Owange ggwe Abu dharri, bw'oba ofumbye enva yitirizaamu amazzi oweeko ne balirwana» yayogerwa Muslimu.
-Mu hadiithi nga eva ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Oyo yenna akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero, tanyiizanga mulirwana we» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Empisa z'obugenyi: Ekibuuzo 7: Ze ziriwa empisa z'obugenyi n'omugenyi?
Okwanukula. 1- Nyanukula oyo aba ampise ku bugenyi bwe.
2- Bwemba njagadde okulambula omuntu yenna, mmusaba olukusa n'obudde.
3- Nsaba olukusa nga sinnayingira.
4- Sikeerewa mu kukyala.
5- Nzikakkanya amaaso ku bantu b'ewaka.
6- Nyaniriza omugenyi n'ekyenyi ekisanyufu, n'ebigambo ebyaniriza ebirungi.
7- Omugenyi mmutuuza mu kifo ekisinga obulungi.
8- Mmuwa obugenyi obulungi nga emmere n'ebyokunywa.
Allah yagamba: «Abange mmwe abakkiriza! Temuyingiranga mu nnyumba ezitali zammwe okutuusa lwe mumalanga okusaba okubakkiriza - Ne mulamusa eri bannannyinizo (bwe bakkiriza olwo ne mulyoka muyingira). Ekyo kye kirungi ku mmwe, kyaddaaki ne mujjukira» [Surat An-nuur: 27].
Mu hadiithi: «Mazima Allah yateekawo okusaba olukusa lwa nsonga ya maaso -obutatunula kw'ebyo byegatalina kutunulako-» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-N'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omuntu akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero, agulumize omugenyi we» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Empisa z'obulwadde. Ekibuuzo 8: Ze ziriwa empisa z'obalwadde n'okulambula abalwadde?
Okwanukula:
1- Bwempulira obulumi, nteeka omukono gwange ogwa ddyo ewannuma, nengamba nti:«Bismillah» emirundi esatu, era nengamba nti:«A-uudhu bi-izzatillahi wa Qudratihi min sharri maa ajidu wa uhaadhiru» emirundi musanvu.
Amakulu nti: Nekingiriza n'ekitibwa kya Allah n'obusobozi bwe ku bubi bw'ekyo ekinnuma, ne kyentya.
2- Nsiima ekyo Allah ky'aba ageze era nengumiikiriza. Mu hadiithi nga eva ku Ummul-alaa yagamba: Yannambula omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga ndi mulwadde, n'agamba: «Sanyuka owange ggwe Ummul-alaa, kubanga obulwadde bw'omusiraamu Allah atwala nabwo ebyonoono bye nga omuliro bwegujja ebikyafu ebibeera ku zaabu ne feeza» yayogerwa Abu Dauda.
3- Nnyanguwa okulambula muganda wange omulwadde, era nemusabira, ate era siwanvuya nnyo kutuula waali.
4- Mmusomera ruquya nga takinsabye.
5- Mmulaamira obugumiikiriza n'okusaba, n'okusaala, n'okwetukuza nga bw'asobola
Edduwa y'omulwadde «As-alullaahal-adhwiima rabbal-arshil-adhwiimi an-yashifiyaka » emirundi musanvu. Amakulu: (Nsaba Allah omunene Omuyinza wa namulondo Ennene akuwonye)
Empisa z'okunoonya okumanya: Ekibuuzo 9: Ze ziriwa empisa z'okunoonya okumanya?
Okwanukula:
1- Okutukuza enniya ku lwa Allah. Mu hadiithi: «Oyo yenna anoonya okumanya nga ekigendererwa kye kweragira ku bamanyi, oba kukaayanyizaako abatamanyi, oba okusobola okukyusizaako abantu badde eri yye, Allah ajja kumuyingiza omuliro» Yayogerwa Ibun Maajah.
2- Nkolera ku kumanya kwe njize. Mu hadiithi: «Ebigere by'omuddu tebigenda kuva mu bbaliro ku lunaku lw'enkomerero okutuusa nga abuziddwa ku bintu bina-n'ayogera mu bbyo- ne ku kumanya kwe kiki kyeyakukozesa» Yayogerwa Tirmidhi ne Addaarimi.
3-Omusomesa mmussaamu ekitibwa mu kubeerawo kwe oba mu butabeerawo.
4- Ntuula mumaaso ge mumbeera ey'empisa.
5- Mmuwuliriza bulungi era simusazaamu mu kwogera kwe nga asomesa.
6- Neeyisa bulungi nga mbuuza ekibuuzo.
7- Simuyita linnya lye.
-Mu hadiithi: «Mazima Mukugulumiza Allah mulimu okuwa omukadde omusiraamu ekitibwa, nabwekityo omuntu eyakwata quran» yayogerwa Abu Dauda.
Empisa z'olukungaana : Ekibuuzo 10: Ze ziriwa empisa z'ekifo ewatulibwa?
Okwanukula:
1- Nnamusa ku bantu abali mu lukungaana.
2- Ntuula ewasemba, sisitula muntu mu kifo kye, oba okutuula wakati w'ababiri okujjako nga bampadde olukusa.
3- Ngaziya olukungaana bannange basobole okutuula nabo.
4- Sisaza mu mboozi ya bantu mu lukungaana.
5- Nsaba olukusa era nentoola salaamu nga sinnaba kuvaawo mu lukungaana.
Hadiithi nga eva ku mutabani wa Umar Allah abasiime bombi , nga ajja ku nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Nti yagaana omuntu okusitulibwa mu kifo kye newatuuzibwawo omulala, wabula mwefunzemukko ekifo kisobole okugaziwa» yayogerwa Bukhaari.
-Mu hadiithi: «Omu ku mmwe bw'aba atuuse mu lukungaana atoolenga salaamu, era bw'aba ayagadde okuvaawo atoole salaamu, Salaamu ye gyeyatodde mukusooka ssi y'esinga eyo esembayo nga agenda» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda.
6- Bwekuba nga olutuula luwedde nsaba edduwa y'okusonyiyibwa kw'olutuula era nga y'eno: «Subhanaka Allahumma wa bihamdika, Ash-hadu Allaa ilaaha illa anta astaghfiruka wa atuubu ilaika»
Amakulu: Wayawukana Ayi Allah n'amatendo go, nkakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako ggwe, nkusaba onsonyiwe, era nkwenenyeza.
Empisa z'okwebaka: Ekibuuzo 11: ze ziriwa empisa z'okwebaka?
Neebaka nga bukyaali olwa hadiithi: «Nga eva ku Abu Barzah nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yatamwanga okwebaka nga esswala ya isha tennatuuka, n'okunyumya oluvannyuma lwa yo» yayogerwa Bukhaari.
2- Neebaka ndi mutukuvu.
3- Sseebaka nga neevuunise ku lubuto lwange.
4- Nneebakira ku ludda lwange olwa ddyo, era omukono gwange ogwa ddyo nengussa wansi w'oluba lwange olwa ddyo.
5- Nkunkumula obuliri bwange.
Mu hadiithi: nga eva ku Barbara ibun Aazib-Allah amusiime- yagamba: yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibere ku yye: «Bw'obanga ogenda okwebaka, funa wudhu yo nga ey'esswala, oluvannyuma weebakire ku ludda lwo olwa ddyo» yayogerwa Bukhaari.
-Hadiithi nga eva ku Abu Hurairah Allah amusiime yagamba: Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bieere ku yye yalaba omusajja nga yeebase yeevuunise n'agamba: «Mazima ddala eno enneebaka, Allah tagyagala». yayogerwa Tirmidhi ne Ahmad.
-Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Omu mu mmwe bwabanga agenda okwebaka, akunkumule obuliri bwe nga akozesa munda we nkutu ye; kubanga mazima ddala yye tamanyi kiki kyazzeemu oluvanyuma lwe» yayogerwa Bukhaari.
6- Nsoma adhikaari z'okwebaka, gamba nga Aayatul-kursiyy, Suurat Al-ikhlaas, suurat alfalaq ne Suurat An-naas emirundi esatu esatu, oluvannyuma nengamba nti: «Bi-ismika Allahumma Amuutu wa ahyaa».
Amakulu nti: ku erinya lyo Ayi Allah kwenfiira era kwempangalira.
7- Ngolokoka okusaala swala ya fajir.
8- Era nengamba oluvannyuma lw'okugolokoka mu tulo: «Alhamdulillahi Alladhii ahyaanaa ba-ada maa amaatanaa wa ilaihi-nnushuur»
Empisa z'emmere. Ekibuuzo 12: Ze ziriwa empisa z'emmere?
Okwanukula:1
okunywa kwange n'okulya kwange mbigendereramu okufuna amaanyi ku kugondera Allah .
2. okunaaba engalo nga ssinnaba kulya.
olwa hadiithi ya mama w'abakkiriza Aisha- Allah amusiime- Omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibere ku yye yalinga: «Bweyayagalanga okulya n'okunywa, yanaabanga engalo ze oluvannyuma n'alya era n'anywa» yayogerwa Ahmad.
3. Ngamba nti: «Bismillah», era ndya n'omukono gwange ogwa ddyo, era nendya ekyo ekindi mumaaso, era silya wakati mu mmere oba okulya ekiri mumaaso g'omulala.
olwa hadiithi: «Owange ggwe Muvubuka, soma erinnya lya Allah nga ogenda okulya, era oliise n'omukono gwo ogwa ddyo, era olye n'ekyo ekikuli mu maaso go» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
4. bwemba neerabidde okusoma «Bismillah» ngamba nti Bismillahi ahahaha wa Aakhirahu.
olwa hadiithi ya mama w'abakkiriza-Allah amusiime- yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omu mu mmwe bw'abanga agenda okulya emmere, agambe nti: BISMILLAH, bweyeelabira okukyogera ku ntandikwa, agambe: BISMILLAHI AWWALAHU WA AKHIRAHU» yayogerwa Tirmidhi ne Ahmad.
nsiima n'emmere eriwo, era sivuma mmere, bwemba ngyagadde ngirya, era bwemba sigyagadde ngireka.
- olwa hadiithi ya Abu Huraira - Allah amusiime - yagamba: «Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-teyavuma ku mmere yadde, bweyagyagalanga
nga alya, naye ekitari ekyo nga agireka» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
6. Ndyaako katono, era silya nnyo.
- mu hadiithi: «Omwana Adaamu tayinza kujjuza kyombo nga bibi okusinga olubuto, omuntu kimumalira okulyayo endya ezimusobozesa okubeerawo, bwekiba nga tekisoboka kwewalika, kale olubuto alwawuzeemu emirundi esatu, kimu kyakusatu kya mmere, kimu kyakusatu kya byakunywa, kimu kyakusatu wassiza» Yayogerwa Tirmidhi ne ibun Maajah.
7. Sifuuwa mu mmere oba eky'okunywa, mbireka nebiwola.
Mu hadiithi: «Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yaziyiza okufuuwa mu by'okulya n'ebyokunywa» Yayogerwa Ahmad ne Ibun Maajah.
8. Nkungaana ne bannange wamu n'aba family oba abagenyi.
- Hadiithi y'omusajja eyagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: ffe tulya naye tetukkuta, n'agamba: «Kirabika temuliira wamu, mukungaane ku mmere yammwe, musome erinnya lya Allah nga mugenda okulya, ajja kugibateeramu omukisa» Yayogerwa Abu Dauda ne Ibun Maajah.
9- Sitandika kulya nga abakulu abansingako tebannatandika.
10. Nsoma erinnya lya Allah, nennywa nga ntudde ennwa ssatu, era sissiza mu kyombo.
- Olwa hadiithi: «Bw'abanga anywa omu ku mmwe, tassizanga mu kyombo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-N'olwa hadiithi ya Anas Allah amusiime, «Mazima Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yagaana okunywa ng'oyimiridde» yayogerwa Muslim.
-N'olwa hadiithi: «Omubaka wa Allah-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yassanga emirundi esatu nga anywa» Amakulu nti ekyokunywa yakinywangamu ennywa ssatu nga buli lunywa assiza wabweeru w'ekyombo. yayogerwa Muslim.
11. Neebaza Allah wembanga mmalirizza okulya emmere oba okunywa:
- Mu hadiithi: «Mazima Allah asiima omuddu bw'aba alidde olulya n'amutendereze , oba anywedde olunywa n'amutendereza ku lw'ekyo» yayogerwa Muslim.
Empisa z'okwambala: Ekibuuzo 13: Ze ziriwa empisa z'okwambala?
okwanukula:1
ntandika n'oludda olwa ddyo nga nnyambala olugoye, era n'entendereza Allah kw'ekyo.
- Olwa hadiithi ya Abu Huraira- Allah amusiime yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Bwemubanga mwambala, era bwemubanga mufuna wudhu mutandike n'enzida zammwe eza ddyo» yayogera Abu Dauda Ne Ahmad.
2- siwanvuya ngoye kusukka bukongovule.
- Mu hadiithi: «Kyonna ekisukka obukongovule ku nkutu kya mu muliro» yayogerwa Bukhaari. Obukongovule g'emagumba agayitamu ku bigere
3. Abalenzi tebambala ngoye za bawala, yadde abawala okwambala ez'abalenzi.
Mu hadiithi «Omubaka wa Allah-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yakolimira omusajja ayambala ekyambalo ky'ekikyala, n'omukyala ayambala ekyambalo ky'ekisajja» yayogerwa Abu Dauda Ne Ahmad.
4. Obuteefaanaanyiriza byambalo bya bakaafiiri (abajeemu) oba aboonoonefu.
Olwa hadiithi: «Yenna eyefaanaanyiriza ekibinja kya bantu abeera wa mu kyo» yayogerwa Abu Dauda.
5. Okusoma «bismillah» mukaseera k'okujjamu engoye.
Mu hadiithi: Ekiziyiza wakati w'obwerere bw'abantu n'amajinni singa omu mu mmwe aba ajjamu engoye ze kwe kugamba nti BISMILLAH» yayogerwa Attwabaraani ne Ibun Abii Shaibah.
6. Okwambala engatto ng'osooka n'ekigere kya ddyo, n'okujjamu nga osooka n'ekigere kya kkono.
Olwa hadiithi ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime: «Nabbi yayagalanga nnyo okutandisa ddyo nga ayambala engatto, n'okusaanirira enviiri, n'okwetukuza, ne munsonga ze zonna» yayogerwa Bukhaari.
Empisa z'okwebagala: Ekibuuzo 14: Ze ziriwa empisa z'okwebagala?
Okwanukula
1: Ngamba nti:«BISMILLAH ALHAMDULIHHA», {SUBHAANA ALLADHII SAKHARA LANAA HAADHAA WA MAA KUNNAA LAHU MUQRINIIN 13 WA INNAA ILAA RABBINAA LAMUNQALIBUUNA 14} [Surat Az-zumar: 13-14]
2- Bwempita ku musiraamu, mmutoolera Salaamu.
Empisa z'ekkubo: Ekibuuzo 15: Ze ziriwa empisa z'ekkubo?
Okwanukula:
1: Nenkanankana era nenneetoowaaza mu ntambula yange. Allah yagamba: «Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu» [Al-Israa: 37].
2-Ntoolera gwemba nsanze salaam.
Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye
Yabuuzibwa : busiraamu ki obusinga obulungi? n'agamba: «Oliisa emmere, n'otoolera salam gw'omanyi ne gw'otamanyi» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
3- Nzikakkanya amaaso gange, nessinyiza muntu yenna.
4. Ndagira ekirungi, nenziyiza ekibi. Mu hadiithi eva ku Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Ekkubo muliwe omugabo gwalyo, baagamba: omugabo gwe kkubo gwe guliwa?, n'agamba: okukakkanya amaaso, n'okuleka ebikosa , n'okuddamu salaamu, n'okulagira empisa ennungi, n'okuziyiza empisa embi» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
5. Nzijawo ebikosa mu kkubo.
Mu hadiithi: «N'okujja ekikosa mu kkubo ebeera saadaaka» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Empisa z'okuyingira enju n'okugifuluma: 16: Ze ziriwa empisa z'okuyingira enju n'okugifuluma?
Okwanukula: 1: Nfuluma n'okugulu okwa kkono, nengamba: «BISMILLAAHI TAWAKKALTU ALA ALLAHI LAA HAULA WA LAA QUWWATA ILLA BILLAHI, ALLAHUMMA INNI AUDHU BIKA AN ADHWILLA AW UDHWALLA AW AZILLA AW UZALLA AW ADHLIMA AW UDHLAMA AW AJHALA AW YUJHALA ALAYYA»
2- Nnyingira enju n'okugulu kwa ddyo, era nengamba: «BISMILLAAHI WALAJNAA WA BISMILLAAHI KHARAJNA WA ALA RABBINAA TAWAKKALNAA».
3. Ntandika n'okusenya n'oluvannyuma nentoorera ku b'ewaka salaamu.
Mu haditihi: «Bweyayingiranga ewaka yasookanga na kusenya» Yayogerwa Ibun Maajah.
Empisa z'okumala ekyetaago: Ekibuuzo 17: Ze ziriwa empisa z'okumala ekyetaago?
Okwanukula: 1-Nnyingira n'okugulu kwange okwa kkono.
2- Nengamba nga sinnayingira: «BISMILLAAHI
ALLAHUMMA INNII A-UUDHU BIKA MINAL-KHUBUTHI WAL-KAHBAA-ITHI»
3- Siyingiza kintu kyonna nga kiriko ebigambo ebyogera ku Allah.
-Hadiithi nga eva ku Anasi Allah amusiime yagamba: «Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- bweyali nga agenda okuyingira kabuyonjo, yajjangako empeta ye» Yayogerwa Abu Dauda ne Ibun Maajah.
4. Nekweeka nga mmala ekyeetaago.
Mu hadiithi: «N'ekintu Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye kyeyali asinga okwagala okwekwekamu nga amala ekyetaago kifo kisitufu oba ennimiro y'entende» yayogerwa Muslim.
5- Siyogerera mu kifo wamalirwa kyetaago.
6. Siyolekera kibula, yadde okukikuba amabega nga mmala ekyeetaago.
olw'ekigamba kya Nabbi- okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Temwolekeranga kibula nga mumala ekyetaago ekinene oba ekitono, wabula mwolekere obuva njuba oba obugwa njuba» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7. Nkozesa omukono gwange ogwa kkono mu kwejjako ebucaafu, era sikozesa gwa ddyo.
-Olwa hadiithi: «Nabbi yatugaana .. okutawaaza n'omukono ogwa ddyo» yayogerwa Muslim.
8. Simala kyetaago kyange mu kkubo lya bantu yadde ekisiikirize kyabwe.
-Olwa hadiithi ya Abu Huraira- Allah amusiime- mazima Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Mutye nnyo ebikolwa bibiri ebikolimizisa omuntu» Nebamugamba: Byebiriwa ebikolwa ebyo ebibiri owaffe ggwe omubaka wa Allah? n'abagamba nti:«oyo amala ekyetaago mu kkubo ly'abantu oba mu kisikirize kya bwe» yayogerwa Muslim.
9. Nnaaba emikono gyange nga mmalirizza ekyetaago. Olwa hadiithi ya Jariir-Allah amusiime-yagamba: nali ne Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, N'agenda mu kaabuyonjo n'amala ekyeetago oluvannyuma n'agamba: «owange ggwe Jariir leeta amazzi amayonjo», nemmuletera amazzi, n'atawaaza n'amazzi ago, nakuuta omukono gwe ku ttaka. Yayogerwa Nasaa-i.
10- Nfuluma n'okugulu kwange okwa ddyo era nengamba nti:«GUFRAANAKA»
Empisa z'omuzikiti: Ekibuuzo 18: Ze ziriwa empisa z'omuzikiti?
Okwanukula: 1.Nnyingiza okugulu kwange okwa ddyo, nengamba: «BISMILLAAHI, ALLAHUMMA IFTAH LII AB-WAABA RAHMATIKA»
2. Situula nga sinnasaala raaka bbiri.
- Olwa haditihi: «Bw'abanga ayingidde omu mu mmwe omuzikiti, tatuulanga okutuusa nga asadde eraaka bbiri» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
3. siyita mu maaso g'asaala, oba okulangirira ekibuze mumuzikiti, oba okutunda oba okugulira mu muzikiti. Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Singa yali amanyi omuntu ayita mu maaso g'omusaze musango ki gw'aba alina, kyandibadde kirungi okuyimirira amakumi ana okusinga okuyita mu maaso ge» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-N'ekigambo ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna awuliranga omuntu nga alanga ekintu kye ekimubuzeeko mu muzikiti, amugambenga nti Allah takikuddiza; kubanga emizikiti tegyazimbibwa lw'ekyo» yayogerwa Muslim.
-Ne mu hadiithi: «Bwemulabanga atundira oba agulira mu muzikiti, mumugambe nti: Allah takuteera amagoba mu busuubuzi bwo» Yayogerwa Tirmidhi ne Addaarimi.
4. Nfaayo nnyo kubuyonjo bw'omuzikiti.
-Mu hadiithi nga eva ku mama wa bakkiriza Aisha-Allah amusiime- yagamba: «Yalagira Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye okuzimba emizikiti mu bifo ewasulwa abantu, era n'alagira n'okugirongoosa n'okugissaamu obuwoowo» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda ne Ahmad.
5- Nfuluma mu muzikiti n'okugulu kwange okwa kkono, era nengamba: «ALLAHUMMA INNII AS-ALUKA MIN FADHULIKA».
Empisa z'okutoola Salaamu: Ekibuuzoo 19: Ze ziriwa empisa z'okutoola Salaamu?
Okwanukula:
1- Bwemba nsanze omusiraamu ntandika nakumutoolera salaamu, nga ngamba nti:«ASSALAAMU ALAIKUM WA RAHMATULLAHI WA BARAKAATUHU», Wabula sitandika na kitali salaamu, era ssiraza namukono gwange gwokka.
2- Gwentolera salaamu mmumwenyeza. Mu hadiithi: «Tonyomanga kintu kyonna nga kirungi, nebwekuba kusisinkana muganda wo n'ekyenyi nga kisanyufu» yayogerwa Muslim.
3- Era mmukwata mu ngalo n'omukono gwange ogwa ddyo.
4- Omuntu bw'aba anamusizza (antooledde ssalaamu), mmuddamu n'ekiramuso ekisinga ku kikye obulungi, oba nemuddamu n'ekifaananako n'ekyo kyannamusizza nakyo.
Olw'ekigambo kya Allah: {Bwe muba nga mulamusiddwa n'ekiramuso, mulamuse (muddengamu) n'ekisingako obulungi oba mugiddemu (Ssalaamu yo yennyini efaanana eyo). Mazima Allah Mubazi ku buli kintu.} [An-nisaa: 86].
5- Atali musiraamu simutandika nakumutoolera salaamu, ate bw'aba yye antoledde mmuddamu nti “WA ALAIKUM”.
- Olwa hadiithi: «Temutandika ba yudaya wadde abakurisitaayo ne ssalaamu» yayogerwa Muslim.
6- Omuto atoolera omukulu salaamu, eyeebagadde atoolera atambula, atambula atoolera atudde, abatono batoolera abangi. Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ayebagadde atoolera atambula salaamu, atambula n'atoolera atudde, abatono nebatoolera abangi» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7. Obutakwata mukyala atakuzira mu ngalo.
-Mu hadiithi nga eva ku mama wa bakkiriza Aisha-Allah amusiime- yagamba: «Nedda ndayira Allah, omukono gwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye tegwakwatako mukono gwa mukyala yenna » yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Empisa z'okusaba olukusa: Ekibuuzo 20: Ze ziriwa empisa z'okusaba olukusa?
Okwanukula: 1: Nga sinnayingira mu kifo nsooka kusaba lukusa.
Nsaba olukusa emirundi esatu songerako, era oluvannyuma lwa gyo nengenda.
Mu hadiithi: «Bw'asabanga omu ku mmwe olukusa emirundi esatu nebatamukkiriza addeyo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
3- Nkonkona ku luggi mpola mpola, era siyimirira wakati, wabula ku ddyo oba ku kkono w'oluggi. nengamba nti: Assalaamu alaikum. Olwa hadiithi: «Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- bweyajjanga ku mulyango gw'abantu, teyayolekeranga mulyango mumaaso ga gwo gwennyini, wabula ku ddyo oba ku kkono, era n'agamba nti: ASSALAAMU ALAIKUM, ASSALAAMU ALAIKUM» yayogerwa Abu Dauda.
4- Siyingira eri bakadde bange oba mu kisenge kyonna nga sisabye lukusa, n'okusingira ddala oluvannyuma lw'esswala ya subuhi, n'oluvannyuma lwa dhuhuri, n'oluvannyuma lwa ishaa.
Olw'ekigambo kya Allah: {Abange mmwe abakkiriza! Bateekwa babasabe okubakkiriza nga baagala okuyingira (gye muli) abo be gyafuna emikono gyammwe egya ddyo (abaddu oba abaweereza) era n'abo abatannatuusa kiseera kya bukulu mu mmwe (abaana), emirundi esatu (mu biseera bisatu): oluberyeberye lw'esswala y'okumakya (Al-Fajiri), ne mu kiseera we muggiramu engoye za mmwe mu ttuntu (nga muli mu ggandaalo) n'oluvannyuma lw'eswala y'ekiro (Isha)- by'ebiseera bya mmwe ebisatu mwe mweyambulira. temulina kibi yadde bo oluvannyuma lw'ebyo (ebiseera ebisatu), okuyingira nga tebabeeyanjulidde, beetooloola abamu ku mmwe ku bannabwe. Bwe kityo Allah bw'abannyonnyola obubonero Bwe. Ne Allah Mumanyi, Mukakasa} [An-nuur: 58].
5- Nsobola okuyingira mu bifo ebitasulwamu nga sisabye lukusa. okugeza nga: Amalwaliro, oba amaduuka.
-yagamba Allah: {Temulina kibi mmwe okuyingira (nga temusabye) mu mayumba agatasulwamu nga mulimu ebintu byammwe (Eby'emiganyulo). Ne Allah Amanyi ebyo bye mwolesa n'ebyo bye mukweka} [ An-nuur: 29]
Empisa z'okusaasira ebisolo: Ekibuuzo 21: Ze ziriwa empisa z'okusaasira ebisolo?
Okwanukula: 1
Ndiisa era nennywesa ebisolo.
Mu hadiithi: «Baagamba nti: Owaffe ggwe omubaka wa Allah, ensolo nazo tuzifunamu empeera nga tuziyisizza bulungi? n'agamba nti: buli kirina ekibumba kirimu empeera» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Era lumu Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yayita ku ngamiya nga omugongo gwayo gukonaganye n'olubuto lwayo n'agamba: «Mutye Allah mu nsolo zino» yayogerwa Abu Dauda.
okubisaasira n'obutakitikka byekitasobola.
Mu hadiithi: yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ani nannyini ngamiya eno? Engamiya eno y'ani?. Omuvubuka okuva mu ba Answar najja, n'agamba: yange owange ggwe omubaka wa Allah, Nabbi n'agamba: nti totya Allah ku kisolo kino kyeyakuwa; mazima ddala yemulugunyizza gyendi nti ogilumya enjala era ogikozesa emirimu mingi n'ogikooya» yayogera Abu Dauda Ne Ahmad. Ogikooya.
Sibonereza kisolo nakibonerezo kyonna yadde okukikosa.
mu Hadiith nga eva ku Jaabir-Allah amusiime, mazima Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yamuyitako lumu n'endogoyi nga baagiteekamu enjokyo mu kyenyi kyayo, n'agamba: «Tekyabatuukako nti nakolimira omuntu ateeka enjokyo mu kyenyi ky'ensolo oba agikuba mu kyenyi?» ekyo Nabbi n'akiziyiza. yayogerwa Muslim ne Abu Dauda.
Empisa z'eby'emizannyo: Ekibuuzo 22: Ze ziriwa empisa z'eby'emizannyo?
Okwanukula: 1- Mu byemizannyo ngendereramu kufuna amaanyi nsobole okugondera Allah n'okumsiimya.
2. Tetuzannya mu kiseera ky'eswala.
yagamba Allah: {Okubonaabona kuli kw'abo abasaala* abo abalagajjalira esswala zaabwe} [Al-maa-uun: 4-5].
3- Abalenzi tebazannya nabawala.
4- Neekuumira ku kyambalo ky'eby'emizannyo ekyo ekibikka obwerere bwange.
5- Neesamba emizannyo egyaziyizibwa, nga egyo egirimu okukuba mu kyenyi, n'okubikkula obwerere.
Mu hadiithi: «Omu ku mmwe bw'abanga alwanaganye ne munne, yeesambenga okukuba mu kyenyi» yayogerwa Muslim.
Empisa z'okusaaga: Ekibuuzo 23: Ze ziriwa empisa z'okusaaga?
Okwanukula: 1.Okwogera amazima mu kusaaga, n'obutalimba.
Mu hadiithi: «Okubonaabona kuli kw'oyo anyumya n'alimba asobole okusesa abantu, okubonaabona kuli ku yye, okubonabona kuli ku yye» yayogerwa Abu dauda, Ne Ahmad, ne Tirmidhi.
2. Okusaaga okutaliimu kujerega yadde okujeeja yadde okunakuwaza.
-Yagamba Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tekikkirizibwa ku musiraamu yenna kutiisatiisa musiraamu munne» yayogera Abu dauda Ne Ahmad.
3- Obutayitiriza nnyo kusaaga.
-Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Era toyitiriza nnyo kuseka; mazima ddala okuyitiriza okuseka kutta omutima» Yayogerwa Tirmidhi ne Ibun Maajah.
Empisa z'okwasimula: Ekibuuzo 24: Ze ziriwa empisa z'okwasimula?
Okwanukula: 1- Okuteeka omukono, oba akatambaala ku nnyindo nga ogenda okwasimula.
2-Okutendereza Allah oluvannyuma lw'okwasimula.
«ALHAMDU LILLAH»
3- Muganda we oba munne amuwulidde amugamba nti : «YARHAMUKA ALLAHU» amakulu: Allah akusaasire.
-Bw'aba akimugambye amuddemu nti:
«YAHDIIKUM ALLAHU WA YUSLIH BAALAKUM » amakulu: Allah abalungamye era abatereereze embeera ya mmwe.
Empisa z'okwayuuya: Ekibuuzo 25: Ze ziriwa empisa z'okwayuuya?
okwanukula: 1
okugezaako okuziyiza okwayuuya.
Mu hadiithi: «Okwayuuya kuva eri sitaani, bw'abanga agenda okwayuuya omu ku mmwe akiziyize nga bw'asobola» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
2. Obutasitula doboozi nti «aah aah»
Mu hadiithi: «Era tagambanga nti: aah aah, kubanga omu ku mmwe bwaggulawo omumwa gwe sitaani emusekerera» yayogerwa Ahmad.
3-Okuteeka omukono ku mumwa.
Mu hadiithi: «Bw'abanga agenda okwayuuya omu ku mmwe akwatenga ku mumwa, kubanga sitaani eyingira» yayogerwa Muslim.
Empisa z'okusoma Quran ey'ekitibwa: Ekibuuzo 27: Ze ziriwa empisa z'okusoma Quran?
Okwanukula: 1- Okusoma nga oli mutukuvu oluvannyuma lw'okufuna wudhu.
2- Okutuula mu mpisa n'obukakkamu.
3- Nsaba Allah ankingirize shaitwan ku ntandikwa y'okusoma.
Yagamba omugulumivu: {Bw'oba nga ogenda kusoma Kuraane, weekingirizenga ne Katonda (akukuume) ku sitaane eyagobwa (ku kusaasira Kwe} [Suurat An-nahl: 98].
4. Nfumintiriza nga nsoma.
yagamba Allah omgulumivu: {Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo} [Muhammad: 24].
*******
Empisa z'okusaba: Ekibuuzo 26: Ze ziriwa empisa z'okusaba?
Okwanukula: 1- Okutandika n'okutenda Allah n'okumusuuta.
Okusaalira Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
Mu hadiithi okuva ku nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye: «Bw'omalanga okusaala n'otuula, tendereza Allah n'amatendo ge agamusaana, bw'omala onsaalire, oluvannyuma musabe» Yayogerwa Tirmidhi.
3- Okuwanika emikono mu kusaba.
-Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Mazima ddala omulezi wammwe omugulumivu wa nsonyi ate mugabi, akwatibwa omuddu we ensonyi bw'aba awanise emikono gye gy'ali okugizzaayo nga temuli kirimu» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda.
4. okwenenya n'okukkiriza ekyonoono.
Mu duwa ya Muusa emirembe gibeere ku yye: {Yagamba nti: Mukama wange! Mazima nze ndyazaamaanyizza omwoyo gwange, (wabula) nsonyiwa! Ne (Allah), n'amusonyiwa. Mazima Ye ye Musonyiyi, Omusaasizi} [Al-qasas: 16].
5- Okulemerako mu kusaba. amakulu nti okuyitiriza okusaba n'okukuddingana.
6- Obutapapiriza kwagala kwanukulwa.
7. Tosaba kyonoono yadde okukutula oluganda.
Mu hadiithi: «Omuddu aja kusigala nga ayanukulwa ebbanga ly'amala nga tasabye kyonoono oba okukutula oluganda, n'ebbanga ly'amala nga tapapye. Nebagamba nti owaffe ggwe omubaka wa Allah, okupapa kye kki? n'agamba nti: agamba nti: nsabye n'ensaba, naye siraba bwanyanukula n'akoowa, n'alekayo n'okusaba» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
8- Okukkakkanya eddobozi mu kusaba.
yagamba Allah: {Musabe omulezi wammwe mu bukkakkamu ne mu kyama} [Al-a-araaf: 55].
9. Okuteekayo obirowoozo(omutima) mu kaseera k'okusaba.
Mu hadiithi: «Musabe Allah nga mukakasa nti ajja kubaanukula, era mukimanye nti Allah tayanukula duwa ya muntu nga omutima gwe mugayaavu tegwefiirayo» Yayogerwa Tirmidhi.
10- Okwewayo eri Allah n'okusaba Allah yyekka mu buzibu ne mu ssanyu.
- Yagamba Allah: {Era mazima emizikiti gyonna gya Allah Kale temusinzanga awamu ne Allah ekintu ekirala kyonna nga mukimugattako} [Al-jinni: 18].
okusembera eri Allah nga okozesa amannya ge amalungi n'ebitendo bye.
- Allah yagamba: {Ne Allah alina amannya amalungi, kale mugamusabise } [Al-a-araaf: 180].
12- okwolekera ekibula. mu hadiithi: «Yasigala nga asaba omulezi we, nga awanise emikono gye, nga ayolekedde ekibula, okutuusa essuuka ye lweyagwa okuva ku bibegaabega bye» yayogerwa Muslim.
13. okulya n'okwambala obirungi (ebikkirizibwa). Mu hadiithi: «Oluvannyuma n'ayogera ku musajja, eyatambula olugendo nga luwanvu, nga yenna agubasidde awanyise emikono gye waggulu: agamba ayi omulezi wange, ayi omulezi wange, naye nga eby'okulya bye bya haraam, n'eby'okunywa bye bya haraam, n'ebyambalo bye bya haraam, nga yakuzibwa ku haraam, oyo ayinza atya okwanukulwa» yayogerwa Muslim.
Ekitundu ky'eby'enneeyisa.30
Ekibuuzo 1: Bulingi ki obw'empisa ennungi?
Okwanukula: Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omukkiriza asinga abakkiriza obujjuvu bw'obukkiriza, y'abasinga empisa ennungi». yayogerwa Tirmidhi ne Ahmad.
Ekibuuzo 2- Lwaki twekumira ku mpisa z'obusiraamu?
okwanukula: 1
kubanga nsonga eviraako okwagalibwa Allah omugulumivu.
Mu hadiithi: «Omuddu wa Allah asinga okwagalwa eri Allah, yagamba: abasinga empisa ennungi» Yayogerwa Al-haakim ne Twabaraani.
2- Era nsonga y'okwagalwa ebitonde.
3. Era ky'ekintu ekisinga okuzitowa ku minzaani.
- Mu hadiithi: «Ekintu ekigenda okusinga obuzito ku minzaani ku lunaku kw'ekomerero, mpisa nnungi» yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
4. Era empeera zikubisibwamu kulw'empisa ennungi.
- Mu hadiithi «Mazima ddala omukkiriza afuna olw'empisa ennungi, amadaala g'omuntu ayimirira ekiro n'asiiba emisana» yayogerwa Ahmad.
5. Era kabonero ka bujjuvu bwa bukkiriza.
Mu hadiithi: «Omukkiriza asinga abakkiriza obujjuvu bw'obukkiriza, y'oyo abasinga empisa ennungi» yayogerwa Abu Dauda ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 3: Empisa tuziggya wa?
Okwanukula: Tuziggya mu quran ey'ekitiibwa. yagamba Allah: {Mazima eno quran elungamya eri ekkubo erisinga obugolokofu} [Suurat Al-israa: 9].
-Ne mu nkola za Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: «Mazima natumwa kujjuliriza mpisa nnungi» yayogerwa Ahmad.
Ekibuuzo 4: Empisa y'okweyisa obulungi y'eriwa n'ebifananyi byayo?
Okulongoosa: kwe kubeera ku Allah lubeerera, n'okukolera ebirungi n'okulongoosa eri ebitonde.
Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye): «Mazima ddala Allah yalagira okuyisa obulungi buli kintu» yayogerwa Muslim.
Ebimu ku bifananyi by'okulongoosa:
✔ Okulongoosa mu kusinza Allah, era ekyo kibeerawo na kumwawula mu ku musinza.
✔Okulongoosa eri abakadde ababiri, mu njogera n'ebikolwa.
✔ Okulongoosa eri ab'enganda.
✔Okulongoosa eri mulirwaana.
✔Okulongoosa eri ba mulekwa n'abeetaavu.
✔Okulongoosa eri akuyisizza obubi.
✔ Okulongoosa mu kukaayana.
✔ Okulongoosa mu bigambo.
✔ Okulongoosa eri ebisolo.
Ekibuuzo 5: Ekyenyume ky'okulongoosa kye kki?
Okwanukula: Ekyennyume ky'okulongoosa kwe kwonoona.
- nga namwo mulimu: Okulekayo okwawula Katonda mu kumusinza .
- Okuyisa obubi abakadde ababiri.
- Okukutulawo oluganda.
- Omulirwano omubi.
-Okulekayo okulongoosa eri abaavu, n'abeetaavu.
n'ebirara ebibi mu bigambo n'ebikolwa.
Ekibuuzo 6: Emiteeko gy'obwesigwa gy'egiriwa, n'ebifananyi byagyo?
1- Obwesigwa mu kukuuma obuvunanyizibwa bwa Allah.
Ekifaananyi ky'ekyo: Obwesigwa mu kutuukiriza ebikolwa by'okusinza Allah, omuli esswala, zakat, okusiiba okukola hijja, n'ebirara mw'ebyo Allah byeyatulaalikako.
2- Obwesigwa mu kukuuma obuvunanyizibwa bw'ebitonde:
-Omuli okukuuma ebitiibwa by'abantu.
- N'emmaali yaabwe.
- N'emisaayi gyabwe.
- N'ebyama byabwe na byonna abantu byebaba bakwesigisizza nabyo.
Allah yagamba nga ayogera ku bitendo by'abeesiimye: (Era be bo abakuuma obwesigwa bwabwe n'endagaano zaabwe) [Suurat Al-mu-uminuuna: 8]
Ekibuuzo 7: Ekyennyume ky'obwesigwa kyekki?
Okwanukula: Obukumpanya, okusulirira obuvunanyizimbwa bwa Allah, n'obuvunanyizibwa bw'abantu.
-yagamba Allah: (Abange mmwe abakkiriza! Temukumpanyanga Allah n'Omubaka We, wadde n'okukumpanya obwesigwa bwammwe nga nammwe mumanyi) [Al-anfaal: 27].
-yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Obubonero bw'omunnanfuusi buli busatu», n'ayogera mu bwo- «bw'aba atereseddwa akumpanya». yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 8: Empisa y'amazima y'eriwa?
Okwanukula: Kwe kwogera ekintu ekikwatagana n'ekiriwo, oba okwogera ekintu nga bwekiri.
Ebimu ku bifaananyi byago:
-Okwogera amazima nga onyumya n'abantu.
-Amazima mu ndagaano.
-Amazima mu buli kigambo na mu buli mulimu.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Mazima ddala amazima galungamya eri obulungi, ate mazima ddala obulungi butwaala mu jjana, era mazima omusajja asobola okwogera amazima natuuka nafuuka omwogezi wa mazima» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 9: Ekyennyume ky'amazima kyekki?
Okwanukula: Obulimba, era kwe kwawukana n'ekituufu.
mukyo mulimu: okulimba abantu, okwawukana ku ndagaano, n'okujulira eby'obulimba.
yagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Era mazima ddala obulimba, bulungamya eri obwonoonefu, ate obwonoonefu butwala mu muliro, mazima omusajja asobola okulimba mpaka lwawandikibwa mu maso ga Allah nti mulimba nnyo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Obubonero bw'omunnanfusi buli busatu»-n'ayogera mu bwo- «bw'anyumya alimba, ate bw'alaganyisa ayawukana ku ndagaano» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 10: Emiteeko gy'obuguminkiriza gyegyiriwa?
Okwanukula: -Okuguminkiriza mu kugondera Allah.
- Okuguminkiriza n'otajeemera Allah.
- Okuguminkiriza ebigezo bya Allah ebiruma, n'okutendereza Allah ku buli mbeera.
yagamba Allah: {Ne Allah ayagala nnyo abaguminkiriza} [Suurat aal-Imraan: 146].
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Embeera z'omukkiriza zeewunyisa, mazima embeera ze zonna nnungi, ate ekyo tekiri okujjako kumukkiriza yekka, bw'afuna ekimusanyusa yeebaza, ekyo nekiba kirungi gyali, ate era bwafuna ekimunyiza aguminkiriza, nekiba kirungi gyali». yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 11: Ekyennyume ky'obuguminkiriza kyekki?
Okwanukula: Bwebutaguminkiriza ku kugondera Allah, n'obutaguminkiriza kubutakola byonono, n'okunyigira okugera kwa Allah n'ebigambo oba ebikolwa.
Ebimu ku bifananyi by'obutaguminkiriza:
-Okwegomba okufa.
yagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Teyegombanga omu mu mmwe okufa olw'obuzibu obumutuuseeko, bwekiba nga talina ngeri gyakyewala agambe: Ayi Allah mpangaaza bwebuba nga obulamu bwebulungi gyendi, era onzite bwekuba nga okufa kwekulungi gyendi.) yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Okwekuba empi kumatama.
-Okuyuza engoye.
-Okusumulula enviiri.
-Okwesabira okizikirira.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye: «Ssi wa muffe oyo ayeekuba empi mu kyenyi, n'ayuza n'engoye, nayogera n'ebigambo ebyayogerwanga nga obusiramu tebunnajja» yayogerwa Bukhaari.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Mazima obunene bw'empeera buli wamu n'obunene bw'ekigezo, era mazima Allah bwayagala abantu abagezesa, yenna asiima ebigezo bya Allah, naye Allah amusiima, ate yenna anyiigira ebigezo bya Allah, ne Allah amunyigira». yayogerwa Tirmidhi ne Ibun Maajah.
Ekibuuzo 12: Empisa y'okuyambagana y'eriwa?
Okwanukula: Be bantu okuyambagana wakati wabwe ku mazima n'obulungi.
Ebifaananyi by'okuyambagana:
-Okuyambagana mu kuzzaayo obuvunanyizibwa bw'abantu.
-Okuyambagana mu kugoba omulyazamanya.
-Okuyambagana mu kumala ebyetaago by'abantu n'abeetaavu.
-Okuyambagana ku buli kirungi.
-Obutayambagana mu kwonoona, n'ebibi n'obulumbaganyi.
yagamba Allah: (Muyambagane mu kukola obulungi n'okutya Allah, wabula temuyambagana ku kwonoona n'obulabe, mutye Allah, mazima Allah muyitirivu wa kubonereza) [Al-Maa-ida:2].
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omukkiriza n'omukkiriza balinga muzimbo, buli gumu gunyweza omulala» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Omusiraamu muganda wa musiraamu munne, tamulyazaamaanya, era tamuleka kulyazamanya, yenna ayamba muganda we mu bwetaavu, naye Allah amuyamba, yenna ajja omusiraamu mu buzibu, naye Allah amuggirawo obuzibu mu bizibu by'olunaku lw'enkomerero, Yenna abikkirira omusiraamu, naye Allah amubikkirira ku lunaku lw'enkomerero» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 13: Gye giriwa emiteeko gy'ensonyi?
Okwanukula: 1.Okukwatira Allah ensonyi: ekyo kibeera mu butajeemera Allah.
2: Okwatibwa abantu ensonyi: nga okulekayo okwogera ebigambo eby'obuwemu, n'okulaga obwerere.
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Obukkiriza bulimu amadaala wakati w'ensavu mu asatu n'ensanvu mu mwenda, oba nkaaga mu asatu n'enkaaga mu mwenda, nga n'eddaala erisinga enkizo ky'ekigambo LAA ILAAHA ILLA LLAHU, n'erisembayo wansi okujjawo ekinyiiza mu kkubo, n'ensonyi ddaala mu madaala g'obukkiriza» yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 14: By'ebiriwa ebifaananyi by'empisa y'okusaasira?.
Okwanukula: Okusaasira abakuze mu myaka, n'okubawa ekitiibwa.
-Okusaasira abaana abato. mu hadiithi: «Ssi wa muffe oyo atawa bakulu kitiibwa mu ffe, ate nga tasaasira bato muffe» yayogerwa Ahmad.
- Okusaasira omwavu, omunaku n'omwetaavu.
- Okusaasira ebisolo nga obiriisa n'okubinywesa era n'okubiyisa obulungi.
Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Olaba abakkiriza mukusaasirigana kwabwe, n'okwagalana kwabe, n'okukwatibwagana ekisa balinga omubiri, ekiyungo kimu bwekirwala n'ebisigadde nabyo birwalira wamu nakyo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Era yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Abasaasizi nabo Allah abasaasira , musaasire abali ku nsi, ajja kubasaasira oyo ali mu ggulu» Yayogerwa Abu Dauda ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 15: Gye giriwa emiteeko gy'okwagala?.
Okwanukula: -Okwagala Allah.
yagamba Allah: (N'abo abakkiriza bebasinga okwagala Allah). [Surat Al-baqara: 165].
-Okwagala omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.
yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ndayira oyo awaniridde omwoyo gwange mu mukono gwe, tayinza kukkiriza omu mu mmwe, okutuusa nga nze nsinga okwagalwa gyali, n'okusinga muzadde we, ne mutabani we» yayogerwa Bukhaari.
Okwagala abakkiriza, n'okubaagaliza ebirungi nga bweweeyagaliza.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga ayagalizza muganda we ekyo kyeyeeyagaliza» yayogerwa Bukhaari.
Ekibuuzo 16: Essanyu kye kki?
Okwanukula: Kwekusanyuka kw'ekyenyi, n'okumwenya n'okwolesa essanyu nga osisinkanye abantu.
Era kyekyenyume ky'okusiba emitaafu eri abantu, ekimu kubibasembeza ewala.
Hadiithi ezilaga obulungi bw'ekyo zajja, hadiithi nga eva ku abu Dharri Allah amusiime yagamba: yangamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tonyomanga kintu kyonna nga kirungi, nebwekuba kusisinkana na muganda wo n'ekyenyi nga kisanyufu» yayogerwa Muslim.
-Era yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Okumwenyako mu kyenyi kya mugandawo saddaaka» Yayogerwa Tirmidhi.
Ekibuuzo 17: Ensaalwa kye kki?
Okwanukula: Kwe kwegomba ekyengera okuva ku mulala, oba okutamwa omulala okufuna ekyengera.
yagamba Allah: {Era ne mu bubi bw’ow’ensaalwa bw’aba nga asaaliddwa} [Al-falaq:5].
Ne hadiithi nga eva ku Anas ibun Maalik Allah amusiime, mazima Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Temwenyigirangana, era Temukwatibwagana nsaalwa, era temukubagana mabega, wabula mubeere-abange mmwe abaddu ba Allah- ba luganda» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 18: Okujeeja kyekki?
Okwanukula: Kwe kujereegerera mugandawo omusiraamu, n'okumukkakkanya, era ekyo tekikkirizibwa.
Yagamba Allah nga agaana ekyo: Abange mmwe abakkiriza! Ekibiina (mu mmwe) tekinyoomanga ekibiina ekirala kyandiyinza okuba (kye banyoomerera) nga kye kirungi (mu maso ga Allah) okusinga bo, wadde n'abakyala tebanyoomanga bakyala bannaabwe (kubanga) bandibeera nga be balungi (eri Allah) okusinga bo; wadde temwevvoolangananga (temukyiinagananga) mwekka na mwekka (abamu okuvvoola bannaabwe), era temuyitinngananga amannya amabi (agokuvumagana n'okujeregagana). Erinnya erisinga obubi okuyita omuntu ly'elyo erityooboola (omuntu bwe) oluvannyuma lw'okuba omukkiriza: N'omuntu ateenenya, abo bo be balyazaamaanyi (abassa ebintu mu bitali bifo bya byo). [ Al-hujuraat :11].
Ekibuuzo 19: Obwetoowaze kye kki?
Okwanukula: Ye muntu obuteesukkulumya ku bantu, n'atanyooma bantu, ate era n'atagaana mazima.
yagamba Allah: {N'abaddu ba Allah abo abatambula ku nsi nga bakkakkamu} [ Al-fur-qaan: 63]. Amakulu: nga bakkakkamu
Era yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omuntu tayinza kwetowaza ku lwa Allah, okujjako nga Allah amusitula amadaala». yayogerwa Muslim.
Era Nabbi (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Mazima Allah yansindikira obubaka nti: mwetowaze, omuntu aleme kwekuluntaliza ku mulala, yadde okumulyazaamaanya» yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 20: Gye giriwa emiteeko gy'okwekuluntaza egyaziyizibwa?
Okwanukula: -Okwekuluntaliza ku mazima, era nga nakwo kugaana amazima n'obutagakkiriza.
2- Okwekuluntaliza ku bantu, nga nakwo kwekubanyooma n'okubakkakkanya.
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Tajja kuyingira Jjana, oyo yenna alibaamu nakanyinkuuli k'okwekuluntaza mu mutima gwe» Omusajja na'gamba: omuntu ayagala engoyeze okuba nga nnungi, nga n'engatto ze nnungi?, Nabbi n'agamba: «Mazima Allah mulungi, ayagala birungi, naye okwekuluntaza:kwe kugaana amazima, n'okunyooma abantu» yayogerwa Muslim.
-Batarul-haqi: Kwe kugagaana.
*Gamtu-nnaas:
kwe okubanyooma.
- Olugoye olulungi, n'engatto ennungi tebigwa mu kwekuluntaza.
Ekibuuzo 21: Gye giriwa emiteeko gy'obufere egyaziyizibwa?
Okwanukula: -Obufere mu kutunda n'okugula: kwe kukweka akamogo k'ekyamaguzi.
-Okufera mu kunoonya okumanya, okugeza nga okukoppa mu bibuuzo.
- Okufera mu bigambo nga okujulira obulimba, n'okulimba.
- Obutatuukiriza byoyogera ne by'okkanyizzaako n'abantu.
Mu kugaana obufere: lumu Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yayita ku mulengo gw'emmere, n'ayingizaamu omukono, engalo ze nezitoba, n'agamaba: «Kiki kino owange gwe nannyini mmere?» n'amugamba: enkuba yagikubye owange gwe omubaka wa Allah, Nabbi na'mugamba nti:« Wandigitadde kungulu abantu nebagiraba, yenna alimba taba wa munze(mu kibiina kyange)». yayogerwa Muslim.
Subrat: Omulengo gw'emmere.
Ekibuuzo 22: Okugeya kye kki?
Okwanukula: Okwogera kumugandawo omusiraamu byatamwa nga taliiwo.
yagamba Allah: «Era abamu tebageyanga bannaabwe. Abaffe omu mu mmwe yandyagadde okulya ennyama ya muganda we affudde? Nedda, temukyagala (ekyo; n'olw'ekyo na biri mubitamwe). Era mutye Allah Mazima Katonda Akkiriza abeenenya, Musaasizi» [ Al-hujuraat:12].
Ekibuuzo 23: Olugambo kye kki?
Okwanukula: Kwe kutambuza ebigambo mu bantu n'ekigendererwa ky'okwonoona wakati wabwe.
Yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tajja kuyingira jjana ow'olugambo» yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 24: Obugayaavu kye kki?
Okwanukula: Kwe kuzitoowererwa okukola ebirungi, n'ebyo ebikakata ku muntu okukola.
Mu kyo mulimu: Okugayaala mu kukola eby'etteekwa.
Yagamba Allah omugulumivu: «Mazima abannanfuusi bakwenyakwenya Allah, wabula naye wa Kubakwenyakwenya. Bwe baba nga bayimiridde okusaala; bayimirira nga bagayaavu lwa kweraga bantu, era tebayogera ku Allah wabula katono nnyo» [ An-nisaa: 142].
Kigwana ku mukkiriza okulekayo obugayaavu n'okweetulako, wabula asaana okwanguwa n'okulafuubana mu bulamu bw'ensi nga akola ebyo ebisanyusa Allah.
Ekibuuzo 25: Bye biriwa ebika by'okunyiiga?
Okwanukula: 1- Okunyiiga okulungi: kwe kwo okubaawo ku lwa Allah singa abakafiiri oba abannanfuusi oba abalala bagezaako okulumbagana ensalo za Allah.
2- Okunyiiga okubi: okunyiiga okuleetera omuntu okwogera n'okukola ebitasaana.
Eddagala ly'okunyiiga okubi:
- Okufuna wudhu.
- Okutuula bw'aba abadde ayimiridde, n'okwebaka bw'aba abadde atudde.
- Okwekwata ku kuwabula kwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye ku nsonga eyo: «tonyiiga».
- Okwefuga ng’onyiize.
- Okusaba Allah akukingirize sitaani enkolimire.
- Okusirika.
Ekibuuzo 26: Okuketta kwe kuliwa?
Okwanukula: Kwe kubikkula, n'okunoonyereza ku bumogo bw'abantu, n'ebyo byebabeera bakwese.
Ebimu ku bifaananyi bw'okuketta ebyaziyizibwa:
- Okunoonyereza
ku bumogo bw'abantu mu maka gaabwe.
- 0kuwuliriza emboozi y'abantu nga tebamanyi.
yagamba Allah: {Era temukettangaa...} [Suurat Al-hujuraat:12].
Ekibuuzo 27: Okudiibuuda kye kki?, obukodo kye kki?, era obugabi kye kki?
okwanukula:
Okudiibuuda: kwe kuteeka emmaali w'etagwaana.
ekyennyume ky'eko bw'ebukodo: kwe kugaana okuteeka emmali w'esaana okugenda.
N'ekituufu: Kwe kubeere wakati w'ebibiri, n'omusiraamu okubeera omugabi.
yagamba Allah: {(Abaddu ba Allah) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwabwe kuli wakati w'ebyo byombi} [Suurat Al-furqaan: 67].
Ekibuuzo 28: Obutiitiizi kye kki?, era obuvumu kye kki?
Okwanukula: Kwe kutya ekitasaanidde kutiibwa.
Ng'okutya okwogera amazima, n'okuziyiza ekibi.
Obuvumu: kwe kuyimirira ku mazima, okugeza nga okugenda mu bisaawe bya jihaadi okulwanirira Obusiraamu n’Abasiraamu.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye mukusaba kwe yagambanga nti: «Ayi Allah nkusaba onkingirize obutiitiizi....».
-Era yagamba omubaka Wa Allah okusaaasira n'emirembe bibere ku yye: «Omukkiriza ow'amaanyi mulungi nnyo era ayagalwa nnyo eri Allah okusinga omukkiriza omunafu, naye byonna mulimu obulungi». yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 29: Bye biriwa ebimu ku bigambo by'olulimi ebyaziyizibwa.
Okwanukula: -Okugeza nga Okukolima, n'okuvuma.
-N'okugeza nga okugamba nti: gundi nsolo, oba ebifaanana bwebityo.
-oba okuwemula.
Nabbi ebyo byonna yabigaana n'agamba: «Omukkiriza tabeera mutyobozi(muvumi), wadde okubeera omuyitirivu w'okukolima, wadde okubeera omuwemu, wadde okuba nga talina nsonyi» Yayogerwa Tirmidh ne Ibun Hibbaan.
Ekibuuzo 30: Nsonga ki eziyamba omusiraamu okweyisa n'empisa ennungi?
Okwanukula: 1.Okusaba Allah akugabirire empisa ennungi, era azikuyambeko.
2- Okumanya nti Allah akulondoola, era akumanyi, akuwulira, ate akulaba.
3- Okujjukira ennyo empeera y'empisa ennungi, nti era nsonga ekuyingiza ejjana.
4- Okujjukira enkomerero y'empisa embi, nti era nsonga eyingiza omuliro.
5- Mazima empisa ennungi zireeta okwagalibwa Allah, n'okwagalibwa ebitonde bye, nti era n'empisa empisa embi zireeta obusungu bwa Allah n'okunyiiga kwe.
6- Okusoma ebyafaayo bya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'okumwefaanaanyiriza mu nkola ze.
7- Okukwana emikwano emirungi, n'okwesamba emikwano emibi.
********
Dhikir esinga obulungi omutima n’olulimi bye gikkiriziganyizzaako.
Ekitundu ky'edduwa, n'ebigamba by'okwogera ku Allah.43
Ekibuuzo 1: Obulungi bwa dhikr bwe buliwa?
Okwanukula: yagamba nabbi(okusaasila n'emirembe bibeere ku yye): «Ekifaananyi ky’oyo ajjukira Mukama we n’oyo atajjukira Mukama we kifaananyi kya mulamu namufu». yayogerwa Bukhaari.
-Kino kiri bwe kityo kubanga omuwendo gw’obulamu bw’omuntu gusinziira ku kujjukira kwe Allah.
Ekibuuzo 2: Gye giriwa egimu ku migaso gya Dhikir?
Okwanukula: 1- Kusiimisa Allah omusaasizi.
2- Kugoba sitaani.
3- Kutangira Omusiraamu ebibi.
4- Kifunisa empeera.
Ekibuuzo 3: Dhikir ki esinga obulungi?
Okwanukula: «LAA ILAAHA ILLA ALLAH»
amakulu teri asinzibwa mubutuufu bw'okusinzibwa okujjako Allah. Yayogerwa Tirmidhi ne ibn Maajah.
Ekibuuzo 4: Oyogera ki nga ozuukuse okuva mu tulo?
Okwanukula: «Alhamdullilahi lladhii ah-yaanaa ba-ada maa amaatanaa, wa-ilaihi nnushuur.»
Amakulu: Amatende amalungi ga Allah oyo atuddiiza obulamu oluvannyuma lw’okututta, era gy’ali gyetulidda. yayogerwa Bukhaari ne Muslim .
Ekibuuzo 5: Oyogera ki nga oyambadde olugoye lwo?
Okwanukula: «Alhamdulilahi lladhii kasaanii haadha thauba warazaqaniih min ghairi hauli minni walaa quwwah».
Amakulu: Amatendo ga Allah oyo anyambazza olugoye luno, era n'alungabirira nga tebubadde busobozi bwange wadde amaanyi gange. yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi n'abalala.
Ekibuuzo 6: Oyogera ki nga oggyemu olugoye?
Okwanukula: «BISMILLA» Amakulu :Mu Linnya lya Allah. Yayogerwa Tirmidhi.
Ekibuuzo 7: Yeeriwa edduwa y'okwambala olugoye olupya?
Okwanukula: «ALLAHUMMA LAKA 'LHAMDU ANTA KASAWTANIIHI, AS-ALUKA KHAIRAHU WA KHAIRA MAA SUNI-A LAHU, WA A-UUDHU BIKA MIN SHARRIHI WA SHARRI MAA SUNI-A LAHUU»
Amakulu: Ayi Allah amatendo gago, gwe Alunyambazza, nkusaba obulungi bwalwo, n'obulungi bwekyo kyebalukolera, era nenkusaba ontaase obubi bwa lwo n'obubi bw'ekyo kyebalukolera. yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 8: Duwa ki gy'osabira omuntu ayambadde olugoye olupya?
Okwanukula: Bw'oba olabye olugoye olupya nga munno alwambadde, omusabira n'ogamba nti: «TUBLII WA YUKHLIFU 'LLAHU TA'AALA»
Amakulu: Allah alukuwangalizeemu mpaka bwelukaddiwa, ate bweluba lukaddiye Allah akukyuusizeemu olulala. yayogerwa Abu dauda.
Ekibuuzo 9: Edduwa y'okuyingira kabuyonjo(ekifo awamalirwa ekyetaago) yeeliwa?
Okwanukula: «ALLAHUMMA INNII A-UUDHU BIKA MIN ALKHUBUTHI WALKHABAA-ITHI»
Amakulu: Ayi Allah neekingiriza naawe ku Majinni amasajja n'amakyala. yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 10: Edduwa y'okufuluma mu kaabuyonjo yeeliwa?
Okwankula: «GHUFRAANAKA»
Amakulu: Ayi Allah nsaba kusonyiwa kwo. Yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 11: Oyogera ki nga tonnafuna wudhu?
Okwanukula: «BISMILLAH» Yayogerwa Abu Dauda n'abalala.
Ekibuuzo 12: Dhikiri ki gy'osoma nga omaze okufuna wudhu?
Okwanukula: «ASH-HADU ALLAA ILAAHA ILLA ALLAHU WAHDAHU LA SHARIIKA LAHU WA ASH-HADU ANNA MUHAMMADAN ABDUHU WA RASUULUHU»Amakulu: Nkakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako Allah yekka teri kimwegattako, era nkakasa nti Nabbi muhammadi muddu we era mubaka we. yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 13: Dhikir ki gyosoma nga ofuluma mu nyumba?
Okwanukula: «BISMILLAHI TAWAKKALTU ALA ALLAHI WA LAA HAULA WA LAA QUWWATAN ILLA BILLAHI »
Amakulu: Mu linnya lya Allah, nteeka obwesige bwange mu Allah, era tewali busobozi wadde amaanyi okujjako okuva eri Allah. yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 14: Dhikiri y'okuyingira awaka y'eriwa?
Okwanukula: «BISMILLAHI WALAJNA WA BISMILLAHI KHARAJNA WA ALAA RABBINAA TAWAKKALNAA»,
Amakulu: Mu linnya lya Allah tuyingidde, era mu linnya lya Allah twafulumye, era twesigamidde Allah omulezi waffe. oluvannyuma atoolere abantu be salaamu. yayogerwa Abu Dauda.
Ekibuuzo 15: Edduwa y'okuyingira omuzikiti y'eriwa?
Okwanukula:
«ALLAHUMMA IFTAH LII AB-WAABA RAHMATIKA»
ayi Allah nziguliraawo emiryango gy'ekisaakyo. yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 16: Edduwa y'okufuluma mu muzikiti y'eriwa?
Okwanukula:
«ALLAHUMMA INNII AS-ALUKA MIN FADHLIKA»
Ayi Allah nkusaba ku birungi byo. yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo: Oyogera ki nga owulidde okwaziina?
Okwanukula: Njogera ebyo omwaziinyi by'ayogera okujjako ku kigambo:«HAYYA ALA SWALAAH»ne «HAYYA ALAL-FALAAH» Ngamba nti: «LAA HAULA WALA QUWWATA ILLA BILLAH» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: Oyogera ki oluvannyuma lw'okwaaziina?
okwanukula:
«Osaalira Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye» yayogerwa Muslim.
Oluvannyuma n'ogamba: «ALLAHUMMA RABBA HADHIHI DDA-AWATI TTAAMAH WASWALAATIL-QAA-IMAH, AATI MUHAMMADAN AL-WASIILATA WA AL-FADHWIILATA WAB-ATH-HU MAQAAMAN MAHMUUDAN ALLADHII WA-ADTAHU» Yayogerwa Bukhaari.
Oluvannyuma n'osaba wakati w'okwaziina n'okukima esswala, kubanga mukaseera ako edduwa teddizibwaayo.
Ekibuuzo 19: Oyogera adhikaari ki ku makya n'olweggulo?
Okwanukula: 1- Nsoma aayatul kursii: Allahu laa ilaha illa huwal-hayyu-lqayyuumu laa ta-akhuthuhu sinatun walaa naumun lahuu maa fissamaawaati wamaa fil-ardhi man dha lladhii yashfa-u indahuu illaa bi-idhnihi ya-alamu maa baina aidiihim wamaa khalfahum walaa yuhiituuna bishai-in min ilmihii illaa bimaa shaa-a wasi-a kursiyyuhu ssamaawaati ssamawati wal-arda walaa ya-uuduhu hifdhuhumaa wahuwal-aliyyul-adhwiimu. [Suurat Al-baqara: 255].
2- N'ensoma: BISMILLAHI RRAHMAANI RRAHIIM (1- Qul huwa Allahu ahadun 2- Allaahu swamadu 3- Lam yalide wa lam yuulade 4- wa lam yakun lahuu lufuwan ahadun) [suurat al- ikhlaas 1_4] emirundi esatu.
BISMILLAHI RRAHMAANI RRAHIIM . (1- Qul a-uudhu birabbil-falaq 2- Min sharri maa khalaqa 3- wa min sharri ghaasiqin idhaa waqaba 4- wa min sharri nnaffaathaati fil-uqadi 5- Wa min sharri haasidin idhaa hasada) [suurat Alfalaq: 1-5] emirundi esatu.
BISMILLAHI RRAHMAANI RRAHIIM . (1- Qul a-uudhu birabbi nnaasi 2- Maliki nnaasi 3- Illahi nnaasi 4- min sharril-was-waasil-khannaasi 5-Alladhii yuwas-wisu fii swuduuri nnaasi 6- Minal-jinnati wannaasi) [suurat Alnaas: 1-6] emirundi esatu.
3-«ALLAHUMMA ANTA RABBII LAA ILAAHA ILLA ANTA KHALAQTANII WA ANAA ABDUKA WA ANA ALAA AHDIKA WA WA-ADIKA MASTATWA-ATU A-UUDHU BIKA MIN SHARRI MAA SWANA-ATU ABUU-U LAKA BI NI-IMATIKA ALAYYA WA ABUU-U BI DHAMBII FAGHFIR LII FA INNAHU LA YAGHFIRU DHUNUUBA ILLA ANTAA»
Amakulu: Ayi Allah ggwe mulezi wange, teri asinzibwa mubutuufu okujjako ggwe, gwe wantonda era nze ndi mudduwo, nkolera kumateekago era kundagaanoyo ekigero kyensobola, newogoma gy'oli omponye obubi bwebyo bye nnakola, nzikiriza ebyengerabyo byonna byompa era nzikiriza ebyonoono byange byennakola, nsaba onsonyiwe kuba mazima teriiyo asonyiwa byonoono okujjako ggwe" yayogerwa Bukhaari.
Ekibuuzo 20: Oyogera ki nga ogenda okwebaka?
Okwanukula: «Bi-ismika Allahumma Amuutu wa ah-yaa».
Amakulu nti: ku erinya lyo Ayi Allah kwenfiira era kwempangalira. yayogerwa Bukhari ne muslim.
Ekibuuzo 21: Oyogera ki nga tonnalya mmere?
Okwanukula: «BISMILLA». Bw'oba weelabidde ku ntandikwa, gamba nti: «BISMILLAHI FII AWWALIHI WA AAKHIRIHI». yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 22: Oyogera ki nga omaze okulya?
Okwanukula: «Alhamdulilahi alladhi atwa-amani haadhaa warazaqaniihi min ghairi hawli minni walaa quwwah».
Amakulu: Amatendo ga Allah oyo andiisizza emmere eno, era n'agingabirira nga tebubadde busobozi bwange yadde amanyi gange. yayogerwa Abu Daud, ne Ibn Maajah n'abalala.
Ekibuuzo: Duwa ki omugenyi gy'asomera nannyini mmere?
Okwanukula: «ALLAHUMMA BAARIK LAHUM FIIMAA RAZAQTAHUM, WAGHFIR LAHUM WARHAMHUM»
Amakulu: Ayi Allah bateere emikisa mw'ebyo bye wabagabirira, obasonyiwe era obasaasire. yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 24: Omuntu ayogera ki nga ayasimudde?
Okwanukula: «ALHAMDULILLAH».
Amakulu: Amatendo gonna ga Allah. Muganda we oba munne amuwulidde amugamba nti: «YARHAMUKA ALLAHU» Amakulu: Allah akusaasire. bw'aba akimugambye: Amuddemu nti: «YAHDIIKUMU LLAAHU WA YUSLIH BAALAKUM». Amakulu:Allah abalungamye era abaterereze embeera yamwe. yayogerwa Bukhaari.
Ekibuuzo 25: Bw’osituka ng’omaliriza olukuŋŋaana oyogera ki?“ Edduwa eggalawo olukuŋŋaana.
Okwabukula: «Subhaanaka Allahuma wabihamdika, ash-had an laa Ilaah illaa anta, astaghfiruka wa-atuubu ilaika»
Amakulu: Wayawukana Allah n'amatendo go, nkakasa nti teri asinzibwa mubutuufu bw'okusinzibwa okujjako ggwe, nkusaba onsonyiwe era nkwenenyeza. yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi n'abalala.
Ekibuuzo 26: Edduwa y'okwebagala y'eriwa?
Okwanukula:
«Bismillah wal-hamdu lillah.
﴾Subhaana Alladhii sakhara lana haadhaa wa maa kunnaa lahu muqriniina, wa innaa ilaa rabbina lamunqalibuuna﴿
Alhamdulillah Alhamdulillah Alhamdulillah, Allahu akbar Allahu Akbar Allahu Akbar.
Subhanaka Allahumma innii dhwalamtu nafsii faghfir lii fa-innahu laa yaghfiru dhunuuba illa anta» yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
Ekibuuzo 27: Edduwa y'olugendo yeriwa?
Okwanukula:
«Allahu Akbar, Allahu Akbar, Allahu akbar, Subhaana alladhii sakhara lanaa haadhaa wa maa kunna lahu muqriniin wa innaa ilaa Rabbinaa lamunqalibuun.
Allahumma inna nas-aluka fii safarinaa haadhaa min al-birri wa ttaqwaa, wa minal-amali maa tardhwaa, Allahumma hawwin alainaa safaranaa haadhaa wat-wi annaa ba-adahu, Allahumma anta swaahib fi-ssafar, wal-kahliifatu fil-ahli, Allahumma inni a-uudhu bika min wa-athaa-i ssafari, wa ka-aabatil-mandhwari, wa suu-il-munqalabi fil-maal wal-ahli.»
Ate bw'aba akomyewo, ayogera ebigambo ebyo waggulu, nayongerako: (Aayibuuna Taa-ibuuna, aabiduuna lirabbinaa haamiduuna). yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 28: Dduwa ki ey'omutambuze eri omutuuze?
Okwanukula: «Astawdi-ukumullaaha Alladhii laa tadhwii-u wadaa-i-uhu».
Amakulu: Mbateresezza Allah oyo atabulwako bimutereseddwa. Yayogerwa Ahmad ne Ibun Maajah.
Ekibuuzo 29: Dduwa ki omutuuze gy'asabira omutambuze?
Okwanukula: «Astawdi-u Allaha diinaka wa amaanataka wa khawaatiima Amalika»
Amakulu: Nsaba Allah akuume eddiini yo, n'obwesigwa bwo, n'emirimu gyo egy'enkomerero. yayogerwa Ahmad ne Tirmidhi
Ekibuuzo 30: Duwa ki esomebwa mu kuyingira akatale?
Okwanukula: «Laa Ilaaha illa Allahu wahdahu laa shariika laahu lahul-mulku wa lahul-hamdu yuhyii wa yumiitu wa huwa hayyun laa yamuutu, biyadihil-khairu wa huwa alaa kulli shai-in qadiir» Yayogerwa Tirmidhiyyu ne ibn Maajah.
Ekibuuzo 31: Duwa ki esomebwa nga onyiize?
Okwanukula: «A-udhu billaahi mina shaitwani rrajiim». Yayogerwa Bukhaari ne Muslim .
Ekibuuzo 32: kiki ky'ogamba akukoledde ekirungi?
Okwanukula: «Jazaaka Allah khairan»
Amakulu: Allah akusasulemu ekisinga obulungi, Yayogerwa Tirmidhi.
Ekibuuzo 33: Duwa kii esomebwa nga ekyebagalwa kikooye?
Okwanukula: «BISMILLAH» yayogerwa Abu Dauda.
Ekibuuzo 34: Oyogera ki nga ofunye ekikusanyusa?
Okwanukula: «Alhamdulillahi bini-imatihi tatimmu sw-swalihaat»
Amakulu: Amatendo amalungi ga Allah, oyo kulwebyengera bye, ebirungi bituukirira. yayogerwa Haakimu n'abalala.
Ekibuuzo 35: Oyogera ki singa wabaawo kyotayagala?
Okwanukula: «Alhamdulillahi alaa kulli haalin»
Okwanukula: Amatendo ga Allah mu mbeera yonna. Swahiihul-jamii.
Ekibuuzo 36: Salaamu etoolebwa etya era eddibwaamu etya?
Okwanukula: Omusiraamu agamba nti:«Assalaamu alaikum warahmatullaahi wabarakaatuhu». muganda we n'amuddamu nti: «wa alaikumu ssalaamu warahmatullaahi wabarakaatuhu» hadiithi eri mu kitabo kya Tirmidhi ne Abu dauda n'abalala.
Ekibuuzo 37: Duwa ki esomebwa nga enkuba etonnya?
Okwanukula: «Allahumma swayyiban naafi-an».
Amakulu: ayi Allah gifuule nkuba yamigaso. Yayogerwa Bukhaari.
Ekibuuzo 38: Duwa ki esomebwa nga enkuba ekedde?
Okwanukula: «Mutwirnaa bi fadhli'llaahi wa rahmatihi».
Amakulu: Tunyweseddwa ku lw'obulungi bwa Allah n'ekisaakye. yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Ekibuuzo 39: Duwa y'empewo y'eriwa?
Okwanukula: «Allahumma innii as-aluka khairahaa wa a-uudhu bika min sharrihaa». yayogerwa Abu Dauda ne Ibun Maajah.
Ekibuuzo 40: Duwa ki esomebwa nga owulidde okubwatuka kw'eggulu?
Okwanukula: «Sub-hana'lladhii yusabbihu rra-adi bihamdihi wal-malaa-ikatu min khiifatihi».
Amakulu: yayawukana Allah oyo Okubwatuka kw'eggulu gwekutendereza ebitendo Bye ne Bamalayika (nabo bamutendereza) ku lw'okumutya. Muwattwa-u ekya Imaamu Maalik .
Ekibuuzo 31: Duwa ki gy'osoma nga olabye omuntu agezeseddwa.
Okwanukula: «Alhamdulillaahi alladhi aafaanii mimma ibtalaaka bihi wa fadhwalanii alaa kathiirin min man khalaqa tafdhwiilan».
Amakulu: Amatendo ga Allah oyo eyamponya ekyo kyeyakugezesa nakyo, nansukkulumya olusukkulumya ku bitonde bingi. Yayogerwa Tirmidhi.
Ekibuuzo: Duwa ki esomebwa ng'otidde okukuba ekintu ekiiso?
Okwanukula: Mu hadiithi: «Omu mu mwe bw'alaba ku muganda we, oba ku yye kennyini, oba mu mmaali ye ekimusanyudde, akisabire emikisa, kubanga ekiiso kya ddala(amakulu nti gyekiri kikwata)» Yayogerwa Ahmad ne Ibun Maajah n'abalala.
Ekibuuzo 43: Osaalira otya Nabbi okusaasira n'emirembe bubeere ku yye?
Okwanukula: Allahumma swalli alaa Muhammadi wa alaa aali muhammadi kamaa swallaita alaa Ibraahiima wa alaa aali Ibraahiima innaka hamiidun majiidun. Allahumma baarik alaa Muhammadin wa alaa aali muhammadin kamaa baarakta alaa Ibraahiima wa alaa aali Ibraahiima innaka hamiidun majiidun. yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
********
Ekitundu ky'ebintu eby'enjawulo.26
Ekibuuzo 1:Ennamula ez'emirundi etaano ze ziriwa?
1- Ekikakata.
2-Ekya kyeyagalire.
3- Ekyaziyizibwa.
4- Ekitamwa.
5- Ekikkirizibwa.
Ekibuuzo 2: Nyonnyola ennamula zino ettaano.
1- Ekikakata:
kibeera kya buwaze ng'esswala ettano, okusiiba omwezi gwa ramanzaani, n'okugondera abakadde abibiri.
- Ekikakata: akikoze afuna empeera, ate akirese abonerezebwa.
2- Ekya kyeyagalire: Tekibeera kya tteeka. Nga: Esswala za sunna ezisalibwa n'esswala ez'etteekwa, okuyimirira ekiro, okuliisa emmere, okutoola salam, era kisobola okuyitibwa Sunna oba manduub.
-Akoze ekya sunna afuna empeera ate atakikoze tabonerezebwa.
Kino kikulu:
Kisaana omusiraamu bw'aba awulidde nti kino ekintu kya sunna, akikole era yefananyirize nabbi(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye).
3-Ekyaziyizibwa: ky'ekyo ekitekeddwa okulekebwa, nga: Okunywa omwenge, okujemera abakadde, n'okkutulawo oluganda.
Ekyaziyizibwa akirese afuna empeera ate akikoze abonerezebwa.
4- Ekitamwa: Okukireka si kya tteeka, nga: Okukwata n'okuwaayo ng'okozesa kkono, okufunya ku lugoye mu sswala.
Ekitamwa, akirese afuna empeera, ate akikoze tabonerezebwa.
5- Ekikkirizibwa: kibeera kukusalawo wakati w'okuleka n'okukola.
nga: Okulya ettunda n'okunywa caayi. era kiyitibwa ja-iz oba halaal.
Ekikkirizibwa akikoze tafuna mpeera era akirese tabonerezebwa.
Ekibuuzo 4: Kilamulwa kitya okutunda n'okukolagana n'abantu?
Okwanukula: Ensibuko mu kutunda n’enkolagana endala eri nti bikkirizibwa, okujjako ebika by’ebintu ebimu Allah bye yagaana.
yagamba Allah: (Allah yakkiriza okutunda n'okugula, ate n'aziyiza riba) [Suurat Al-baqara: 275].
Ekibuuzo 5: Gye giriwa egimu ku miteeko gy'okutunda egyaziyizibwa?
1- Okufera. nga: okukweeka akamogo ke kyamaguzi.
Hadiithi nga eva ku Abu Huraira (Allah amusiime) nti Omubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yayita ku mulengo gw'emmere, nayingizaamu omukono negutoba n'agamba: «kiki kino owange gwe nanyini mmere?» n'agamba: enkuba yagikubye owange gwe omubaka wa Allah. nagamba: «Singa wagitadde waggulu abantu nebasobola okugiraba?» yenna akola obufere ssi wa mukibiina kyange. yayogerwa Muslim.
2- Ribaa: mulimu okujja ku muntu nusu lukumi nga ajja kumuddiza enkumi bbiri.
ekyeyongeddemu ye ribaa eyaziyizibwa. yagamba Allah: (Allah yakkiriza okutunda n'okugula, ate naziyiza ribaa) [Suurat Al-baqara: 275].
3-Okutunda ekitamanyikiddwa: Nga okutunda amata agali mu bbeere ly'embuzi, oba eky'enyanja ekiri mu mazzi nga tekinnavubibwa.
Mu hadiithi: «Omubaka wa Allah-okusaasira nemirembe bibeere ku yye-yaziyiza okutunda ekitamanyikiddwa » yayogerwa Muslim.
Ekibuuzo 6: Yogerako ebimu ku byengera bya Allah gy'oli?
Okwanukula:
1- Ekyengera ky'obusiraamu, era nti toli mubatakkiriza.
2-Ekyengera ky'okubeera kunkola ya Nabbi, era nga toli mu bazuula mu ddiini.
3- Ekyengera ky'obulamu n'okubeera obulungi, nga okuwulira, okulaba, okutambula, n'ebirala.
4- Ekyengera ky'ebyokulya n'okunywa, n'okwambala.
N'ebyengera bya Allah byeyatuwa bingi tebibalika.
yagamba Allah: (Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi) [Suurat An-Nahl:18].
Ekibuuzo 7: Kiki ekikukakatako eri ebyengera ebyo? era obyebaza otya?
okwanukula-
Eky'etteekwa ku byengera ebyo: kubyebaliza era ekyo kibeerawo nakusuuta Allah, n'okumutendereza n'olulimi, era nti ebirungi byonna bibye. n'okukozesa ebyengera bino mw'ebyo ebisiimisa Allah, wabula ssi kumujeemera.
Allah yagamba: (N'olw'ekyo munzijukire, Nange Mbajjukire. Munnebazenga era temunngaananga). [Al-baqara: 152].
Ekibuuzo 8: Idi z'abasiramu ze ziriwa?
Okwanukula: Idil-fitir ne idil-adhuha. Olw'ekyo ekyajja mu hadiithi ya Anas(Allah amusiime), yagamba: Omubaka wa Allah(okusasira n'emirembe bibeere ku yye) yagenda e Madiina nga balina ennaku bbiri zebasanyukiramu, n'agamba « nnaku ki zino?», nebamugamba nti: twali tuzisanyukiramu mu biseera nga obusiraamu tebunnajja, Omubaka n'abagamba nti:(Allah abakyusirizzamu ezisinga obulungi: olunaku lwa idil-adhuha, ne iddil-fitir) Yayogerwa Abu Dauda.
Idi endala ezitali ezo ebbiri ziba nzuule.
Ekibuuzo 9: Mwezi ki ogusinga obulungi?
Okwanukula: Omwezi gwa ramadhan.
Ekibuuzo 10: Lunaku ki olusinga obulungi?
Okwanukula: Lunaku lwa juma.
Ekibuuzo 11: Lunaku ki olusinga obulungi mu mwaka?
Okwanukula: Olunaku lwa iddi Al-adh-ha, naye era kigambibwa nti olunaku lwa Arafa.
Ekibuuzo 12: Kiro ki ekisinga obulungi mu mwaka?
Okwanukula: Ekiro ky'okugera.
Ekibuuzo 13: Ki kyotekeddwa okukola singa olaba omukyala atakuzira kuwasa?
okwanukula:
Eky'etteeka kukakkanya maaso, Yagamba Allah omugulumivu: (Gamba abakkiriza bakakkanye amaaso gaabwe) [Surat An-nuur:30].
Ekibuuzo: Abalabe b'omuntu bebaani?
Okwanukula:
1- Omwoyo ogulagira okukola ekibi.
Gutuma omuntu okubeera nga agoberera okwagala kwe mu kujeemera Allah eyayawukana. Yagamba Allah: (mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okujjako oyo Mukama omulabirizi wange gw'aba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.) [Suurat yusuf:53].
2- Shaitwani(Sitani):
era yye mulabe wa mwana adam, ekigendererwa kye kubuza Muntu n'okumulabankanya mu kukola ebibi, n'okumuyingiza omuliro. Yagamba Allah omugulumivu: (Temugoberera obuufu bwa sitani, mazima yye eri mwe mulabe mweyolefu). [Suurat Al-baqara: 168].
3- Bannannyini bibi: abo abakubiliza abantu okukola ebibi, nebabajja ku birungi. Yagamba Allah omugulumivu: (Ab'emikwano kulunaku olw'enkomerero bajja kubeera balabe na balabe, okujjako abo abatya Allah). [Suurat Az-zukhruf: 67].
Ekibuuzo 17: Okwenenya kye kki?
Okwanukula:
Okwenenya: kwekuva ku bikolobera n'odda kukugondera Allah. Yagamba Allah omugulumivu: (Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya n'akola emirimu emirongoofu, oluvannyuma n'alungama) [suurat twaha: 82].
Ekibuuzo 18: Obulombolombo bw'okwenenya okutuufu bwe buliwa?
Okwanunuka: 1- Okuva ku kikolobero.
2- Okwekubagiza kulw'ebikolobero ebiyise.
3- Okumalirira obutaddamu kukola kikolobero ekyo.
4- Okuzzaayo ebyalyazamanyizibwa eri bannanyini byo.
yagamba Allah: (Era abo bwe baba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Allah nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okujjako Allah! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu). [Suurat Aal Imraan :135].
Ekibuuzo 21: Okusaalira Nabbi kitegeeza ki?
Okwanukula: Amakulu ga kyo kwe kusaba Allah okubeera nti Asuuta Nabbi we(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye), mu lujjudde lwa ba malayika.
Ekibuuzo 22: Subhanallah kitegeeza ki?
Okwanukula: Okutendereza: kwe kutukuza Allah ku buli bukendevu, obumogo n'ebibi.
Ekibuuzo 23: Alhamdulillah kitegeeza ki?
Okwanukula: Kwe kutendereza Allah, n'okumutenda na buli kitendo ky'obutuukirivu.
Ekibuuzo 24: Allah akbar kitegeeza ki?
Okwanukula: Kitegeeza nti Allah munene okusinga buli kintu, era wakitibwa, mugulumivu okusinga buli kintu kyonna.
Ekibuuzo 25: Laa haula walaa quwwata illa billa kitegeeza ki?
Okwanukula: Tewali nkyukakyuka eri muddu yenna okuva mu mbeera okudda mu ndala, era teri alina maanyi kw'ekyo okujjako Allah.
Ekibuuzo 26: Astaghfirullahi kitegeeza ki?
Okwanukula: Kitegeeza omuddu okusaba Allah amusanguleko ebyonono bye, era amubikkirire obumogo bwe.
Ekibuuzo 3: Bibala ki ebiri mu kukenkuka mu ddiini, na nkizo ki ey'okukenkuka mu ddiini?
Okwanukula:
Okutuuka (okukkirizibwa) kw'ebigambo, emirimu n'enzikiriza, ebyo ebireeta esaanyu ku nsi n'enkomerero.
_Mu hadiithi nga eva ku Mu-aawiya bin Abi Sufiyaani-Allah amusiime- yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Allah gw'ayagalizza ebirungi amukenkula mu ddiini» yayogerwa Bukhaari ne Muslim uslim.
Amukenkula: amakulu nti: Amufuula omumanyi w'amateeka ge ddiini.
Ekibuuzo 14: Olugoye olubikka omukyala omusiramu lulina kuba lutya?
Okwanukula: -Lulina okuba nga Lubikka omubiri gwonna.
- Terulina kubaamu bya kwewunda.
-Terulina kuba nga lutangaala.
- Lulina okuba nga lugazi nga ssi lufunda.
-Terulina kubaamu kawoowo konna.
-Terulina kufanagana kyambalo kya basajja.
-Terulina kufanagana kyambalo ky'abakyaala abatali bakkiriza oba aboononefu.
Yagamba Allah: (Owange ggwe Nnabbi! Gamba bakyala bo ne bawala bo n'abakyala b'abakkiriza beebikkirirenga enkaaya zaabwe (bwe baba nga batambudde okuva mu maka gaabwe). Ekyo kye kisembeza okubamanya (nti baakitiibwa era ba nsa) ne batanakuwazibwa. Ne Allah kuva dda nga musonyiyi, musaasizi. [Al-Ahzab: 59].
Amakulu nga Aya: Owange gwe Nabbi gamba bakyala bo ne bewala bo n'abakyala ba bakkiriza bateke engoye ku mitwe gyabwe n'ebyenyi byabwe, zibikke ebyenyi byabwe, ebifuba byabwe, n'emitwe gyabwe, ekyo nno, kyekisinga okusembeza okubaawula kubalala, nebatatukibwako kitamwa oba kinyiiza, era yye Allah kuva dda musonyiyi era musasizi, kubanga yabasonyiwa ebyayita, ate era nabasaasira mw'ebyo byeyabannyonnyola eby'akkirizibwa n'ebyaziyizibwa.
Ekibuuzo:16 Okutya Allah kye kki?
Okwanukula: kw'ekugondera Allah n'okulekayo ebikolobero.
yagamba Allah: (Era mutye Allah, era mukimanye nti Allah ali wamu Nabamutya) [Al-baqara: 194].
Ekibuuzo 19: kkubo ki eriweesa ekitibwa n'obuwanguzi eri abasiraamu?
Okwanukula: Kwe kukolera ku busiraamu, n'okuleka ebyonono, n'ebikolobero.
yagamba Allah: (Abange mmwe abakkiriza bwe muba nga mutaasizza eddiini ya Allah, Naye ajja kubataasa era anyweze ebigere byammwe) [Surat Muhammad: 7].
era n'agamba Allah: (Mazima Allah takyusa ekyo kiri mu bantu okutuusa nga bbo bennyinyi beekyusizza) [Ar-ra-ad: 11].
Ekibuuzo 20: Obukulu bw'okusaba bwebuliwa?
Okwanukula: Okusaba kye kimu ku bikolwa by'okugondera Katonda ebisinga obunene era kye kimu kubikolwa ebisinga obunene eby’okusembera eri Allah.
yagamba Allah: Omulezi wammwe yagamba nti: Munsabe nja kubaanukula (okusaba kwamwe): Mazima abo abeekuluntaliza ku kunsinza, bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu. [Ghaafir: 60].
Era Nabbi (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Okusaba kwe kusinza» Yayogerwa Abu Dauda uda ne Tirmidhi ne ibn Maajah.